TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abaggya abaana ku ddagala lya kookolo batta emikisa gyabwe okuwonera ddala

Abaggya abaana ku ddagala lya kookolo batta emikisa gyabwe okuwonera ddala

Added 9th October 2020

Omusawo ng'ajjanjaba omwana atawaanyizibwa obulwadde bwa kookola

Omusawo ng'ajjanjaba omwana atawaanyizibwa obulwadde bwa kookola

DAVID Ssemukaaya y'omu ku baana bannamukisa abaawonera ddala kookolo. Bw'aba akunyumiza olugendo lwe olw'okuwona agamba nti: "Bwe bankebera nga nnina kookolo nga nnaatera okutuula ebibuuzo bya PLE, ne ntandika eddagala naye ebintu tebyali byangu kuba eddagala lyali lya maanyi naye saalivaako.

Bwe namalayo ddoozi, baddamu okunkebera nga waliwo ebizimba ebisigaddemu ne banziza ku ddoozi endala. Bwe nagimalaayo, baddamu okunkebera nga kookolo gwe nalina awonye ne nkyebaliza Katonda mu 2013 naye ne nsigala nga nnina okukomawo bankebereko era mu 2018 ne bangamba nti mponedde ddala era kati nsoma busawo".

Ssemukaaya

Okufaanana ne Ssemukaaya, abaana bangi baba n'emikisa egy'okuwonera ddala kookolo naye emikisa gino ne gittibwa ababalabirira ababaggya ku ddagala nga tebannalimalayo.

Abasawo beeraliikirivu nti okusinziira ku baana abafunira obujjanjabi mu ddwaaliro lya kookolo erya Uganda Cancer Insitute e Mulago , abaana abava ku ddagala kumpi bali 30 ku buli 100.

Betty Muwonge alina omwana eyalwala kookolo agamba nti; " Nze nnali sikisuubira nti kookolo akwata abaana abato okutuusa bwe baakebera omwana wange ne bakantema nti alina kookolo," Betty Muwonge akulira ekibiina ekibudaabuda abazadde abalina abaana abalwadde ba kookolo bw'agamba.

Betty Muwonge

Muwonge agamba nti alina abaana munaana naye bonna yabaleka awaka ng'alina okujjanjaba muwala we Pearl Namuwonge mu 2010. "Eddagala twalimalayo mu 2013 ne nsigala nga nkyamutwalayo okumukeberako era kati yawona.

Nayita mu kusoomoozebwa kungi ng'oluusi nneesanga nga njogedde n'ekigambo kye sandyogedde ku musawo naye ne batugumiikiriza.

Twakola ekibiina mu 2017 abazadde abalina abaana ba kookolo mwe tukungaanira ne tuyambagana, okugumya, okubudaabuda n'okuzzaamu amaanyi abazadde naddala abapya, okulaba ng'abaana baabwe babakuumira ku ddagala ne bamalayo obujjanjabi era abamu bawonye.

 

AKABI K'OKUVA KU DDAGALA

Dr. Joyce Balagadde Kambugu akulira eby'obujjanjabi bw'abaana mu ddwaaliro erijjanjaba kookolo erya Uganda Cancer Institute e Mulago agamba nti ensangi zino abaana bangi mu ddwaaliro abatandisibwa ku ddagala ate ne bamala ne balivaako ne babula okumala ebbanga erisoba mu wiiki bbiri. Wano ddoozi eba efudde.

Ekyennaku obulwadde bwewaggula ne butambula agenda okukomawo nga bweyongedde okusinga bwe yali.

Ekirala omwana bw'ava ku ddagala, likendeera amaanyi nga terikyasobola kumukolako bulungi era kikendeeza ku mikisa gye egy'okuwona.

Abaana abava ku ddagala kumpi

bali 30 ku buli 100.

LWAKI ABAANA BAVA KU DDAGALA

1 Okuterebuka. Dr. Balagadde annyonnyola nti oluusi abazadde batuuka mu ddwaaliro abaana ne bafuna ddoozi esooka naye n'amala n'agamba abasawo nti tagenda kumalako n'abivaako nti alina gw'alabye ng'alina ekika kya kookolo aluma n'owuwe ekitegeeza nti n'owuwe agenda kufa ne batya ne badduka.

2 Abooluganda okubalekerera. Abazadde abakyala tebafuna buyambi kuva eri bataata b'abaana ne ffamire zaabwe ekibaleetera okulekulira obujjanjabi bw'abaana baabwe. Abaana bano olubatuusa mu ddwaaliro bamaama tebaddamu kufuna buyambi, abamu n'okubagoba ne babagoba nga balowooza nti bagenda kubaleetera ebisiraani.

3 Obuvunaanyizibwa.

Abamu bawalirizibwa okuva ku bujjanjabi kubanga yalekayo abaana abalala nga n'oluusi bato kyokka nga tafuna buyambi bwonna kuva mu ffamire ye. Ebiseera ebisinga abeera mu ddwaaliro naye ng'omutima gumulumira n'abaana abalala be yalese awaka n'awalirizibwa okuyimiriza obujjanjabi addeyo eka alabe abaana be.

4 Okubeera ewala n'eddwaaliro. Abamu bava ku ddagala kubanga babeera wala n'eddwaaliro ekibalemesa okwewuubanga mu ddwaaliro okufunira abaana obujjanjabi obwetaagisa.

5 Obwavu. Newankubadde eddwaaliro libawa obujjanjabi obw'obwereere, omujjanjabi yeetaaga okubeerako n'essente entonotono ezisobola okumuyambako mu bintu ebimu. Naye alaba talina amuweereza ku ssente ate nga takola kyokka n'abaawaka n'essimu baaziggyako tebaagala abakubire embeera n'emulemerera n'abivaako.

6  Abamu balowooleza mu ddogo. Abamu balowooza nti omwana bamuloze, aliko empewo n'ebirala ekivaako okuva ku ddagala.

7 Eddagala ly'ekinnansi. Waliwo abafuna ddoozi esooka ate bw'alaba atereddemu n'aliyimiriza ate n'amuzza ku kadomola okumala ebbanga, agenda okukomawo oluvannyuma lw'ekiseera ng'obulwadde bweyongedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...