Mubiru tamatidde
May 17, 2021
OMUTENDESI wa Police FC, Abadallah Mubiru yavudde e Ndejje nga tamatidde oluvannyuma lw'abazannyi be okumuyiwayo

NewVision Reporter
@NewVision
Bano baakubiddwa URA FC 3-1 mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League.
Joackiam Ojera ku kkono ng'ayita ku Eric Ssenjobe ku ddyo
Nga liigi yaakatandika omwaka oguwedde, Police y'emu ku ttiimu ezaali zivuganya ku kikopo kya sizoni eno olw'omutindo omulungi gwe batandika nagwo wabula mu makkati ga liigi ekintu ne bakiyiwa.
Mubiru ali ku puleesa oluvannyuma lw'okumala emipiira etaano ng'awanguddemu gwokka era bakwata kifo kya mukaaga n'obubonero 38
Abazannyi ba URA nga bajaganya ggoolo ya Steven Mukwala ow'okubiri okuva ku kkono
Related Articles
No Comment