TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bbanka etunda etya ettaka lyange nga n'ekiseera kye bampa tekinnaggwaayo?

Bbanka etunda etya ettaka lyange nga n'ekiseera kye bampa tekinnaggwaayo?

Added 7th May 2014

Muky. Jane Nakyeyune, nnannyini ssomero lya Brilliant Chicks Nursery and Primary School Day and Boarding g’akaaba g’akomba oluvannyuma lwa bbanka ya Pride okutunda ettaka lye nga n’ekiseera eky’okumubanja tekinnaggwaayo.Muky. Jane Nakyeyune, nnannyini ssomero lya Brilliant Chicks Nursery and Primary School Day and Boarding g’akaaba g’akomba oluvannyuma lwa bbanka ya Pride okutunda ettaka lye nga n’ekiseera eky’okumubanja tekinnaggwaayo.

KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze akazannyo akaamukolebwako okusigala ng’awooba.

ABAPANGISA bazaalidde landiroodi ebitukula, muliranwa we bwe yamuguddeko omusango ku poliisi e Katwe ogw’okusaalimbira ku ttaka lye nga bayiwayo kasasiro n’okwonoona akatimba k’olukomera lwe!

Muky. Jane Nakyeyune ye yatwaliddwa muliranwa we Muhamad Kawooya ku poliisi. Bombi b’e Makindye mu Muswangali zooni, oluvannyuma lw’abapangisa ba Nakyeyune okuyiwa kasasiro mu poloti ya Kawooya.

Muky. Nakyeyune agamba nti guno si gwe mulundi ogusoose nga Kawooya amusiba wabula azze amuwawaabira ku misango egy’enjawulo omuli okumuvuma, okutiisatiisa n’emirala.

Ku mulundi guno, Mw. Kawooya yatutte Nakyeyune ng’amuvunaana okuyiwa kasasiro mu poloti ye gw’agamba nti amuwunyirira n’okwongera obukyafu ewuwe.

Nakyeyune yalagiddwa okugenda ayoole kasasiro yenna n’okumwokya kye yakoze kyokka n’agaana okusasula akatimba k’olukomera Mw. Kawooya ke yabadde ayagala asasule ng’agamba nti baakasala.

OBUZIBU WE BUVA
Muky. Nakyeyune agamba nti obuzibu buva ku nkaayana z’ettaka Mw. Kawooya lye yagula okuva ku bbanka ya Pride Micro Finance.

Ettaka lino lyali lya Nakyeyune. Wabula yali yasinga ekyapa kye mu bbanka eno ne yeewola obukadde 10 nti kyokka Mw. Kawooya n’amuyita emabega, bbanka n’emuguza ettaka lye.

“Nalina essomero erimu ku gaali gasinga obunene n’okukola obulungi mu Munisipaali ya Makindye erya Brilliant Chicks Nursery and Primary School Day and Boarding, e Makindye mu Muswangali zooni ne nfuna obuzibu mu bya ssente.

Nasalawo okutunda mmotoka yange kyokka mu ndagaano gye twakola n’eyagigula ng’alina kusooka kumalayo ssente okumuwa kkaadi yaayo.

Wabula yanneefuulira n’ansibisa ng’abanja kkaadi kyokka nga tannamalayo ssente. Olw’okuba nnalina ebbanja ne bbanka ya Centenary nga mbuzaako 2,050,000/- okulisonjola ate ng’eno nnali nnassaayo endagaano gye nnagulirako poloti okuli essomero, nnali sisobola kudda mu bbanka eno empole ez’okusasula gwe nnaguza mmotoka.

Okusibwa kwange kwatiisa abaana bange ne basalawo okutunda ennyumba okumpi n’essomero okusobola okunzigya mu kkomera.

Ennyumba eno baagiguza Mw. Kawooya ku bukadde 10 kyokka ne bamugamba nti bwe nnaava mu kkomera tunaateesa ku kwongera ku bugazi bwa poloti kw’etudde.

Nga nvuddeyo nnamusaba tuteese ku bya poloti nga mmusaba annyongere obukadde 10 mmusalire poloti n’ekyapa kye nkimuwe wabula ng’antegeeza nti yali talina ssente kuba ne ku mulimu e Kabojja gye yali akola waali waggaddwa.

Nasigala mmubuuza ku by’ekyapa kyokka ng’antegeeza nga bw’atannafuna ssente, kwe kukwata ekyapa ne nkitwala mu bbanka ya Pride Micro Finance ne nneewola obukadde 10 kuba mu kiseera kino nnali nzimba ate nga nnina n’okuliisa abayizi.

Muky. Nakyeyune n’abapangisa be nga bayoola kasasiro eyabalagirwa okuggya
mu poloti gye bakaayanira ne Kawooya.

 

‘Mw. Kawooya yakozesa lukujjukujju okutwala ettaka lyange’

MU PRIDE MICROFINANCE
Ekyapa nnakissaayo nga November 06,2007. Mu 2008, nnasibwa mu kkomera e Luzira okumala emyezi esatu nga nnaakasasula okumala omwaka gumu ku bbanja lya Pride nga mbuzaayo mwaka.

Ng’enda okuteebwa nga bang’amba nti bbanka yali esindise bawannyondo aba David Mulondo T/A Auctioneers okulikuba bbeeyi.

Nnalina mukwano gwange bwe twali tutera okukolagana mu bya ssente eyali akkirizza okumpa ssente nzigyeyo ekyapa kyokka Mw. Kawooya n’ang’amba nti tayagala tuyingize muntu mulala mu nsonga zino.

Yantegeeza nti agenda kusasula ssente zino (8,209, 250/-) mu Pride, nti nze mmulindire ewa ssentebe w’ekyalo. Namulinda olunaku lwonna, wabula zibeera mu ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi waliwo omusajja eyankubira ssimu n’antegeeza nti, “Mw. Kawooya akugambye nti ku kyapa tokyaliko amaze okukizza mu mannya ge era ebyettaka byesonyiwe!”.

Nawunga kuba nnali mmanyi nti nkolagana na muntu ategeera, kwe kugenda ewuwe nga taliiyo ne nsalawo mmulumbe enkeera wabula olwatuukayo nga yaleese dda abaserikale ne bankwata ogw’okusaalimbira ku ttaka eritali lyange era nnasibira Luzira!

Wano obuzibu we bwava era ng’azze ansibisa ku misango omutali. Nasalawo okutwala omusango gwange mu kkooti e Makindye okulaba nga nnunula ettaka lyange kuba nnali nkyalina obudde okusasula ebbanja lya bbanka. Omusango guno guli mu kkooti e Makindye kyokka gwakamala emyaka mukaaga tegutambula!

Okugula ettaka nnali ntaasa kitundu kyange – Kawooya
KAWOOYA AYOGERA
Nze sirina buzibu bwa buntu na Muky. Nakyeyune wabula ye muzibu atakolaganika naye.

Okusookera ddala nnatuukirirwa abaana be ng’asibiddwa nga baagala ngule ennyumba ye basobole okufuna ssente ez’okumuggya mu kkomera ne nzikiriza era ne tukola endagaano nga nguzeewo obukadde 12 mu buliwo ne nsuubizibwa ekyapa ng’avudde mu kkomera.

Fred Kiweewa, owebyokwerinda

Nga wayise akaseera ng’avudde mu kkomera nnamusisinkana ne mmubuuza ku by’ekyapa n’antegeeza nti abadde alina obuzibuzibu kyokka agenda ku kikolako.

Nga tannaba kumpa kyapa, LC n’enkubira nti waliwo bawannyondo ba kkooti abatwala ettaka lyonna olw’okuba nti Muky. Nakyeyune yali alemereddwa okusasula ssente obukadde 10 ze yeewola kye nnalaba nga kiba kitufiiriza ne nsalawo okusasula ssente zino.

Okumanya omukazi ono takolaganika naye, wadde nga nnanunula ettaka lino eryali litwalibwa bbanka ya Centenary (obukadde bubiri), ate yampita emabega ne yeewolera ku ttaka lino nga simanyi (okwewola mu Pride).

Mu ntandika ya April wa 2009 ssentebe Mw. Emmanuel Gabula yankubira ssimu ng’ambuuza oba twali tutunze ettaka kuba bawannyondo ba kkooti baali bazze nga batandise okulizingako.

Nnatuukirira Muky. Nakyeyune n’agamba nti yali agenda kwewola ssente ku bamanerenda, nze ne ng’aana nga ssaagala tugatte muntu mulala mu nsonga zaffe.

Nadduka okugenda okwebuuza ku bbanka ya Pride ne bankakasa nti be baali basindise bawannyondo nga babanja obukadde 10 era nga batwala poloti okusobo’a okwesasula.

Bang’amba nti yali amaze ebbanga nga tasasula, ky’ekiseera we yali asibiddwa. Nnassaayo okusaba kwange kuba baali bamaze okulanga mu lupapula lwa Sunrise.

Oluvannyuma lw’omwezi bbanka yampita okumpa ekyapa ne bang’amba okutwala abajulizi era nagenda ne Zamzam Namakula ne Julius Tamale ne nsasula obukadde 12 ne mpeebwa ekyapa olwo Nakyeyune n’aweebwa ekiragiro okuggyawo ebintu bye omuli kaabuyonjo n’akaduuka.

Bino byonna byandaga ng’omukazi ono si mwangu era ne nsalawo okwesalira amagezi. Nasalawo ekitundu kyange okukiggya mu buvuyo bwe ne nsasula ssente ezaali zimubanjibwa era ekyapa ne kimpeebwa ate nga kino twasooka kukkkirizibwako nti nsasule ssente zino tujja kwebala.

Kyokka mu kifo ky’okujja twogere mu buntu ate yasitula lutalo n’atandika okuvumanga abantu bange n’okunkolako effujjo ery’enjawulo oli okuvumanga mukyala wange n’abaana, okwonoona olukomera lwange n’okuyiwa kasasiro mu poloti yange era nga nzize nga nneekubira enduulu ku poliisi e Katwe.

Enkaayana ku ttaka lino zitambudde mu ofiisi ez’enjawulo omuli n’eya Pulezidenti era nga zaakolebwako Muky. Sarah Nkonge eyatugamba okuddayo twogere era teyalabikako.

Yaggulawo omusango mu kkooti e Makindye kkooti n’erissaako envumbo kyokka oluvannyuma yagiriggyako. Omukyala ono yaleeta ekibinja ky’abantu mbu basenze ku ttaka lino era ne mbasasula obukadde 20 kuba mu kiseera ekyo baali basibye sseng’enge.

Mw. Fred Kiweewa, ow’ebyokwerinda ku kakiiko ka LC 1, agamba nti Muky. Nakyeyune si mukazi mwangu era ng’abantu abasinga ku kyalo tebakolagana naye.

“Nga bwe bali ba muliraano bandibaddenga bakwatagana mu nsonga ezisinga era n’abuulirira n’abantu abasigala awaka okukyusa mu nneeyisa kuba ye tabeerawo naye b’aleka awaka wano baafuuka ekizibu eri buli muntu”.

‘Tulina kwe twasinziira okutunda ettaka lya Nakyeyune’
OMUSANGO GULI MU KKOOTI
Muky. Nakyeyune yeekubira enduulu mu kkooti e Makindye mu 2009 ng’awawaabira Mw. Kawooya okumutwalako ettaka lye mu lukujjukujju ne Pride Micro Finance okutunda ettaka lye nga tebasoose kumuwa mukisa kwenunula.

Kyewuunyisa nti omusango guno teguggwanga okuva mu 2009 okuggyako okukyusa abalamuzi Muky. Nakyeyune ky’agamba nti si kya bwenkanya kuba ettaka lye Mw. Kawooya akyagenda mu maaso n’okulikozesa kyokka nga kkooti yagaana omuntu yenna okulikozesa.

Ono ayagala kkooti eragire aba Pride okumuddiza ekyapa ky’ettaka lye kuba yali asobola okufuna engeri gy’abasasula ate nga n’ebbanga ly’okusasula lyali likyali ddene nga tewaali nsonga lwaki batunda ekyapa kye.

BBANKA YA PRIDE
Mw. Richard Tumusiime, omwogezi wa Pride agamba nti waliwo ensonga ez’enjawulo ezivaako bbanka okutunda omusingo gw’omuntu abeera yeewoze era nga bayinza okuba nga ku zino kwe beesigama okutunda ekyapa kino.

“Wabula engeri ensonga gye zaagenda mu kkooti, ssandyagadde kwogera bingi wabula tulinde kkooti ky’eneesalawo kwe tunaasinziira naffe okulaba kye tuzzaako”, Mw. Tumusiime bw’agamba.

Wabula Mw. David Baguma ow’ekitongole kya Uganda Micro Finance Regulatory Authority ekigatta ebibiina ebiwola n’okutereka ssente, agamba nti okutunda omusingo gw’omuntu yenna eyeewoze ssente ky’ekirina okusembayo era nga kitwala kumpi mwaka mulamba.

“Omukyala oyo ayinza okuba nga balina ke baamuzannya kuba okutunda omusingo gwa kasitoma ky’ekirina okusembayo oluvannyuma lw’okussaawo okuteeseganya ne bigaana era nga ne mu kutunda nnyini musingo y’alina okusooka okuweebwa omukisa.

Byonna bwe biremerera olwo omuntu w’ebbali n’akitwala ate balina kuggyako z’ebadde emubanja, ezisigaddewo ne zimuweebwa”, Mw. Baguma bw’agamba.

Bbanka etunda etya ettaka lyange nga n’ekiseera kye bampa tekinnaggwaayo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...