TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abantu lwaki babaguza emigaati ne kkeeki ebijingirire ng'abakulembeze basirise?

Abantu lwaki babaguza emigaati ne kkeeki ebijingirire ng'abakulembeze basirise?

Added 13th March 2013

OMUGAATI oba keeki gy’olya omanyi gye bagifumbira? Okimanyi nti oyinza okuba olya butwa oba okuba nga bakufeze, ssente z’osasudde tezigya mu ky’oguze? Kalondoozi wa Bukedde alaze abajingirira emigaati ne keeki n’engeri gye babbamu abantu.

OMUGAATI oba keeki gy’olya omanyi gye bagifumbira? Okimanyi nti oyinza okuba olya butwa oba okuba nga bakufeze, ssente z’osasudde tezigya mu ky’oguze? Kalondoozi wa Bukedde alaze abajingirira emigaati ne keeki n’engeri gye babbamu abantu.

 

WIIKI ewedde, ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi mu ggwanga  ekya Uganda National Bureau of Standards kyakoze  ebikwekweto ku makampuni agakola ebyokulya ebikolebwa mu ng’aano era ne baggala agamu ku makolero gano. 

Amakolero gaggaddwa e Nateete ne mu bitundu bya Kampala ebirala. wabula guno si gwe mulundi ogusoose okuggalawo beekeeri mu Kampala n’emiriraano. Mu September wa 2004, ekitongole ky’ekimu kyaggalawo beekeeri ya Shoprite  Ben Kiwanuka Street, abakungu baakyo bwe baazuula nti emigaati ne keeki bifumbibwa mu bintu ebiyiseeko ennaku. baakwata ne sitoowa nnamba ey’ebintu bino ebirindiridde okufumbwamu emigaati kyokka nga biyiseeko ennaku!

Ate mu July wa 2009, aba UNBS baggalawo beekeeri ssatu mu kibuga Arua lwa kukola migaati egitali ku mutindo. Beekeeri ezaggalwawo mu kiseera ekyo kuliko  Quality Bakery  esangibwa ku Arua Primary, Nyange ne Desire bakery zombi eziri mu  Obolokufuku Cell mu Arua municipality.

Naye obadde okimanyi nti emigaati mingi gy’olya weesombera ndwadde? Oba bw’ototwala ndwadde nga bakufeze ne gitawera?

 

Biki bye bassa mu migaati ne keeki?

Barbara Kamusiime, omwogezi w’ekitongole  kya UNBS agamba nti okwemulugunya kwe bafunye mulimu emigaati egitayidde, egiyiseeko ennaku,  egitazitowa ekitegeeza nti tegiweza buzito bulagiddwa.

Waliwo egibaamu  ebiyenje, obuveera n’ettaka! Ensonda zaatutegeezezza nti waliwo engeri nnyingi ze bajingiriramu emigaati ensangi zino. “Abamu basa bijanjaalo, ennoni oba ensaano eva mu magumba gye bafumbamu emigaati! Waliwo abassaamu obuwunga bwa muwogo.

Ggwe teweebuuza wa amagumba agava mu bisolo ebittibwa mu Kampala gye bagassa ensangi zino. Bangi balowooza nti bakolamu mmere ya bisolo, kyokka abagezigezi kati bagasa wamu n’amayembe ne bagafumbisa emigaati,” omu ku bakozi akolera mu beekeeri emu mu Kampala bwe yagambye!

Ono yang’ambye kw’olabira omugaati ogufumbiddwa mu buwunga bw’ebijanjaalo gwe mugaati okuba nga gukalubakaluba.

“Bw’oba oyagala okumanya oba bataddemu ennoni oba ettaka guzitowe, menyaamenya omugaati ogwo ogusse mu micungwa emikamule, ojja kulaba nga gubimba ng’omutokoze, ensaano eyo oluusi edda kungulu,” Kamusiime bw’agamba.

Abalala mu migaati bassaamu layimu ng’ono akola ku bizimbe!

Muky. Kamusiime  agamba nti, abantu baludde nga beemulugunya ku migaati ne keeki ebijingirire.

“E Bweyogerere waliwo eyatukubidde nga yeemulugunya ku beekeeri emu efumbira emigaati awajama. Bwe twatuuseeyo ng’abantu baafa dda,” bw’agamba.

Agattako nti abantu bakolera mu bizimbe nga bya biwempe, enkuba olutonnya ettaka lisammuka butereevu mu migaati gy’afumba.

Mu Uganda ab’obukolero obutono be basinga okukola emigaati era be babadde bakyalina ekizibu ky’obutakolera ku mutindo. Kino kiva ku kubanga obukolero obusinga tebwewandiisa, kale tewali abalondoola era tebawa musolo.

 

 

Kamusiime agamba nti ku makolero agafumba emigaati mu ggwanga, 20 gokka ge geewandiisa.  

Kw'olabira omugaati omujingirire

1. Tegubaako nnaku za mwezi kwe gwonoonekera. Omugaati omutuufu tegulina kusussa nnaku musanvu okuva nga baakagufumba.

2.Tegubaako linnya lya mukozi.

3.Tekuba kabonero kakakasa nti yeewandiisa.

4.Tekuba ndagiriro.

5. Obuzito bwagwo buba tebutuukana na buzito buwandiikiddwa kungulu.

6. Engeri gye gusabikiddwaamu bw’eba embi gwetegereze. Waliwo abagisokoola, n’aggyamu toosi ezimu n’azigattagatta n’akolamu emigaati emirala kyokka n’asigala ng’akuguza ku bbeeyi y’emu!

Abalala bagipaakinga mu buveera obw’ebitulituli kye giva gigendamu ebiyenje n’ettaka. 

Omutindo gwa beekeeri

Omutindo guno okusinziira ku UNBS guli mu mitendera ebiri. Waliwo obuyonjo bw’ekkolero n’omutindo gw’emigaati gyennyini. Okukola emigaati egiri ku mutindo, agikola ateekeddwa  okubeera n’ebbaluwa emukakasa nti ddala ekifo kye kyekebejjebwa ne bamukkiriza okufumba emigaati. 

Akasenge mw’akolera kalina okubaamu sseminti; nga w’akolera wayonjo ate ng’ekizimbe kizimbiddwa okulaga nti kyankalakkalira sso si biwempe oba mbaawo.

Ebyuma by’okozesa mu kufumba birina okuba ebiyonjo. Buli mukozi alina okwesabika okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku kagere akasembayo. Wabula bameka abatuukiriza kino?

Abakola emigaati

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakola emigaati ne kkeeki ekya Uganda Bakers Association, Mw. Gaster Lule era nnannyini kkampuni ya Ntakke, annyonnyola nti omutindo gw’ebifumbibwa gufudde lwa bantu butawa mirimu gyabwe kitiibwa.

“Kino kye kivaako okukola ebintu ebikyafu oba ebitatukana na mutindo. Omugaati gw’okola guliisa abantu bo, bwe gutaba muyonjo manya nti n’abaana ababo bajja kulwaliramu,” bw’agamba. 

Mw. Lule agamba nti abakola mu migaati balina okukeberebwa okumanya  nti bali ku mutindo ogwetaagisa okukola mu byokulya.

“Ffe omuntu bw’ajja mu kibiina tumusaba ebbaluwa bbiri, emukkirizisa okufumba emigaati n’emukkiriza okukola bizinensi.  Zombi zimuweebwa KCCA.  Tetulondoola gy’akolera kuba ekyo KCCA y’erina okukiikola,”bw’agamba.

Dr.  Kenneth Nsubuga, omusawo mu ddwaaliro e Hoima annyonnyola nti, obumu ku bubonero kw’olabira omugaati omukyamu kwe kukyuusa langi. Bwe gulwawo gukukula ne gukola obuwunga munda. 

“Obuwunga obwo bubeera bwa butwa era bw’ogulya gukuleetera obulwadde nga, okuzimba olubuto, okukumalako ekyagala okulya.

Omugaati nga guno guttula n’ekirwadde kya alusa, gunafuya ekibumba, emmeeme ya wansi ekka ate emigaati emijama girwaza   ekiddukano,” bw’agamba.Mu balala babejjagala nnyo.

Etteeka linafu 

Mw. Henry Kimera, akulira ekibiina kya Customer Education Trust ekisomesa abantu ku bintu bye bagula n’omutindo gwabyo agamba nti ekivuddeko okujingirira emigaati ensangi zino kwe kuba nti Gavumenti ne KCCA bwe bamala okuwa layisinsi ab’obukolero obukola emigaati, tebaddayo kulondoola kulaba wa we bagikolera.

“Abakulembeze mu bitundu nabo balina okulondoola ab’obukolero buno, kubanga abantu bwe banaafa oba okulwala nabo bavunaanyizibwa,” Kimera bw’agamba.

Looya Uthman Mulindwa agamba nti okujingirira ebyokulya byonna musangobgwa ngassi.

“Kisinziira ku mulamuzi n’obunene bw’omusango gw’okoze, oyinza okuwa engassi oba okusibwa mu kkomera,” bw’agamba. Ekibi nti tewali kibonerezo kinene kiweebwa oyo abeera ajingiridde. “Omuntu atunuulira ssente ezigenda okumusabibwa ng’engassi ng’alaba tezimusala. Ne bwe bamusiba ng’eno Poliisi bw’enoonyereza era obujulizi bujja kubula bamute,” Mw. Kimera bw’agamba.

Ab’obukolero buno abasinga bakola kiro, ng’aba UNBS bazze eka, kale olwo balibakwata ddi? Ye UNBS erina obusobozi okunoonyereza eggwanga lyonna? Ku bakozi abatono be balina, bayinza okutalaaga eggwanga ekiro okukwata abajingirira emigaati ne kkeeki?

Kamusiime agamba nti etteeka eririwo erya 1983 liragira nti gwe bakwata ng’akoze ekintu ekitali ku mutindo atanzibwa 30,000/- oba okusibwa emyaka ebiri. Olw’okuba nti abakola emigaati bakimanyi tekibatiisa kujingirira migaati na kkeeki.

 

 

 

 

 

Abantu lwaki babaguza emigaati ne kkeeki ebijingirire ng’abakulembeze basirise?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...