ENKUMBI TERIMBA; Engeri gy'osimba kaamulali omunene n'adda bulungi

ENSIGO sooka kuzisimba mu nnassale.

ENKUMBI TERIMBA; Engeri gy'osimba kaamulali omunene n'adda bulungi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Enkumbi terimba #Kulima #Kaamulali

Mu yiika weetaaga wakati wa gulaamu 150 ne gulaamu 250 ez’obusigo ate kirungi beedi ogikole mu kifo w’oyokezza enkoomi kuba obumu ku  bulwadde obwandisse obulokwa obuto , n’ebiwuka eby’obulabe ebimu biba bifudde. Simbuliza nga ziri wakati we nnaku 45 ne 60.

Muwe amabanga amalungi. Ku kaamulali ono gasaaana kuba ffuuti 2 ku 2 oba 2 ku 3. Okuva lw’omusimbulizza otandika okumukungula ku myezi esatu okutuuka ku ena. Nga alabiriddwa bulungi asobola okuwangaala okutuuka ku myaka ebiri.

Kaamulali ayogerwako

Kaamulali ayogerwako

Ebiyamba kaamulali okukula

Ettaka bwe litabeera ggimu osobola okukozesa ebigimusa  ebiteekebwa mu ttaka ebirimu ekiriisa kya Nitrogen nga NPK oba oyinza okukozesa ebifuuyirwa ku makoola nga Cropmax, Booster, Bayfolan n’ebirala ng’ogoberera ebipimo ebikuteereddwaako bakugu.

Oluvannyuma lw’amakungula agokubiri kirungi okumusalira n’aleeta obutabi obuto kuba kino kimuyamba okubala obulungi.