EBULA mbale giwere emyaka ebiri bukya mugagga w’omu Kampala, Desh Kananura akwatibwa ne banne bana, olw’okukuba n’okutta omukozi we Badru Kateregga. Wabula kyewuunyisa nti Kananura kati alya butaala, fayiro y’omusango yagaanira mu ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti ne taata w’omugenzi abadde akyawondera omusango yafudde pulesa. Kalondoozi wa Bukedde alaze katemba abirimu.
BADRU Kateregga, eyali omukozi mu Panamer Bar & Lodge e Naggulu yattibwa nga September 30 2012. Kigambibwa nti mukama we Desh Kananura (amannya ge amatuufu ye Andrew Kananura Kagonyera )ng'ali wamu n'abalala baakumuba emiggo egyamuttirawo ng’entabwe eva ku kumukusanga ne ssente 30,000/- mu nsawo ye ze baalowooza nti yali azibbye.
Eby’embi nga binajja, oluvannyuma lw’ebbanga lino lyonna ng’omusango gwalemera mu ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti, taata w’omugenzi, Hamza Salim Waere 65, bwe yagenze okubuuza ebigufaako n’alaba nga naye bamubuzaabuza olwazze eka puleesa n’erinnya, n’ayabika omutima naye ne bamuziika!
Waere yafa puleesa nga March 15 2013 n’aziikibwa nga March 16 e Kamonkoli-Nyanza e Mbale.
Nga tannafa, waere yategeezezza Kalondoozi wammwe nti mutabani we, omwezi gwe yajjiramu mu kibuga okufuna omulimu mu bbaala ya Kananura gwe gumu mwe yattirwa nga tafunye na musaala gwe gusooka!
Waere yagambye nti mutabani we yamulekera abazzukulu bana mu bamaama ba njawulo nga kati okubaweerera kyafuuka kizibu, era abamu batudde mu kyalo tebakyasoma ate nga naye yabadde akyalina abaana be ne bamulekwa abalala b’aweerera mu yunivasite n'amasomero ag’enjawulo.
Desh Kananura (ku ddyo) ne muto we Reymond Kananura abavunaanibwa okutta Kateregga.nga bali mu kagulu ku kkooti ya City Hall
Okufa kwa Kateregga
Waere bino bye yang’ambye nga tannafa:
Omwezi gumu emabega nga Kateregga tannattibwa yali akolera mu kyalo e Mbale mu kkampuni emu ng’akulira bakitunzi naye olw’okuba yalina obuzibu n’abamu ku bakozi banne, yantuukirira enfunda eziwera ng’ansaba mmukkirize ajje mu Kampala afune omulimu ogusingako.
Nnasooka ne mugaana nga siraba nsonga yamanyi emutwala mu kibuga era namuwa amagezi ayogereko ne bakama be ku mbeera embi gy’akoleramu.
Baamusuubiza nti mu bbanga ttono bajja kumusindika mu Kampala, akolere ku kkampuni empya gye baali bagenda okuggulawo.
Ebbanga lyayitawo nga tebamunyega ku nsonga y’omulimu naye kwe kusalawo eby’okukola abiveeko, olwo nga bakozi banne beeyongedde okumukijjanya. Bwe yajja mu Kampala Mukama yamuyambirawo n’afuna omulimu mu bbaala ya Kananura eyitibwa Panamera Bar and lodge e Naggulu.
Salim Waere yang’ambye nga tannafa: Kateregga yankubira n’ambuulira ku mulimu gw’afunye, n’ansuubiza nti bwe banaamuwa omusaala ogusooka, ajja kuguweereza mmugulire ente ennume naye bino byonna teyasobola kubituukiriza kubanga n'omusaala ogusooka teyagufuna.
Maama wa Badru Kateregga (wakati) eyattibwa ng’akaabira ku poliisi ya Kira Road.
Olunaku Kateregga lw’afa nnali waka, muwala wange Zuula Waere n’ankubira essimu ng’antegeeza nti Kateregga bamusse. Ssasooka kukikkiriza kubanga Kateregga si ye yali omuntu w'entalo naye waali waakayita mbale ne mutabani wange omulala n’ankubira ng'ategeeza ensonga y’emu.
Omulambo gwa Kateregga gwaleetebwa e Mbale oluvannyuma lw'olunaku lumu n'ebbaluwa okuva mu ggwanika e Mulago nga balaga nti yafudde kukubibwa nnyo naye ekyewuunyisa tetwafuna bubaka bwonna kuva wa mukama we Kananura!
Twagenda okuwulira ku mawulire nga bagamba nti Desh Kananura eyatta mutabani wange akwatiddwa ku kisaawe e Ntebe era enkeera twagenda mu kkooti ya City Hall gye yaggulwako omusango gw'obutemu .
Ekisinga okunnuma tetufunanga kwetonda kwonna kuva wa Kananura ate nga kirabika n'omusango gwe si gwa kuggwa kati. Bukyanga omusango guno gutandika nga January 12 2013 nneewuubye ku kkooti. Buli mwezi nnina okuva e Mbale ne mpangisa kaloogi okusulamu olwo enkeera ne ng’enda mu kkooti mpulire omusango we gutuuse naye bagwongezaayo bwongeza kyokka nga ye Kananura alya butaala.
KANANURA ADDUKA
Oluvannyuma lw’ebigambo okuyiting’ana nti Desh Kananura yasse omukozi we, yadduka okuva mu Uganda n’agenda e Bulaaya ekyawaliriza kkooti okusaba poliisi y’ensi yonna emunoonye.
Wabula aba tannakwatibwa nga 17 January 2013, yeekomyawo yekka mu Uganda era poliisi n’emukwatira ku kisaawe e Ntebe n’atwalibwa ku kitebe kya poliisi e Kireka[ SIU] n’oluvanyuma n’atwalibwa mu kkooti. Looya we Geoffrey Nangumya yategeeza omulamuzi Juliet Hatanga owa kkooti ya City Hall nti Kananura teyadduka buddusi mu Uganda wabula yali yagenda kujjanjabibwa ssukaaali ne puleesa ebyali birinnye.
Kananura yavunaanibwa n’abalala 4 okuli muganda we Raymond Kananura, Cyrus Maganda , Samuel Muzulewa, ne Jacob Onyango. Oludda oluwaabi lwategeeza nti Kanunura ng’ali wamu ne banne bano batta Badru Kateregga bwe baamukuba emiggo n’ensambaggere ebyamuttirawo nga bamuvunaana kusangibwa na 30,000/- kyokka nga Kananura yali yateekawo etteeka nga teri mukozi we alina kuba na ssente bwe ziti ng’ali ku mulimu.
Kananura nga yeenywera kacaayi mu kkooti gye buvuddeko.
‘Tukyanoonyereza naye fayiro tennajjula’
Omulamuzi Hatanga yabagaana okwewoozaako n'okweyimirirwa kuba guno omusango gwa nnaggomola era n’abasindika ku limanda e Luzira oluvannyuma lw'omuwaabi wa Gavumenti, Joyce Tumushabe okumugamba nti poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza.
Kyokka kyewuunyisa buli omu nga 4 February 2014, omulamuzi wa kkooti enkulu e Kampala, Lameck Mukasa ate okukkiriza Kananura okweyimirirwa!
Yasasulayo obukadde bw’ensimbi 20 ssaako n'okuleka pasipooti ye mu kkooti. Kananura era yalagirwa okweyanjulanga ku kitebe kya poliisi e Kireka omulundi gumu buli mwezi nga bw’alindirira poliisi okumaliriza okunoonyereza.
Abaamweyimirira okwali cansala wa Makerere yunivasite,Polof. Mondo Kagonyera, Tom Mugenga ne Richard Muhinda baalagirwa okusasula obukadde 50 ez'omubutaliiwo.
Emyaka ebiri obujulizi bukyabuze!
Bukyanga Kateregga attibwa guweze omwaka gumu n'emyezi 6 naye poliisi ekyanoonya bujulizi busobola kuluma Kanunura ne banne.
Lwaki omusango gututte ebbanga lino lyonna kyokka ng’emirala obujulizi bufunika mu mwezi gumu era ne guwozebwa ne guggwa?
Omusango guno guzze gwongezebwayo enfunda eziwera oluvannyuma lw'omuwaabi wa Gavumenti okutegeeza omulamuzi Juliet Hatanga nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Nga 7 March 2013, Kananura ne banne bwe baakomawo mu kkooti, omuwaabi wa Gavumenti, Joyce Tumushabe yategezezza omulamuzi nti fayiro y'omusango yayitibwa bakama be (ab'ekitongole ekinoonyereza ku misango) nga kati alindirira kinaavaayo era omulamuzi Hatanga kyamuwalirizza okwongerayo emyezi 2 mu maaso nga kati guddamu nga 16 May 2014.
Ofiisi ya DPP
Taata w'omugenzi, Hamza Salim Waere bwe yagezezzaako okwemulugunya lwaki omusango gutambula kasoobo era nga guzze gwongezebwayo enfunda eziwera nga tewali kikolebwa, omulamuzi Hatanga yamutegeezezza nti poliisi n'oludda oluwaabi bye bisibye omusango guno kubanga be balina okumaliriza okunoonyereza n'oluvannyuma Kananura ne banne baweerezebwe mu kkooti enkulu.
Omulamuzi Hatanga yagambye nti talina buyinza buweereza musango guno mu kkooti enkulu okutuusa ng’oludda oluwaabi lumutegezeezza nti lumaze okufuna obujulizi bwe beetaga.
Omwogezi w'ekitongole ekiwaabi ky'emisango Jane Okuo Kajuga yagambye nti fayiro y’omusango be bagirina era bakyanoonyereza!
Kisoboka okuba ng’engeri poliisi ya Kira Road gye yadibagamu okunoonyereza kye kyabuza obujulizi ku Kananura ne banne?
Watya ng’engeri Desh Kananura gy’amanyi abakungu bangi mu magye, poliisi ne Gavumenti kye kizing’amizza omusango?
Banene ki abalemesa omugagga Kananura okuwozesebwa mu gw’okufa kw’omukozi we?