ABATUUZE be Kamwokya mu zooni ya Old Kira Road okuliraana ekitebe kya Nup baguddemu ekikangabwa bwe basanze omuntu ng’attiddwa mu bukambwe abamusse ne bamusalamu ebitundu bye ebyekyama.
Okusinzira ku batuuze ettemu lino luabaddewo ku saawa 9:00 ezekiro ekyakeesezza ku Ssande.Omulambo guno gwasangiddwa nga gusibiddwa emiguwa ku mikono kyokka nga gugiddwamu engoye nga zisuliddwa ku bbali ekyalaze nti abamusse basoose ku mugyamu ngoye nga tebanatuuka ku musalako bitundu bye byakyama nakumutta.
Poliisi okuva eKira Road yatemezebwaako n'esobola okutuuka neyekebejja omulambo olwa neggwa ne ku bizibiti okwabadde akambe abatemu kebakozesezza ,esweeta egambibwa okuba eyekitongole ekikuumi n'ebilala.
James Kakooza kansala wa Kamwokya ii yategeezezza nti obubbi mu kitundu bususse nga bantu babayingiroira obudde bukyali, yagambye nti omuvubuka eyattiddwa babadde bamumanyiko linnya limu lya Odongo ng’abeera Bukoto navumirira okutwalira amateeka ,mu ngalo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyesigyire yagambye nti bakukwata ababadde emabega wettemu lino