Ssimbwa ali ku puleesa y'ekikopo

May 06, 2021

ENNAKU n’ennyiike eya Express FC okubawandula mu mpaka za Stanbic Uganda Cup, abazannyi ba URA FC bakubizza bbali obwongo bwonna babuzze ku Startimes Premier League eddamu okutojjera enkya ku Lwokutaano nga bakyaza Onduparaka e Ndejje.   

NewVision Reporter
@NewVision

Myda-Kyetume 

Wakiso Giants-UPDF 

URA FC-Onduparaka FC 

Ku Lwokubiri Express yawandudde URA mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup ku mugatte gwa ggoolo 2-1 era Sam Simbwa n’awera okufiira ku kikopo kya liigi. Enock Walusimbi ku ddyo ali wansi ng'attunka ne Shafiq Kagimu ku kkono

Enock Walusimbi ku ddyo ali wansi ng'attunka ne Shafiq Kagimu ku kkono

“ Batabani bange tebagenda kuddiriza wadde nga bawanduse mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup era buli mupiira tugenda kuguzannya nga fayinolo era tetugenda kunyooma ttiimu yonna etusala mu maaso.” Simbwa bwe yategezezza. 

Sam Ssimbwa

Sam Ssimbwa

URA y’ekulembedde ekimeeza kya liigi n’obubonero 47 nga Onduparaka gye bakyaza e Ndejje ffoomu yaayo teyeyagaza nga mipiira etaano egyisembyeyo ewanguddemu gumu n’ekubwa ena egy’omudirigana. Mu luzannya olwasooka mu Arua, URA yameggerayo Onduparaka ggoolo 3-0. Shafiq Kagimu ku kkono ng'asika Mahad Kakooza

Shafiq Kagimu ku kkono ng'asika Mahad Kakooza

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});