Kiikino ekika y'alumonde ky'olima okufuna amalagala g'ensolo zo

OKUMALA emyaka, lumonde abadde amanyiddwa okuvaako mmere eriibwa olwo amalagala abatono abalunda embizzi ne bazigawa.

Kiikino ekika y'alumonde ky'olima okufuna amalagala g'ensolo zo
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Enkumbi terimba #Kulima #Malagala

Leero, Bukedde ekulaga ebika bya lumonde by’osobola okulima olw’amalagala ng’emmere y’ebisolo ate n’okola ssente n’okusinga alimye lumonde w’emmere.

Ison Busingye owa Itongo Pastures e Naluvule-Wakiso, agamba nti lumonde ekika kya Naspot 11, New Kawogo okuva mu Uganda ne Wagaborige okuva e Kenya atemwako malagala era ng’asobola okubeerawo okumala emyaka esatu ate Wagaborige atuuka ku myaka etaano wabula yeetaaga okugimusa.

Ekika ky'amlagala kino kisobola okukazibwa

Ekika ky'amlagala kino kisobola okukazibwa

“Naspot 11 ne New Kawogo osobola okukungulako ttani z’amalagala 5-6 buli mwaka ate Wagaborige ttani musanvu nga buli ttani osobola okugitunda ku 500,000/- olwo n’ofuna obukadde bubiri n’ekitundu okutuuka ku bukadde busatu n’ekitundu. Kyokka singa okolamu sayiregi, buli kkiro ya 500/- kyokka nga muno agattamu bulandi wa kasooli”, bw’annyonnyola.

Alima omuddo oguliisibwa ente, embuzi, endiga, enkoko n’ebirala ng’alina ebika by’omuddo 18 omuli; Croris gayana, kifuta, Chuuchi, ebisagazi (kakamega 1 ne 2), gwatamala, giant cetaria, sastania, caliandra, nanibary, gricidia, mukuna, labulabu, aluphalpha green leaf n’ebirala nga bizinensi era osobola okukolamu ssente.

Akuwa amagezi nti ssinga osolawo okutandika okutunda omuddo mu ngeri yonna omuli n’okukola sayiregi, wetaaga okubeera n’essamba esukka yiika nnya kuba singa abalunzi bakutegeera oyinza okulemwa okubamatiza nga wano musobola okwegatta ne mulima n’ekibiina.