TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Pulezidenti yagulira mulekwa wa Lubanga omu ennyumba ya bukadde 800 n'aleka abalala 13 nga beerya nkuta!

Pulezidenti yagulira mulekwa wa Lubanga omu ennyumba ya bukadde 800 n'aleka abalala 13 nga beerya nkuta!

Added 6th November 2013

KALONDOOZI WA BUKEDDE akulaga vvulugu ali mu famire ya Lubanga omuli n’ennyumba Pulezidenti gye yagulira abafamire okutwalibwa abantu abamu.Okuva munnansiko Badru Lubanga afa mu 1997, bannamwandu ne bamulekwa bakyalemeddwa okugabana ebyobugagga bwe.

Nnamwandu omuto, Alaisa Lubanga baamugoba mu lumbe nga bamulanga okubasomera ekiraamo kye baayita eky’ekiwaani.

KALONDOOZI WA BUKEDDE akulaga vvulugu ali mu famire ya Lubanga omuli n’ennyumba Pulezidenti gye yagulira abafamire okutwalibwa abantu abamu.

OLUGERO olugamba nti, ‘Asala ekyayi ky’ekitooke alekera munyeera kusasaana,’ lutuukira bulungi ku famire y’omugenzi Badru Lubanga eyafa n’aleka entalo ezigaanye okuggwa mu famire ye.

Bamulekwa ba nnamwandu omukulu Hajat Aziiz Lubanga n’ab’omuto, Alaisa Lubanga bazungidde mu mbuga z’amateeka, mu balooya, mu Kkooti ne mu maka g’Obwapulezidenti nga byonna buteerere.

Okumanya biwanvu, nnamwandu Alaisa Lubanga n’abaana be baabagoba mu dduwa ey’ennaku 40, bwe baleeta ekiraamo ekyayogerwako ng’eky’ekiwaani!

Ettaka erya yiika 22 bba lye yamulaamira akuumireko abaana, nga lisangibwa ku kyalo Nabitovu mu distulikiti y’e Iganga baamugaana okulirinnyako!

Ennyumba Rehema gy’agamba nti Pulezidenti ye yagimugulira. Eri Jinja ku Main street.

Atobye n’abaana, abasuza mu kiyumba kya Ssengaawe, Dolotiya Namukose (73) e Namalemba –Bubiito mu ggombolola Nabwigulu e Kamuli.

Ekiyumba kino kikutte ku mbinabina, abagenyi bwe bakyala nga bamulekwa basula wansi w’ebitanda by’abakulu! Ensi eno ekyuka!

Alaisa Lubanga agamba nti emirembe gye yalimu nga bba akyali mulamu toyinza kugirowoozaako bw’omusanga yeebase n’ebidomola by’enguuli bannyinimu gye batunda.

Alaisa Lubanga akuwa essomo nti bw’obeera n’abakyala babiri, buli omu muzimbire okwewala abaana bo okuyuuga n’ensi bw’oba ovuddewo.

Kuba abaana ba Hajat Aziiza (nnamwandu omukulu) nga bakulirwa Rehema Lubanga, Alaisa gw’alumiriza nti Pulezidenti Museveni bw’amuwa obuyambi abwekomya n’abaana ba nnyina, ababe ne basigala nga beerya nkuta.

Alaisa agamba nti famire yalonda Rehema okubasakiranga, omuli n’okugenda mu State House kyokka buli lw’agendayo n'aba ne k’afunayo afuuka musu gw’e Kanyanya.

Yategeezezza nti n’ennyumba Pulezidenti Museveni gye yagulira famire efunengamu ekigulira Magala eddiba mu kibuga Jinja, Rehema yagyezza, era y’asolooza ssente z’abapangisa.

Nti bwe bamukuuza agamba nti Pulezidenti yagimuwa ng’omuntu!  Ennyumba eno esangibwa ku Poloti 24 ku Main Street mu kibuga Jinja.Museveni lwe yasisinkana abaana ba bannansiko e Mayuge gye buvuddeko.
Owookusatu ku ddyo ( eyeebisse akakaaya ka kyenvu) ye Rehema Lubanga.

 

BADRU LUBANGA Y’ANI?
Yali munnansiko eyali ne Pulezidenti Museveni mu lutalo lw’ekiyeekera. Yali azaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge.

Yali mukubi wa bifaananyi kafulu, ng’alina ekyuma ekyoza ebifaananyi ku Iganga Road mu kibuga Jinja era Museveni yawummulirangawo nga yeefuula omukozi ayoza ebifaananyi oba omusiizi wa langi.

Mu 1988, Lubanga eyalina emyaka 62 yawasa Alaisa eyali yaakamala S4 era ssengaawe (owa Alaisa) Dolotiya Namukose ye yamumutokotera n’amuwoowa.

Lubanga yali yaakazaala abaana bana mu Alaisa n’alwala ssukaali eyamutta ng'alina emyaka 72.

EKIRAAMO MU LUMBE
Lubanga yakola ekiraamo ekikakali n’akikwasa looya Shaban Muziransa era bwe yafa ne kireetebwa mu lumbe ne kisomebwa kata olumbe lutabuke.

Abaana ba Hajati beecwacwana nti ekiraamo kifumbirire era Alaisa n'abaana be baabatwala ntyagi.
Ekiraamo kyalambika bwe kiti ensonga: Abaana ba Hajati nnabawa omugabo, baasomera mu masomero ag’ebbeeyi, Namiryango, Kiira College Butiki, Busoga College Mwiiri, Budini SS Kaliro,ogwo gwe mugabo gwabwe.

Bagende beeyiiye bafune emirimu, ettaka lya yiika 22 e Nabitovu lya nnamwandu Alaisa n’abaana be, abakulu temummanja.

Nabasaasaanyaako ssente nnyingi naye ebyembi mu mmwe temuli wa muzinzi, bye ndese “Ntandikwa” ya bato!

Kyokka Rehema Lubanga agamba nti okumanya ekiraamo kyali kiwaani, omukono ogwakiriko bw’ogwetegereza n’ogwali ku densite ya kitaawe olabirawo nti gya njawulo.


Ennyumba bamulekwa ba Lubanga mwe basula.

YAFA ASINZE EKYAPA KY’ETTAKA
Okusinziira ku muwandiisi wa Pulezidenti Museveni ow’ekyama ow’ebyamawulire, Farouk Kirunda, Lubanga yafa asinze ekyapa ky’ettaka ly’e Nabitovu ekya yiika 22 mu bbanka ya Baroda ku 500,000/- zokka! 
Lubanga bwe yafa bbanka ekyapa n’ekigaanira!

Ssente zino yazeewola kugaziya bizinensi ye eya sityudiyo, wabula yali tannakikola, olumbe lwa ssukaali we lwajjira.

Wabula Kirunda agamba nti Pulezidenti Museveni yanunula ekyapa kino, n’akiwa Administrator General (omukungu wa Gavumenti akola ku nsonga z’abafu), era yeewuunya lwaki nnamwandu Alaisa tagendayo n’akinona kuba kyali mu kiraamo kya bba nti ettaka lirye n’abaana be.

Kyokka Rehema agamba nti mukwano gwa kitaawe ayitibwa Diiro ye yasaba kitaawe ne yeewola ssente ezo.

“Yeewola emitwalo 50 kyokka gye byaggweera okuva mu 1994 okutuuka mu 2012 nga bbanka eyagala obukadde 37.

Nnagendayo ne nnyinnyonnyola Omuyindi nti ndi mukazi mulimi, ezo ssente sizirina era oluvannyuma lw’okwezooba nabo twasasulayo obukadde butaano,” Rehema bw’agamba.

ENNYUMBA YA BAMULEKWA BAAGYEZZA
Ekisinga okuluma Alaisa Lubanga y’ennyumba ey’e Jinja, Pulezidenti Museveni gye yagulira famire ku bukadde 400, Rehema gye yezza.

Kyokka Rehema agamba nti ennyumba yakaabirira Pulezidenti Museveni, n’amubuulira n’engeri gye yayambako okumukweka mu lutalo era n’agimugulira.

Ennyumba eno efuuse ndibassa kuba okuggyako banne okuwulira ebiwulire, Rehema tagibanjulirangako, okuggyako okuggyamu ssente z’abapangisa.

Farouk Kirunda

Rehema yantegezezza nti ennyumba yamuweebwa ng’omuntu. Yalaze ebbaluwa gye yawandiikira Pulezidenti nga June 20 2012 ng’emusaba obuyambi n’amujjukira n’olunaku mu 1974 lwe yagenda mu sityudiyo yaabwe amale yeeyiire langi mu mutwe.

Agamba nti ebibala ebyava mu bbaluwa eyo y’ennyumba eyo gye baamuyambako okufuna.

OMUWANDIISI wa Pulezidenti owekyama Farouk Kirunda agamba nti agezezzaako okugatta famire eno n’alemwa kuba Rehema yalemerako nti ennyumba yiye.

Yeekookodde obugayaavu bw'abaana ba Lubanga okwefiiriza omukisa kuba State House yasuubiza okubapangisiza ennyumba basseemu ebyuma bya kitaabwe beggye mu bwavu naye nti baabitunda!

ABAYINDI ENNYUMBA BAGYAGALA
Okutuusiza ddala mu 2012, Rehema abadde yeezooba n’Abayindi abagamba nti ennyumba y’emu Pulezidenti Museveni gye yagulira bamulekwa ba Lubanga nti ate yaabwe.

Anilkant Meneklal Kalidas , Maheshkumar Amritlal Ruparelia, Sureshchandra Kanji ne Gordhandas Hemraj be babadde bamuleppusa nti yali ya muntu waabwe, omugenzi Laximikant Kalidas Kanji.

Nga bayitira mu balooya baabwe aba Murangira Advocates, baasaba Gavumenti egibaddize okuva mu Custodian Board Rehema gy’agamba nti mwe yagigula era na kati bikyalanda.

Kino kyavaako n’okuyimirizaamu Rehema okusolooza ez’abapangisa okutuusa RDC w’e Jinja, Richard Gulume Balyainho bwe yabiyingiramu.

Abapangisa olwabiwulira nabo ne beekolamu omulimu nti oba teriiko nnyini yo, Gavumenti ebakkkirize beegule.

Kirunda yagambye nti ya famire ya Lubanga, sso si Rehema ng’omuntu nti era State House yakugisaasaanyaako obukadde nga 800 okugiyooyoota.

OBUYINZA BWA REHEMA

Alaisa ayagala Rehema aggyibweko obukulu bw’okubasakira ewa Pulezidenti Museveni kuba akozesezza erinnya lya famire okwegaggawaza, ayagala n’ettaka ly’e Nabitovu limukwasibwe akuumireko abaana kuba buli lw’agezaako okulirimako bamugoba.

Akulira ensonga z’amaka n’abaana ku CPS e Kamuli, Richard Kagoda yavumiridde eky’okusuulirira ow’abaana mbu kuba yafumbirwa, nti ddembe lye kuba Lubanga we yafiira yali ekyali mbooko.

LT. COL. DHAMUZUNGU

ONO Pulezidenti gwe yalonda okugoberera basajja be abaali mu kibiina kya FRONASA. Yagambye: Tewali ngeri Pulezidenti gy’ayinza kugula nnyumba ya bukadde 800 n’agiwa omuntu mu nkukutu.

Ba Lubanga baali ba FRONASA. Nagenda mu maka gaabwe e Nambale ne nsanga nga Lubanga yaleka ennyumba tennaggwa, era Pulezidenti agenda kugimaliriza.

Bandaga ekitundu kya Alaisa era mmuwa amagezi nti ajje mmuwe endokwa z’emmwaanyi n’ensigo asimbemu ebintu afune ssente kuba era nkikola ne ku famire ya ba Rehema.

Ekyapa ky’ettaka eryo tekiriiwo naye Pulezidenti akikolako, bwe tunaakifuna tujja kuyita famire yonna egabane.

Pulezidenti era agenda kuzimba sityudiyo mu Jinja olw’okujjukira Lubanga kuba gwe mulimu gwe yali akola kyokka era tekijja kukolebwa mu nkukutu.

 

Alaisa Lubanga

Ennyumba yange bwoya - Rehema

Rehema Lubanga
Alaisa yeemalika bwemalisi, by’anvunaana tebiriiko mutwe na magulu. Okuva taata lwe yafa, Alaisa andabizza ennaku. Yantwalako mu Kkooti y’e Iganga, Omulamuzi n’amugamba nti ekiraamo kyali kipangirire.

(Kyokka oluvannyuma Rehema yagambye nti kkooti gye baamutwalamu yali ku Main Street mu kibuga Jinja. Nti yagendayo mu 1997, waaliwo ssentebe wa LC I ow’e Nabitovu n’owekika era omukyala omulamuzi n’asalawo nti ekiraano kijingirire)

Ekiraamo yakikola ne taata omuto, Sulaimani Lubanga. Taata yali atwagala nnyo, sirowooza nti yandikoze ekiraamo bwe kityo.

Oyinza okulaama nti fiizi z’essomero bwe busika bw’owadde omwana? Eryo si ddalu lyennyini? Yagenda ewa Pulezidenti Museveni n’amuwa 2,000,000/- anunule ekyapa ky’ettaka ssente n’azirya, tw’amugambako?

Alaisa yava mu maka ga taata n’afumbirwa e Kamuli kati ate lwaki ajja okututawaanya?”
Rehema yagambye nti oluvannyuma lwa dduwa ya kitaawe, Alaisa yatikka ebintu by’omu nnyumba n’abitwala.

Bwe nnamubuuzizza ku baana ba Alaisa obutafuna buyambi yagambye: Omwana we omu Rajab Pulezidenti y’amuweerera, abalala baagaana okusoma.

Bwe nnamubuulidde nti ofiisi ya Pulezidenti erowooza nti ennyumba baagigulira baana, Rehema yabuuzizza: Si nze mwana wa Badru Lubanga omukulu?

Lubanga omu ennyumba ya bukadde 800 n’aleka abalala 13 nga beerya nkuta!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...