Emikolo gy’okujjukira amatikkira ge gyabadde ku kisaawe ky’essomero lya Kakoma Sec. School mu ggombolola y’e Lwanda mu disitulikiti y’e Rakai. Omulamwa mu matikkira gano gwatambulidde ku mulamwa; ‘kulwanyisa omuze gw’okufumbiza abaana abatanneetuuka e Kooki''.

Kamuswaga ng'abuuza ku ng'oma

Wano ng'atongoza ekitabo ky'Olukooki
Yasabye abazadde okulwanyisa omuze gw’okufumbiza abaana nga tebanneetuuka n’akalaatira abazadde okufaayo okuweerera abaana naddala abawala.

Kamuswaga ng'abuuza ku Bakooki
Katikkiro wa Kooki Hajji Idi Kiwanuka yasiimye Kamuswaga olw’okufaayo ku bulamu bw’abantu bwe yalagira abakooki bonna bagemebwe Hepatitis B ku bwereere. Oluvanyuma Kamuswaga yasaze keeki eyekijjukizo kyemyaka 17 era naagigabula abantu be nooluvanyuma naddayo mu lubiri lwe e Rakai.