TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abatta Wabbi bakola ki e Nsambya nga tebawozanga mu kkooti?

Abatta Wabbi bakola ki e Nsambya nga tebawozanga mu kkooti?

Added 16th July 2014

Abasajja babiri okuli makanika Jimmy Nganda baakwatibwa olw’okutta omuvuzi wa sipensulo, Sulaiman Wabbi mu 2012. KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze emivuyo egyakolebwa kkooti y’e Nakawa, abatemu ne babata nga tebawozezza nga kati omu akakkalabya mirimu gye mu galagi e Nsambya wakati w’essundiro lya TotAbasajja babiri okuli makanika Jimmy Nganda baakwatibwa olw’okutta omuvuzi wa sipensulo, Sulaiman Wabbi mu 2012.

KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze emivuyo egyakolebwa kkooti y’e Nakawa, abatemu ne babata nga tebawozezza nga kati omu akakkalabya mirimu gye mu galagi e Nsambya wakati w’essundiro lya Total n’eddwaaliro.


JIMMY Ng’anda ne Ezekeri Katalaga baakwatibwa poliisi y’e Kajjansi mu July wa 2012 ku musango gw’okutemula Sulaiman Wabbi eyali omuvuzi wa sipensulo ku siteegi ya Mengo.

Omulambo gwe baagusuula Bunnamwaya mu ggombolola ya Lubaga ne batwala emmotoka ye ey’ekika kya Corona.

Wabula kkooti yata dda abatemu bano era badda ku mulimu gyabwe. Ng’anda ali mu galagi gye yali akanikiramu e Nsambya wabula emisana yeekukuma mu mmotoka ennyingi ezibeera mu galagi eno nga tayagala bantu bamulabe!

Ensonda zantegeezezza nti omu ku batemu bano yatunda poloti ye obukadde 60 ezaabayamba okugulirira okuva mu kkomera e Luzira gye baali basindikiddwa ku limanda!

Wabbi yatemulwa nga May 23, 2012, abatemu ne bakwatibwa mu July wa 2012. Katalaga yakwatibwa poliisi y’e Parkwach n’emmotoka ya Wabbi ng’agezaako okugikukusa agitwale e Juba era n’alonkoma Nganda nti ye yali agimuwadde.

Poliisi y’e Kajjansi bwe yagenda mu nnyumba ya Ng’anda e Bunamwaya, yasangamu nnamba puleeti za mmotoka nnyingi n’ebintu ebirala ebyali bibaluma okutta Wabbi.

Nnamba puleeti ezaasangibwa ewa Ng’anda.

BWE BAATEMULA SULAIMAN WABBI
Abdul Ssekibenge, muganda wa Wabbi agamba bwati;Abatemu abatta Wabbi, baasooka kumukolako mukwano ne bafuuka kasitoma w’omugenzi era nga bajja ku siteegi n’abatwala we babeera bamugambye.

Wabula kw’olwo lwe baamutta nga May 23, 2012, abatemu tebaatuuka ku siteegi wabula baamukubira ssimu ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.

Olw’okuba nga yali abamanyidde, teyafuna kwekengeera era bwe yagenda, teyaddamu kulabika okutuusa omulambo gwe lwe gwazuulibwa e Bunammwaya.

Bwe twamala okuziika, poliisi y’e Kajjansi yasigala etuyambako okunoonyereza abatemu wabula yali tennaba kubazuula, poliisi y’e Parkwach n’ekwataKatalaga n’emmotoka ng’agezaako okugisaza ensalo.

Poliisi eno yakubira ab’e Kajjansi abaali banoonyereza ku musango guno era ne babakwasa Katalaga eyabategeeza nti Ng’anda ye yali amuwadde emmotoka eno okugitunda.

Poliisi y’e Kajjansi yatuyita n’etulaga emmotoka ng’eyagala okukakasa oba ye yali eya Wabbi era bwe twagyekkaanya, twakikakasa. Baasalawo okwongera okukunya Katalaga eyabatwala Ng’anda gye yali akolera mu galagi e Nsambya gye bamukwatira.

Jimmy Ng’anda eyatta Wabbi (ku kkono) akanika mmotoka mu galagi e Nsambya okumpi n’eddwaaliro.

Mbega eyanoonyereza baamusindiikiriza


OBUJULIZI OBULALA
Poliisi bwe yakwata abatemu bano, yabaggulako omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba CRB 954/2012. Poliisi yasalawo okugenda mu maka gwa Ng’anda nga esuubira okufunayo obujulizi obwali buyinza okubayamba okukakasa nti bano be baali abatemu abatuufu.

Bwe yayaza emmotoka ey’ekika kya Suzuki eyali emmyuufu eyasangibwa ewa Ng’anda, yasangamu emiguwa nga gifaanana n’egyo abatemu gye baakozesa okutuga Wabbi era nga gyasangibwa ku mulambo gwe.

Mu nnyumba yasangamu n’ennamba z’emmotoka ez’enjawulo ekyayongera okukakasa poliisi nti abatemu bano baali babbi ba mmotoka ab’olulango era ng’ennamba ezo baali baaziggya ku mmotoka z’abantu abaali babbiddwa.

Ezekeri Katalaga eyakwatibwa n’emmotoka ya Wabbi e Pakwarch ng’agitwala Juba okugitunda.

Poliisi bwe yayongera okwetegereza, yakizuula ng’ennamba eyasangibwa ku mmotoka eya Suzuki eyali ewa Ng’anda, yali tefaanana n’eyo eyali ku ya yinsuwa ate mu mmotoka eno mwasangibwamu siteeringi z’emmotoka ez’enjawulo nga zino zaali ziteeberezebwa okubeera nga baazibba ku mmotoka endala, ebyuma ebikozesebwa okusumulula n’okusiba ennamba z’emmotoka ssaako n’emiguwa gya nayirooni egyali gikozesebwa okutta abantu be babbako emmotoka.

Mu kwaza ennyumba ya Ng’anda, poliisi era yasangamu ebintu ebyali biteeberezebwa okubeera ebibbe. Mu bintu mwalimu emigogo gy’engatto mingi, essimu ez’ebbeeyi nga munaana naye nga tezikozesebwa, engoye n’ebintu, ebikozesebwa okuzimba ebirala bingi Ng’anda bye yalememwa okunnyonnyola.

Ebibbe ebyasangibwa mu maka ga Nganda e Bunamwaya mu Kisingiri zooni.

ENGERI ABATEMU GYE BAABATAAMU
Mbega eyanoonyereza ku musango guno e Kajjansi (tayagala kumwatuukiriza) yantegeezezza nti ye bwe yamala okunoonyereza ku musango guno, yasindika abasajja bano mu kkkoti y’e Ntebe. Amangu ddala baamukyusa naye olw’okuba y’enkola ya poliisi teyasooka kukifaako.

“Ng’anda ne Katalaga baakozesa olukujjukujju ne batuukirira omu ku balamuzi ku kkooti e Nakawa gwe beeyambisa okuyita fayiro okuva ku kkooti e Ntebe ne bagireeta e Nakawa omulamuzi n’abata wakati wa May ne July mu 2013 nga n’omwaka tegunnawera,” bwe yagambye.

Bannamwandu Hasifah Nalubega ne Zam Nakamya abaasigala mu maka g’omugenzi e Ssumbwe bategezezza bwe bati;

Omugenzi yatulekera abaana abasoma kyokka okuva lwe yafa tebafuna bulungi buyambi.
Nze nga nnamwandu omukulu (Nalubega) omugenzi yandekera abaana bataano ate ye Nnaalongo
Nakamya n’amulekera omwana n’olubuto lwa myezi musanvu.

Kye nzijukira ku makya g’Olwokusatu nga May 23, 2012 omugenzi yazuukuka nga talina maanyi era yamala eddakiika nga 30 ng’akyatudde ku buliri nga tayagala kukola ekyali tekitera kubeerawo kyokka bwe yagenda teyadda.

Emmotoka enzibe eyasangibwa ewa Ng’anda, Emmotoka Ng’anda ne Katalaga gye babba ku Wabbi nga bamaze okumutta.

NNAMWANDU NAKAMYA
Omugenzi emmotoka gye baamuttiramu, yali agifunye ku looni kyokka ekisinga okukwasa ennaku yali yaakagimalayo abatemu ne bamutta nga teyeeyagalidde mu ssente ze.

Capt. Wasswa, muganda w’omugenzi yang’ambye nti bwe yakola okunoonyereza n’asanga nga Ng’anda eyatta muganda we asiiba mu mmotokamu galagi e Nsambya era avaayo kasitoma azze.

“Nneewuunya engeri kkooti gy’eta omutemu ng’ono nga tawozezza,” bwe yagambye.

Mu kkooti e Nakawa, fayiro yabuzaabuzibwa ate nga ne ku poliisi e Kajjansi tebaagizzaayo! Twagezezzaako okuginoonya n’ebulira ddala!

Abatta Wabbi bakola ki e Nsambya nga tebawozanga mu kkooti?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...