NAIROBI, SSANDE
Kenyata ne Odinga, bakkiriziganyizza ne bakola okusaba okwawamu kwe baayise Building Bridges Initiative (BBI) eri kkooti enkulu e Kenya ekkirize okukola enoongosereza mu Ssemateeka w’eggwanga. Baabadde baagala okutondawo ekifo kya Katikkiro wa Kenya n’okutondawo amasaza ampya 70.
Ky0kka oluvannyuma lw’abalamuzi bataano aba kkooti enkulu okugaana enongosereza, Uhuru ne Odinga ebintu birabika okwongera okubononekera.
Enongosereza zino, Kenyatta kw’abadde asibiridde olukoba okuwangula akalulu ka 2022 akabindabinda era kigambibwa nti, ababaka ba palamenti e Kenya bawebwa ddoola 1,000 mu za Uganda, 3,750,000/- okusemba enongosereza zikolebwe.
Kenyatta azze afuna ebizibu n’abalamuzi e Kenya okuva mu 2017 Ssaabalamuzi David Maranga bwe yalangirira nti, akalulu yali akawangudde mu bukyamu n’alagira okulonda kuddibwemu kyokka Odinga n’agaana okuddamu okwesimbawo ate oluvannyuma ne bafuuka ba kinywi.
Ku ludda lwa Odinga, naye ensala ya kkooti kkonde ddene, kubanga kw’abadde asuubira okuddamu okuzimba obuwagizi bwe n’okuvuganya mu by’obufuzi bya Kenya.
Odinga amaze emyaka egikunukkiriza mu 40 mu by’obufuzi bya Kenya era abadde alina essuubi ddene mu BBI mu kalulu ka 2022.
Kyokka wadde Kenyatta ne Odinga bakubiddwa ekkonde, omumyuka wa Pulezidenti, William Ruto azina gunteese. Yatadde obubaka ku mukutu gwe owa Twitter n’agamba nti, ‘Waliyo katonda muggulu ayagala Bannakenya okufa obufi.’
Ruto aludde ng’asika omuguwa ne mukama we okuva lwe yatandika okukolagana ne Odinga era alina essuubi ly’okumwesimbako kw’anaakwatira Jubilee bendera mu kulonda okujja.
Ensala ya kkooti, yawadde Ruto amaanyi n’obuwagizi oluvannyuma lw’abantu abamua mu Jubilee okulaba Kenyatta ng’omuntu eyeyagaliza yekka.
Mu kiseera kino, akalulu k’ekikungo kategekebwa kyokka kkooti yagambye nti etteeka teriwa Uhuru buyinza kukola nnongoosereza yonna mu ssemateeka abalamuzi ne bagattako nti, ky’ayagala okukola kya bumenyi bw’amateeka era tekiri mu ssemateeka wa ggwanga.
Akalulu k’e Kenya katambulira nnyo ku mawanga era abasalawo ani anaakulembera eggwanga kuliko Abakikuyu Uhuru mwava n’aba Luo omuva Odinga. Okuyisaamu enteekateeka ya BBI kibeera kitegeeza nti obuyinza basobola okubugabana mu kalulu akaddako olwo Ruto ava mu Bakalenjin babeera bamusudde ttale.