Abasawo mu ddwaaliro lya Mukono General hospital bali mu kattu olwa bbebi eyabuze

May 16, 2021

KIGAMBIBWA nti abazadde baabawaamu omufu.

NewVision Reporter
@NewVision

Abasawo mu ddwaaliro lya gavumenti erya Mukono General Hospital  mu kibuga Mukono bali mu kattu oluvannyuma lw’omukyala okubalumiriza nga bwe baakozesa olukujjukujju ne babuza omwana we omulamu ne babawaamu omufu.

Rose Baisi, omutuuze ku kyalo Kigombya mu Mukono Central Division yagambye nti ku Lwomukaaga nga 8, April, 2021 akawungeezi abasawo abaamuzaalisa ku ddwaaliro lino baakamutema nga bw’azadde omwana omu wabula nga ye yaggya akimanyi bulungi nti alina balongo.

Eddwaaliro ly'e Mukono nga bwe lifaanana

Eddwaaliro ly'e Mukono nga bwe lifaanana

Baisi agamba nti baamwebasa ku kitanda ky’eddwaaliro okutuusa bba ( amannya agasirikiddwa) bwe yatuuka n’amusaba okugenda ku poliisi Enkulu  e Mukono okuggulawo omusango ogw’omwana waabwe  okubuula naye kye yakola.

Baisi yagambye nti ku Ssande enkeera abazaalisa baabetondera ne bakabatema nti omwana owookubiri yali asigadde mu kisawo ekitereka omwana (Placenta). Baisi agamba nti   yasaba abasawo okulaba ku mwana ono gwe bagamba nti yali afudde kyokka ne bamutegeeza nga bwe baali bamaze okumusuula mu kinnya awausulibwa ebicaafu ebiva mu bakyala abazadde.

Dr. Kasirye, akulira eddwaaliro

Dr. Kasirye, akulira eddwaaliro

Annyonnyola nti olw’okuba waadi gye balimu yali ejjudde era nga buli omu ali bize, abasawobaasalawo okubasiibula n’omwana omu wabula ate mu matumbi budde abasawo be bamu ne babakubira essimu nga babategezza okujja okunona omulambo gw’omwana waabwe .

“ Baatusaba ensonga zino obutazitegeeza bannamawulire n’abantu b’omu kitundu era ne batusaba tusonyiwe abazaalisa abagambibwa nti omulongo ow’okubiri tebaamulaba ekintu ekizibu okukola kuba kiruma,” Baisi bwe yategezezza. 

Poliisi e Mukono etandise okunoonyereza  era atwala poliisi enkulu mu division y’e Mukono Ismail Kifudde agamba nti bo abasawo abaa zalisa ku ddwaaliro beeremye okubaako kye batangaaza ku nsonga zino ne bajuliza atwala eddwaaliro lino, Dr. Geoffrey  Kasirye.

Bwe twatuukiridde   Dr Kasirye ku lukomo lw’essimu yategeezezza nti ensonga zino abadde tazimanyiiko era yaziwulidde ku bannamawulire

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});