Ba Samuel Kanyike
DISITULIKITI Khadi wa Luweero, Sheik Ramadhan Mulindwa asabye gavumenti eyalayidde esse essira ku kulwanyisa obuli bw'enguzi ng'ekangavvula ababwenyigiramu omuli okubasiba n'okubagoba ku mirimu kuba bazza eggwanga emabega.

Mulindwa era asabye Abasiraamu ku mulundi guno baweebwe ebifo ebisava omuli obumyuka bwa pulezidenti, Katikkiro n'ebirala kuba abayivu nabo babalina.
Yasabye Abasiraamu okugenda mu maaso n'okukola ebikolwa ebirungi nga bwe babadde bakola mu kisiibo, omuli okuyamba bannaabwe n'okusaala Juma.