
Kino kivudde ku namutikwa w'enkuba etonnya obutasalako ennaku zino, ekyaviiriddeko amazzi agava mu bitundu bya Lubaga eby'enjawulo okuggweera mu nnyanja eno, eyajjudde n'eremererwa, n'ebotola ettaka eryassibwa ebbali waalyo okutangira amazzi okuyiwa mu bantu, amazzi ne gabuna ebyalo.
Abatuuze mu zooni eziriraanye ennyanja eno okuli; Kayanja zone, Spire, Nsiike I ne II, Kabowa byonna bikoseddwa amataba, era bizinensi z'abantu nnyingi ne zoonoonebwa byansusso.
Amaduuka agaliraanye ennyanja gonna gaayingiriddwa amazzi, ebyamaguzi ne biseeyeya, ebimu ne bitwalibwa amazzi agaabadde amangi, era bannannyini maduuka baggaddewo ne badduka okwetegula ekibabu.
Gajjuza omwala gwa Nalukolongo Channel ogulina ensibuko yaagwo okuva ku nnyanja eno, ne gubooga nagwo ne gugenda nga guyiwa mu batuuze mu bitundu gye guyitira, olw'obungi bwago n'obungi obuva mu nnyanja obutasalako, amazzi buli we gaagenze bakira tegeetoolako, ekyayongedde okusannyalaza emirimu.
Abatuuze olunwe balusonze mu bagagga b'omu Ndeeba okuli; Dodoviko eyagula ekyalo kya Spire zone naayiwa ettaka n'okuziba emyala, omusumba Robert Kayanja eyagula ettaka okuliraana ennyanja, st Lawrence university, okuziba emyala n'okusaanyawo ebitoogo amazzi wegawummuliranga, nga kati gonna gaggukira mu nnyanja butereevu ekigiviitiddeko okulemererwa.













Balaajanidde gavumenti ne Mengo okubaako eky'amangu kye bakolera ennyanja eno ng'amazzi tegannasaanyawo bulamu bw'abantu.
Joseph Kazibwe, amyuka ssentebe wa zooni ya Kayanja agamba nti, ekizibu be bagagga abazimba ebizimbe ne baziba emyala, ate ne payipu eziyita mu luguudo lwa Masaka Road mu Ndeeba okuyiwa ku Nalukolongo Channel nfunda tezitwala mazzi mangi, ng'ennyanja bw'ejjula ennyo baba gadda mu bantu.