Bya KIZITO MUSOKE ne MADINAH SEBYALA
Lukulirwa Sheikh Abdunoor Lunaanoba eyasikira Sheikh Obed Kamulegeya eyagobwa mu 2018.
Ensonda e Kibuli zaategeezezza nti baatandise dda okukuba ttooci mu banaalya ekya Supreme Mufti. Baabano abasongeddwaako olunwe;
DR. ABDU HAFIZ WALUSIMBI:
Akulira ebya Sharia mu yunivasite y’Obusiraamu eya IUIU e Mbale. Alina diguli ssatu mu mateeka g’Obusiraamu. Yasooka kusomesa mu masomero ga siniya tannafuuka musomesa wa yunivasite mu 2004.
Mu kiseera kino y’akulira ebyeddiini n’olulimi Oluwalabu ku IUIU era alina n’ekibiina kya Al-Haq Shariah Consultancy and Advisory Bureau ekinoonyereza ku nsomesa y’Obusiraamu, amateeka g’eddiini n’ensonga endala ez’eddiini. Wa munda e Kibuli era atera okubuulira ku mikolo emikulu e Kibuli n’emirala egitegekebwa awaka ew’Omulangira Nakibinge.
Kitaawe Sheikh Musa Ssebbumba akulira ebya Daawa e Mityana atuula ku lukiiko lwa Bamasheikh olw’abamanyi olwa Majilis Ulamah. Luno lwe lulonda Supreme Mufti.
Kyokka waliwo abagamba nti emyaka gya Walusimbi (ali mu myaka 40) gikyali mimpi okuweebwa obuvunaanyizibwa obulimu okutwala Bamasheikh abakulu abamanyi. Wabula abamuwagira bagamba ku myaka egiri mu 40, mukulu ekimala, ekirala guno mulembe gw’abavubuka.
SHEIKH ABUDUNUL KAKANDE:
Sheikh Kakande 75, ye District Khadi wa Mukono n’e Kayunga. Abadde muwulize e Kibuli okuva ku mulangira Badru Kakungulu.
Yasomera Katuumu e Luweero ebyeddiini mu ssomero lya Mufti wa Uganda eyasooka, Muhamood Ssemakula gye yava n’atandikawo essomero lye erya Mataba Koran School.
Akyasomesa mu ssomero lino. Ebyeddiini yabisomera Pakistan n’ensi z’Abawalabu endala. Abirinamu diguli ssatu.
Mu lukiiko olwatondawo UMSC mu 1972 olwagatta ebiwayi okwali Bukoto-Nateete, Juma Zukuli African Community ne Kibuli Young Moslem Association.
Mu kiseera ekyo ye yali avunaanyizibwa ebyeddiini mu East Buganda. Kigambibwa nti ekyamulemesa yalabibwa ng’akaddiye.
Kyokka waliwo abagamba nti ekifo kya Supreme Mufti kyetaaga bumanyi si myaka. Bawa ekyokulabirako nti Kayongo yakola bulungi wadde yali asussa emyaka 70.
SHEIKH ABDUNOOR LUNAANOBA
Akulira Bamasheikh mu ggwanga. Yadda mu kifo kya Sheikh Kamulegeya. Ye pulezidenti General wa Juma- Zukuli abalina ekitebe e Kawempe.
Omu ku bantu Omulangira Nakibinge be yeesiga. Gwe yalagidde okusaalira Hajji Musa Katongole. Erinnya lye limu ku mannya ana okwalondebwa omusika wa Kayongo.
DR. RASHID YAHYA SEMUDDU:
Yaliko omubaka wa Uganda e Saudi Arabia. Yakuguka mu byeddiini n’ebyensi. Enjiri ye ecamula abantu abagamba nti atambula n’omulembe.
Ali mu myaka 50, egimussa wakati w’abavubuka n’abakadde.
SHEIKH KIBAATE:
Alina obumanyirivu kubanga yaliwo ku mulembe gwa Kayongo n’ogwa Ndirangwa. Yakuguka mu Byeddiini n’okusoma kw’ensi. Amaanyi ge bwe bunafu bwe.
Mutabuliki atunuuliddwa ng’abakiikirira kyokka ng’ate akolagana bulungi n’abatali Batabuliiki.
Ekizibu agoberera Abatabuliiki ku butasoma Mawuledi, tayabya nnyimbe. Ate nga gy’emikolo Kibuli gye yettanira.