EKITONGOLE ky’obwannakyewa ekya Initiative For Social Economic Rights –ISER nga kino ekirwanirizi ky’eddembe mu bulamu obwabulijjo, ebyenfuna, ebyobuwagwa n’empisa kiwazeewaze Obusumba bw’e Lugazi ne Kumi, olw’amalwaliro gaabwe ge bagamba nti gakwatirayo abakyala abalemereddwa okusasula ensimbi z’eddwaaliro naddala abo abazaalirayo.
Mu musango gwe gumu guno gwe batutte mu kkooti ya Uganda etuula e Mukono, bawawaabidde Ssaabawolereza wa gavumenti , Buikwe ne Kumi Local government, nga bano bavunaanibwa okulemererwa okuyamba ku muwendo gw’abalwadde okusobola okufuna obujjanjjabi nga bayita mu kulondoola, okulabirira ssaako n’okukuteeka mu nkola enkola ya disetulolayizasoni (decentralization).
Bano bakulembeddwaamu abakyala babiri abamu ku bagamba nti amalwaliro gano gabakwatir yo okuli; Prossy Namakula ssaako ne Suzan Akello nga bagamba nti bano baalinnyirira eddembe lyabwe olw’okutambula ssaako ate nga gawandiisibwa ng’amalwaliro agatakola magoba.
Bbo abawawaabirwa bategeezezza nga bwe babadde tebannategeera ku nsonga zino kuba tewali muntu n’omu yabawadde kiwandiiko okusobola okubaako kye batangaaza ku nsonga eno.
Amalwaliro aganokoddwaayo mu musango gino nge gamu agafuna obuyambi okuva mu gavumenti wansi w'enkola ya Public Private Partnership Agreement .
Mu mwaka gwe byensimbi 2020/2012, gavumenti yayisiza ensimbi 174, 409, 049 eri Kumi Hospital ne 130, 647, 647, 127 eri Nkokonjeru Hospital.
Dr. Richard Bbosa atwala ebyobulamu mu disitulikiti y’e Buikwe agamba nti ensimbi eziweebwa amalwaliro gano okuva mu gavumenti ttono nnyo okusobola okugonjoola ebisoomooza ebingi ebiri mu bitundu byabwe.