Amawulire

Omugagga w’e Bbunga agambibwa okutomera mukazi we alojja by’ayiseemu

OMUGAGGA w’e Bbunga agambibwa okugezaako okutomeza mukazi we emmotoka alojja ennaku gy’ayiseemu, n’agamba nti omukazi ayagala kumutunza maka ge yazimba mu ssente ze yeewola.

Ennyumba y’e Bbunga ku kkono ye Abdallah Kizza.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Benjamin Ssemwanga

OMUGAGGA w’e Bbunga agambibwa okugezaako okutomeza mukazi we emmotoka alojja ennaku gy’ayiseemu, n’agamba nti omukazi ayagala kumutunza maka ge yazimba mu ssente ze yeewola.

Abdallah Kizza, yinginiya mu kkampuni ya AK Beamflex, agamba nti mukyala we, Sumayiya Uwiragiye amukaka okutunda amaka kyokka ng’okugafuna ssente yazeewoola mu b’enganda n’emikwano.

Yagambye nti yafuna ebbanja lya bukadde 600 okusobola okuzimba ennyumba zino era ng’abadde asasulako mpolampola.

Sumayiya Uwiragiye

Sumayiya Uwiragiye

Yagambye nti, atulugunyiziddwa mu ngeri ez’enjawulo nga bamaze omwaka gumu n’ekitundu mu ntalo ne mukazi we. Agamba nti mukazi we yagattako okumusombera abenganda ze n’abakuba awaka ne batuuka n’okumusongamu ebiso nga bamukaka okutunda ennyumba zino ez’ekika kya ‘apartments’ ssente bazigabane kyenkanyi n’omukyala.

Omulundi ogusembyeyo agamba yaddukidde ku poliisi y’e Bbunga okuyambibwa, era Poliisi ye yanonye baganda b’omukyala awaka oluvannyuma lw’okumukasukira amayinja nga bamugoba awaka nga kw’otadde n’okumuyita omubbi.

Kizza agamba nti mukyala we ono agenda mu bantu ab’enjawulo n’abakaabira nga bw’atulugunyizibwa naye nga byonna abikola ng’ayagala baawukane basobole okutunda amaka.

Agamba nti yawambibwako abantu b’ataategeera mu mmotoka ne bamutwala mu kifo ky’ataategeera ne bamuggyako obukadde 4 obwa ssente ng’agamba nti byonna byekuusa ku mukyala okukolagana n’abantu b’atategeera.

Abafumbo bano bamaze emyaka 7 mu bufumbo nga balina omwana omu, wadde ng’awaka waliwo abaana abalala bana be balabirira.

Kizza agamba teyandigaanyi kutunda maka gano naye ekiruubirirwa ky’okugazimba kyali kya kuggyamu ffiizi z’abaana n’okubalabirira.

Yagambye nti azze akolera omukyala ono bizinensi ez’enjawulo omuli saluuni, ebifo ebikolebwamu masaagi ne sawuna, yamuyigiriza okukola omwenge ssaako okumuwa ssente enkalu wabula byonna ne bimulema.

Gye buvuddeko Uwiragiye yaddukidde ku Bukedde ng’agamba nti bba ayagala kumutta oluvannyuma lw’okumulemesa okutunda ennyumba zino ezisangibwa e Bbunga.

Yagattako nti bwe yafulumye ennyumba yamuwondedde ku bodaboda kwe yabadde n’abatomera, wadde nga bino Kizza yabyegaanyi.

Tags:
Omugagga
Bbunga
okutomera
alojja