TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bassentebe e Ntebe batunda batya ettaka lya Gavt. mu ngeri y'ekifere?

Bassentebe e Ntebe batunda batya ettaka lya Gavt. mu ngeri y'ekifere?

Added 28th August 2013

OMUZE gw’okunyaga ettaka ly’a Gavumenti mu kibuga ky’e Ntebe gukutte wansi ne waggulu. Bassentebe b’eggombolola ebbiri omuli A ne B n’abakozi ba kanso abalala basuliridde okukwatibwa poliisi etandise okubabuulirizaako nti beekomya ettaka.




ETTAKA lya Gavumenti mu kibuga ky’e Ntebe litundiddwa abakulembeze b’ekibuga kumpi kulimalawo. Ensonga zibadde zaakatwalibwa mu Palamenti omwezi oguwedde ate abakulembeze abalala ne batandika okubuulirizibwako olw’okutunda poloti z’ebitongole bya Gavumenti. Kalondoozi wa Bukedde alaze ekibbattaka mu kibuga ky’e Ntebe. 

OMUZE gw’okunyaga ettaka ly’a Gavumenti mu kibuga ky’e Ntebe gukutte wansi ne waggulu. Bassentebe b’eggombolola ebbiri omuli A ne B n’abakozi ba kanso abalala basuliridde okukwatibwa poliisi etandise okubabuulirizaako nti beekomya ettaka. 

Poliisi egamba nti abakulembeze ab’enjawulo mu kibuga kino okuli ggombolola A ne B n’omukozi wa Gavumenti baakozesa olukujjukuju batunde ettaka nga baliguza omukazi omufere. 

Bano kuliko ssentebe wa Ggombolola B Anthony Ssegujja, ssentebbe wa A David Kasule Wasswa. Abalala abali mu lukwe kuliko Ibrahim Mitti eyeeyise Ekochu Richard ne Abas Mugerwa eyeeyise Patrick Odong.

Nga 4 January 2011, omukyala omu Salimah Nassinde yakola endagaano okugula ettaka lino okuva ku Ssegujja, Wasswa ne Mitti era nga ku ndagaano eno baali batunzi ate nga Nassinde y’agula. Ettaka lino liri ku Eric Magala Road e Bugonga mu ggombolola A. Baali batunda ekibanja ekiwezaako yiika ssatu.

Nassinde yalina okubawaako akawumbi kamu n’obukadde 900 (1,900,0-00,000/-) kyokka n’atazibawa.

Ezaali zisigaddeyo yalina okuzibawa mu mwezi gumu gwokka nga zaali akawumbi kamu n’obukadde 300 (1,300,000,000/).

Nassinde yali ategeeraganye n’abakungu bano nti alina omuguzi gwe yali alimbye nti yali aguze ettaka lino ng’asasuddeko kyokka nga bamubanja.era ng’alina okuzisasula mu mwezi gumu gwokka kyokka ng’omuguzi ono ye yalina okuligula.

Ssentebe Ssegujja bamunoonyerezaako.

Abatunzi bwe baawulira kino bateeka emikono ku ndagaano kyokka n’okutuusa kati ssente tezibaweebwa nga.

Ettaka lino liriko ekyapa nga kuliko abantu babiri bannannyini lyo. Kuno kuliko Ekochu Richard amanyiddwa nga Mitti Ibrahim ne Abasi Mugerwa eyeeyita Patrick odong.

 

NASSINDE BY’AGAMBA

Nassinde mmaze ebbanga nga mmwesibako ayogere ddi lwe yawa bassentebe ssente zino era oba yazibawa mu mpeke oba ceeke.

Yagambye: Ebintu ng’enda kubimala n’abantu abanguza ettaka, tewali ajja kubiyingiramu.”

 

Abanene abalala be basuuzizza ettaka lya Gavumenti e Ntebe

ENSONGA z’okubba ettaka lya Gavumenti mu kibuga ky’e Ntebe zaatuukako ne mu Palamenti omwaka guno.

Nga 11 July 2013, Minisita w’ebyamasannyalaze n’obugagga obukusike, Ying. Irene Muloni yategeeza Palamenti nga bwe babbye ebintu bya Gavumenti ku Poloti 7 Lugard Avenue e Ntebe.

Wiiki eyaddako nga 18 July 2013, omubaka wa Ntebe Municipality Muhammad Kauma, naye yalaga okutya abagagga babaguzizza ettaka lya Gavumenti e Ntebe kumpi kulimalawo ng’alaga nti abakulembeze mu Ntebe be bakikola.

Kino kyavaako olukiiko olwenjawulo nga 22 July okuteesa ku ngeri y’okutaasaamu ettaka ly’e Ntebe. Olukiiko lwalimu bonna abavunaanyizibwa ku byettaka e Ntebe omuli ab’akakiiko k’eggwanga ak’ebyettaka; Wakiso District Land Board, Ntebe Town Council n’abakungu okuva mu minisitule yebyettaka, abapunta b’ettaka n’abalala ne bateesa ku ngeri and ettaka gye ligabibwamu obubi n’okulibba. 

Poloti ku Eric Magala Road eyaleese ebizibu.

B’ani abafunye ettaka?

Ettaka eriri ku Poloti 7 Lugard Avenue mu butuufu lya kitongole kya Gavumenti ekipunta ettaka n’okusima ebyobugagga eby’omu ttaka era ekyapa baakiwandiisa mu mannya ga Uganda land Commission mu 1963.

Wabula ekyapa ekirala kyazuulibwa ng’abakulira ebyettaka e Wakiso baakiwa James Paul Ejupu. Ekyewuunyisa kwe kuba nti Disitulikiti y’e Wakiso terina buvunaanyizibwa ku ttaka lino!

Ettaka eriri ku Eric Magala Road lya kitongole kya Civil Aviation Authority (CAA), kyokka era kyazuuliddwa nti abakulira ebyettaka e Wakiso baaligaba ne bawa n’abagagga ebyapa. Bino Minisitule y’ebyettaka yasabye ababirina okubikomyawo era byakusazibwamu.

Okumanya obubbi bw’ettaka e Ntebe bugenze wala, ekitongole kya CAA kirina yiika z’ettaka 132 wakati mu kibuga, kyokka abakulembeze b’ekibuga baabadde basazeeko yiika 30 ne baziwa Proline Soccer Academy eya Mujib Kasule!

Omuwandiisi w’ebyapa mu Minisitule y’ebyettaka ye yasazizzaamu ekyapa ekyali kyaweebwa aba Proline. Kyokka akulura Proline Mujib Kasule n’okutuusa eggulo yabadde tamanyi nti ekyapa kye kyasaziddwaamu, yasuubizza nti ayinza okugenda mu kkooti ebasalirewo.

Ettaka eddala eryabadde litundiddwa lya ttendekero ly’ebyennyanja erya Fisheries Training Institute, kyokka lyabadde liweereddwa omugagga wa Masindi Hotel Ltd .

Ebizibu nga binajja otuuyanira ku ggolu, kyazuuliddwa nti ettaka liri mu kibangirizi kya mmita 200 NEMA kye yalekawo okwetooloola ennyanja.

Ate n’abettendekero nabo balyagala, ensonga zikyagonjoolwa wakati wa NEMA n’akakiiko ka Disitulikiti ye Wakiso ak’ebyenteekateeka.

Ettaka eddala eritundiddwa lya ttendekero lya basaveya eriri ku Julia Sebutinde Road era Gavumenti ekyanoonyereza abaalitwala mu bukyamu.

Nassinde agamba nti baamuguza poloti.

Minitita w’ebyettaka, Daudi Migereko yasindise akakiiko akenjawulo e Ntebe kanoonyereze ababba ettaka n’ebizimbe bya Gavumenti n’akawa omwezi gumu okuba nga kamuwadde bye kazudde.

 

Ani yassa emikono ku ndagaano z’ettaka?

 

Ekyewuunyisa kwe kuba nti Nassinde agamba nti yakola endagaano n’abaamuguza ettaka nga January 4 2011 kyokka nga bano baali tebannaba kuyingira ofiisi zino. Kiraga nti n’okusasula yasasula.

 

 

Kyokka mu kitongole ky’ebyettaka yagendayo nga November 1 2012 era ettaka n’amanya nti lyali lya freehold nga baaliwandiisa ku volume 1244 folio 17 nga poloti ziriko 3.

 

Ku mannya g’abantu abaali balimuguza tekwaliko n’omu kubanga ekyapa kiri mu mannya ga Ekochu Richard ne Patrick Odong .

 

Nassinde agamba nti yagula ettaka kyokka ku ndagaano olupapula Olwokubiri tekuli muntu yenna yaluteekako mukono ng’ate olusooka buli muntu yateekako omukono.

 

abakungu bye bagamba

Ssentebbe wa ggombolola A, David Wasswa Kasule yagambye, “Tubuuze Nassinde atubuulire ssente gye yazimpeera.

Nze sijja kwogera ku nsonga nga ziri mu mikono gya poliisi, tulinde emale okunoonyereza,” bwe yagambye,

 

Omu ku baaliwo ng’endagaano ekolebwa, Hussein Wassajja yagaanye okubaako ky’ayogera ku nsonga eno.

Chrysostom Katumba, puliida eyakolera Nassinde endagaano agamba nti ye teyalaba ku ssente nga ziweebwa abantu abagambibwa okuba nti baatunda nti ye yakola bukozi ndagaano ebyaddirira teyabimanya.

 

Akulira eby’ettaka ku poliisi e Kibuli, Fred Enanga yagambye nti omusango guno gwaloopeddwa mu ttabi ly’atwaala ebyettaka Entebbe era nga guli ku fayiro nnamba

GEf/492/13. Agamba nti yasindise dda bambega okutandika okunoonyereza ku nsonga.

 

Bassentebe e Ntebe batunda batya ettaka lya Gavt. mu ngeri y’ekifere?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Diego Maradona

Diego Maradona eyaliko kafu...

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde....

Akakiiko k'eddembe ly'obunt...

AKAKIIKO k’eddembe ly’obuntu kavumiridde ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Abamu ku bazannyi ba komedi.

Kapere bamugobye mu kibiina...

TAATA Sam yeegasse ku Ssenga Ssebanga ne bagoba Kapere nga bamulanga kwagala kutabula kibiina kyabwe. Mu kaweefube...

Abaserikale nga bakwata Bobi Wine lwe yeewandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti.

Poliisi eremesezza Bobi Win...

POLIISI e Kibaale eremesezza Bobi Wine okukuba olukung'aana mu kifo kye yategese ne bamutegeeza nti takkirizibwa...

Sheikh Muzaata ali mu ddwaaliro.

Mutabani wa Muzaata atabuki...

MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba...