TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obulwadde bwa kookolo mu baana n'obubonero kw'obulabira

Obulwadde bwa kookolo mu baana n'obubonero kw'obulabira

Added 9th October 2020

Dr. Balagadde

Dr. Balagadde

Mu nsi yonna, kiteeberezebwa nti kookolo akwata abaana 400,000 buli mwaka naye nga ku bbo, 40 ku buli 100 bali mu Afrika. Mu Uganda, kiteeberezebwa nti abaana 2,000 bafuna kookolo buli mwaka era nga ku bo, 70 ku buli 100 tebatuuka ku musawo.

"Ku Uganda Cancer Institute, tulaba abaana 500 buli mwaka, abapya abakakasiddwa okuba n'obulwadde bwa kookolo," Dr. Joyce Balagadde Kambugu bw'agamba .

KIVA KU KI OMWANA OKUFUNA KOOKOLO

Kookolo mu baana 95 ku buli 100 tamanyiddwa kimuleeta. Sso nga mu bantu abakulu, ebivaako okufuna

kookolo bimanyiddwa naye ku bbyo, tekuli bireeta kookolo mu baana. Abakugu bakyanoonyereza okulaba ebireeta kookolo mu baana.

ALINA KOOKOLO OMULABIRA KU KI

Obubonero bwa kookolo mu baana bwefaanaanyiriza endwadde z'abaana endala era kiba kizibu abasawo. Buno mulimu; Okuggwaamu omusaayi.

Afuna obulumi mu magumba, afuna omusujja ogwa buli kiseera. Obwo bwe bubonero obwa kookolo w'omu musaayi naye ate bwefaanaanyiriza obwa siikoseero n'obulwadde bw'omusujja gw'ensiri. Noolwekyo omwana bw'omujjanjabisa omusujja nga tegugenda ate ne bakugamba nti gwandiba omusujja gw'omu lubuto naye nga tawona, muleete mu Uganda Cancer Institute tumukebere bulungi ku bwereere.

Ebizimba. Omwana afuna ebizimba mu bulago oba mu nkwawa. Ekizimba kyonna ky'olaba ku mwana nga tekyandibaddewo, olina okukinoonyerezaako.

Olubuto okuzimba. Yandiba ng'omwana alina kookolo w'ensigo, ebiseera ebisinga omwana oluweza emyaka ena atandika okwenaaza oba banne okumunaaza, bw'afuna ekizimba mu lubuto kiyinza okubeera ekizibu okumanya. Munaazeeko olumu nga bw'omwekebejja, mu lubuto bwe mubeeramu ekikaluba, osobolaokukimanya mu bwangu.

Ensanjabavu ezitagenda.

Afuna ensanjabavu ku mubiri gwonna nga tezimuluma nga talina kiwundu ate nga ne bw'afuna obujjanjabi tezigenda. Kyetaagisa okunoonyerezako kuba yandiba ng'alina kookolo w'ensanjabavu.

Obuvune oba obulumi obutagenda. Ssinga omwana afuna obuvune ng'azannya naye ng'obuvune tebugenda, kiba kisusse nga kikwetaagisa okweyongerayo mu ddwaaliro eddene bamwekebejje kuba yandiba kookolo w'amagumba.

Emmunye enjeru mu liiso.Omwana talina kubeera na mmunye njeru, kino bw'okiraba ddukirawo mu ddwaaliro bamukebere.

OBUJJANJABI

Abazadde oluusi tebafuna bujjanjabi butuufu mu budde ate ng'eddagala lya kookolo weeriri ate nga lya bwereere. Tulina obukugu n'obusobozi okukebera kookolo mu baana, bwe kizuulibwa ng'omwana alina kookolo, ekika kya kookolo ne kizuulwa era empeereza zino za bwereere. Byonna bwe biggwa ne tulyoka tumuwa eddagala ettuufu kuba eddagala lya kookolo weeriri nga nalyo lya bwereere, abeetaaga okulongoosebwa nabo ne balongoosebwa , n'eyeetaaga okukalirirwa nakyo ne kikolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....