Bya GERALD KIKULWE
KIGEZI Home Boyz eyali emanyiddwa nga Kabale Sharp FC mu Big League ekutte ku nkoona abadde omutendesi waayo Mark Twinamatsiko olw’okwolesa omutindo ogw’ekiboggwe n’obutakakkanira bakamaabe.
Twinamatsiko yeegatta ku Kigezi Home Boyz nga October 30, 2020 gy’emyezi musanvu gyokka gy’atambuzza ku ndagaano y’emyaka esatu gye yali yateekako omukono.
Andrew Odong akulira emirimu mu ttiimu ya Kigezi agamba nti okugobwa kwa Twinamatsiko kwakkaanyiziddwaako bboodi era n’omutendesi yakkirizza naye nga byonna byakoleddwa ku lw’obulungi bwa ttiimu n’okwezza obuggya mu kitundu kya Big League ekyokubiri ekisuubirwa okutandika nga May 16, 2021.
Twinamatsiko ajjukirwa nnyo bwe yasuumuusa ‘The Saints FC’ n’agiyingiza ‘Super’(2014/15), Kitara FC(2019/20) n’okutuusa Doves FC omulundi ogwasookera ddala mu byafaayo ku mutendera gwa ‘Play offs’ za Big League(2018/19). Attendeseeko Kirinnya Jinja SS FC kati eyitibwa Busoga United, Kira Young FC, essaza lya Kyaggwe ne Bugerere.
Kigezi Home Boyz y’eddiridde asembye mu kibinja kya Rwenzori n’obubonero 7 mu mipiira 7. Tooro United y’ekikulembedde n’obubonero 15.