Imported

Kyagulanyi asabye abalamuzi 3 bave mu musango gw’obululu

ROBERT Kyagulanyi asabye abalamuzi ba kkooti ey’oku Ntikko basatu okuli; Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo, Mike Chibita ne Ezekiel Muhanguzi bave mu musango gwe yawaaba ng’awakanya  obuwanguzi bwa Museveni.

Kyagulanyi asabye abalamuzi 3 bave mu musango gw’obululu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ROBERT Kyagulanyi asabye abalamuzi ba kkooti ey’oku Ntikko basatu okuli; Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo, Mike Chibita ne Ezekiel Muhanguzi bave mu musango gwe yawaaba ng’awakanya  obuwanguzi bwa Museveni.

Alumiriza nti bano abasatu balina akakwate kanene ku muntu gw’awawaabira era tebayinza kuwulira musango ne bagusala mu bwenkanya.

Yagambye nti Dollo akolagana ne Museveni mu nsonga nnyingi ku bikwata ku by’emirimu n’enkolagana ye ng’omuntu kubanga yaliko minisita mu Gavumenti
ya Museveni era yali munnamateeka wa Museveni mu 2006 nga Dr. Kiiza Besigye amuwawaabidde mu musango gw’obululu.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo.

Ate bwe yatuuse ku Chibita n’agamba nti ono akoledde nnyo Museveni emirimu egy’ekyama kubanga yaliko omuwandiisi we ow’ekyama okumala emyaka  musanvu.

Ate ku Muhanguzi, yamulumirizza nti alina oluganda ku minisita w’obutebenkevu, Gen. Elly Tumwine, eyavaayo mu lwatu n’ayatula nti abaserikale balina obuyinza
okukuba ku nnyama abantu ensi yonna n’evaayo n’emuvumirira.

Kyagulanyi yeemulugunyizza nti kkooti yagobye obujulizi bwe yabadde ayongeddeyo mu kkooti, kyokka kino nga tekinnaba kubeerawo basoose kugoba kusaba kwe okukola ennongoosereza mu musango nga bagamba nti yagututteyo ng’obudde obulagirwa
mu mateeka bwabadde buweddeko.

“Twagenda mu kkooti ng’ekimu ku bigendererwa byaffe kwe kubaanika nti tewali kwetengerera mu kitongole Ekiramuzi wabula twali tetunnaba kukikola bo bennyini ne beeswaza,” Kyagulanyi bwe yaggumizza.

N’ayongera okunnyonnyola nti okusinziira ku biriwo byonna, baatugaana okuteekayo omusango ku lunaku Olwomukaaga kyokka aba NRM bwe baabadde baanukula
bo baabakkirizza ne bateekayo ebyabwe ku Lwomukaaga.

Kyagulanyi yategeezezza abaamawulire ng’asinziira ku kitebe ky’ekibiina kya NUP e Kamwokya nti okusinziira ku bye balaba, kirabika nga kkooti yeekobaanye
n’omuntu gwe yawawaabira kati y’agiwa ebiragiro.

Yategeezezza nti okusinziira ku bujulizi obuliwo bakitegedde nti, Ssaabalamuzi Dollo aludde ng’asisinkana Museveni kumpi buli lunaku ekintu ekikontana n’amateeka ku ntambuza y’emisango.

Omulamuzi Mike Chibita

Omulamuzi Mike Chibita

Wano we yasinzidde n’asaba nti Abalamuzi abasatu be yamenye amannya beesonyiwe omusango gwe kubanga tasuubira kubafunamu bwenkanya kubanga yagenda mu kkooti ng’anoonya kufuna bwenkanya so si kutulugunyizibwa.

Kyagulanyi yagenze okuvaayo okusaba Dollo ne banne okuva mu musango gwe, nga munnamateeka Male Mabiriizi yataddeyo omusango mu kkooti ey’oku Ntikko ku Mmande n’asaba Dollo abeere mwesimbu ave mu musango guno.

Yalabudde nti singa embeera eno egenda mu maaso nga tebakyusizzaamu, ye Kyagulanyi ne banne bagenda kubeera nga tebasigazizza kirala kya kukola wabula
okuggyayo omusango mu kkooti ey’oku Ntikko olwo baguteeke mu kkooti y’abantu.

Nga tannaba kwogera bino, yasoose kutegeeza nti embeera ey’okuwamba, okubuzaawo
n’okusiba abantu abatawozeseddwa, olwaleero akeera ku ofiisi z’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu Kampala okutwalayo ekiwandiiko okutegeeza ensi ku bikolwa
by’okutyoboola kw’eddembe ly’obuntu ebiri mu ggwanga.

Okuddayo ku musango oguli mu kkooti, bannamateeka ba Kyagulanyi aba Wameri & Company Advocates & Solicitors baawandiikidde kkooti ey’oku Ntikko ku
Mmande ne batuusa okwemulugunya nti we zaaweredde ssaawa 11:00 ku Ssande nga weebali ku kkooti bateekeyo obujulizi wabula obumu baabutuusizza ng’essaawa
11:00 ziyiseeko.

Bwe baalabye tekisobose kkooti okutwala obujulizi buno kwe kusalawo bakeere ku Mmande ku ssaawa 1:00 ku makya babuteekeyo wabula kkooti n’ebugoba.

Wabula ebbaluwa ya Wameri, omuwandiisi wa kkooti Harriet Nalukwago Ssali yagyanukudde eggulo n’ategeeza nti bwe baabadde mu kkooti nga February
11, Ssaabalamuzi yabadde mulambulukufu nti obujulizi bwonna bulina okuggwaayo obutasukka ssaawa 11:00 ku lwa February 14.

Nalukwago yakiggumizza mu bbaluwa eno nti empapula zokka ezijjuuliriza obw’abantu 50 bwe basooka okuteekayo zokka ze bagenda okukkiriza.

Embeera eno yawalirizza Kyagulanyi okujjukiza kkooti nti mu musango gwa Besigye
ne Museveni mu 2006, kkooti yakkiriza obujulizi okusigala nga buleetebwa ng’eno omusango bwe guwulirwa ate mu 2016 mu musango gwa Mbabazi, kkooti yabawa wiiki okuwa obujulizi naye ku luno Ssaabalamuzi Dollo yabalagidde okuwa obujulizi mu
ddaakiika 30 zokka obusigadde babuweeyo mu buwandiike ekintu Kyagulanyi ky’awakanya.

EKIRI MU BUJULIZI OBWAGOBEDDWA
Munnamateeka Medard Sseggona yategeezezza nti obujulizi buno bwe bwabaddemu ekinyusi ky’omusango wabula n’agaana okunnyonnyola ebisingawo kyokka ensonda ezeesigika zaategeezezza Bukedde nti obujulizi buno kkooti bwe yagaanye, mwe
mwabadde obulaga engeri abantu abamu gye baakubanga akalulu emirundi egisukka mu gumu.

Ensonda zongera okutegeeza nti mwe muli n’obujulizi obulaga engeri gye baajingirira ebyava mu kulonda n’effujjo egyakolebwa ebitongole by’ebyokwerinda ku
bannansi abeenyigira mu kalulu.

Abalamuzi mwenda okuli; Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo, Stella Arachi Amoko, Esther Kisakye, Rubby Apio Aweri, Faith Mwondha, Ezekiel Muhanguzi, Paul Mugamba, Percy Night Tuhaise ne Mike Chibita be bawulira omusango guno wabula Kyagulanyi ayagala abasatu baguveemu.

Olunaku Lwomukaaga oludda oluwawaabirwa okuli: Museveni, akakiiko k’ebyokulonda ne Attorney General lwe bagenda okwewozaako. Kkooti yataddewo olwa March 18, 2021 okuwa ensala.

Omulamuzi Muhanguzi

Omulamuzi Muhanguzi

EMITENDERA GY’OYITAMU OKUGGYA OMULAMUZI MU MUSANGO
Omulamuzi Jamson Kareman omwogezi w’okitongole ekiramuzi yategeezezza nti
omuntu bw’abeera ayagala okuggya omulamuzi mu musango waliwo emitendera
gy’oyitamu n’omutegeeza n’owa ensonga wabula tova mu bbanga n’oyogera ebigambo
ng’osinziira gy’oyagadde.

Wabula agamba nti ekirungi waliwo Munnayuganda eyataddeyo edda okusaba mu kkooti ku nsonga y’emu ne Kyagulanyi bw’abeera ayagala ayite mu nkola y’emu awe n’obujulizi kyokka era kkooti ebiwulira bwe bibeera temuli nsonga basobola okubigoba.

Ku nsonga y’okubawa eddaakiika 30 okuwa obujulizi mu kkooti Kareman agamba
nti kkooti yabalagira baweeyo obujulizi mu buwandiike kubanga awo omuntu abeera
n’obudde obumala okuteekamu buli ky’ayagala kyokka mu kwogera osobola okwerabira
ebimu.

Okugamba nti babaleke boogere kijja kutwala obudde bungi so ng’obwo obulambikibwa
mu tteeka bulabika bunaatera okuggwaayo.