Enkya ya leero abasawo 18 batuuse mu ggwanga okusobola okugabira abatuuze b’e Rakai mu ddwaaliro lya Rakai mu Bwakamuswaga obujjanjabi ku bwereere era nti kino kyakukolebwa okumala wiiki nnamba .
Bano nga okuva mu gwanga lya Amerika mu kibuga Chicago nga beegattira mu kitongole ekimanyidwa nga Operation International abakulembeddwaamu Edie Chan bategeezezza nti bamaze ebbanga nga bajja mu bwa Kamuswaga okugaba obujjanjabi kubanga balina enkolagana nnungi ne Kamuswaga w’e Kooki .
Agambye nti basanyufu okutuuka mu ggwanga era nti ebintu byonna ebigenda okukozesebwa byakulekebwa biyambe abantu mu ddwaaliro ly’e Kooki .
Richard Segwanyi omwogezi mu Bwakamuswaga asanyukidde okukyala kw’abasawo bano era nti babayambe ebintu bingi naddala mu bujjanjabi ky’agambye nti kirungi kubanga kikulu nnyo abantu mu bwakamuswaga okubeera abalamu obulungi .