TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani yeekomya ssente z'abavubuka, Gavumenti ze yaweereza e Wakiso?

Ani yeekomya ssente z'abavubuka, Gavumenti ze yaweereza e Wakiso?

Added 15th October 2014

GAVUMENTI yaweereza akawumbi ka ssente e Wakiso okukawola abavubuka b’eggye mu bwavu emyezi ebiri egiyise.

GAVUMENTI yaweereza akawumbi ka ssente e Wakiso okukawola abavubuka b’eggye mu bwavu emyezi ebiri egiyise.

Wabula ssente zino ziyombya abavubuka kubanga bangi tebaazifunako. Kalondoozi wa Bukedde alaze emivuyo egiri mu kugaba ssente zino e Wakiso.

OLUTALO lubaluseewo mu disitulikiti y’e Wakiso nga luva ku ssente z’abavubuka. Gavumenti yawa disitulikiti eno, akawumbi ka ssente (obukadde 1,000) kyokka abavubuka bagamba nti abaazifunyeeko baasoose kusasula nguzi, ezimu zibuziddwaawo n’endala ne ziweebwa abatalina kuzifuna.

Okumanya ensonga zikutte wansi ne waggulu, ofiisi ya Auditor General (omubalirizi omukulu owa Gavumenti) wiiki eno yasindise ttiimu okubuuliriza ku ssente zino.

Ensonda mu ofiisi eno zantegeezezza nti mu bbanga eritali ly’ewala, waliwo abakungu e Wakiso abajja okubuuzibwa olw’emivuyo egiri mu ssente zino.

Kalunsambulira yatandika nga September 8, 2014, Pulezidenti bwe yagenda ku disitulikiti e Wakiso okutongoza ssente z’abavubuka.

Kyokka nga tannazitongoza, abavubuka abamu baakimutegeeza nti tebannafuna ku ssente zino, ekyamunyiiza ennyo n’ava ku mukolo n’alagira abakungu ba disitulikiti okwetereeza, alikomawo okuzitongoza.

Guno gwe mukolo Pulezidenti gw’asoose okubaako n’agusazaamu mu myaka 28 gy’amaze mu buyinza!

Kigambibwa nti abavubuka ab'olubatu abaafuna ku ssente zino baazifuna mu kiro ekyakeesa olwa September 8, abalala baafuna obubaka ku masimu gaabwe nti ssente zituuse ku akawunti zaabwe ku lunaku lwennyini Pulezidenti lwe yali azitongoza.

Disitulikiti y'e Wakiso erimu amagombolola 23 n’emiruka egisoba mu 100.Akulira abakozi e Wakiso, Kigenyi Naluwayiro agamba nti ebibiina by’abavubuka 500 bye byawaayo okusaba okufuna ku ssente zino, nti kyokka 100 byokka bye byayitamu ne bifuna ssente zino.

Agamba nti ekibiina ekyasembayo okufuna ssente entono bwali obukadde 10, ekyasinga okufuna ennyingi bwali obukadde 12.

Kyokka bwe kiba nti waliwo ebibiina ebyafuna obukadde 12, kisoboka kitya okuba ng’ebibiina byonna 100 byafuna ssente ezitakka wansi wa bukadde 10 nga zaali akawumbi kamu kokka?

Abavubuka okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Wakiso balumiriza abavunaanyizibwa ku ssente zino okuzeegabira mu ng'eri ey’olukwesikwesi bo ne basigala nga banjala ngalo.

Yusufu Mugagga akulira Youth Development Club e Kyebando agamba nti ssente zino zaagabwa naye tezaagabwa mu makubo malambulukufu. Agamba nti ebibiina ebyasunsulwamu mu disitulikiti yonna byali 120 wabula batono nnyo abaasobola okufuna ku ssente z'abavubuka.

Pulezidenti lwe yagenda e Wakiso mu September okutongoza ssente z’abavubuka.

“Nnakola okunoonyereza ku bibiina ebyafuna ku ssente zino, naye bangi be baateekayo ng’abakulira ebibiina baali bapange bubanzi, nga basooka kukola ddiiru n’oyo awaayo erinnya lyo ne mugabana ssente,” bwe yagambye.

Ayongerako: Waliwo ebibiina ebyafuna 7,000,000/- naye nga ku zino ekibiina kitwalako obukadde mukaaga, enjawulo n’edda ew’akulira eby’ekulaakulana mu kitundu! Wano e Kyebando waliwo n’omukyala eyateekayo bawala be n’omulala ow’ekyalo omu era ssente olwaziggyayo (obukadde 8)yazikolamu bibye!

Wano mu Kyebando, buli kibiina ekyafuna ku ssente abakulira eby’enkulaakulana (CDO) baabirinamu omukono.

Ali Matovu, omutuuze mu Wakiso Town Council ali mu myaka 55, kyokka y’omu ku baalidde ku ssente z’abavubuka. Ekyebuuzibwa nti obukadde 8 yazifunye atya atali muvubuka?

Abavubuka ba Kabowa Craft Workers abakola ebintu eby’enjawulo omuli engatto, ensawo n’ebirala be bandifunye ku ssente zino.

EBISAANYIZO BYA SSENTE ZINO
1. Okwekolamu ekibiina. Kirina kubaamu bammemba 10-15 ng’abasinga bawala.

2.Ekibiina kirina okukakasibwa olukiiko lw’ekyalo.

3. Okufuna ‘Proposal forms’ n'okuzijjuzaamu nga ziva mu minisitule y’ekikula ky’abantu.

4. Okuba ne ‘Business Plan’ erambika obulungi bizinensi yammnwe by’ekola.

5. Mulina okuba ne akawunti y'ekibiina.

‘Abakaayanira ssente tebaalina bisaanyizo’
Ronald Lukwago, Ssentebe wa Twekembe Youth Group e Buloba, agamba nti mu muluka gwabwe waavaayo ebibiina 11 ebyatuukiriza ebisaanyizo bya ssente z’abavubuka wabula tebaalaba yadde omunwe gw’ennusu!

“Okumanya ssente zino baali baazeegabira dda, nnalabako ebibiina bina okuva e Kyebando ebyazifunako, abalala sikakasa nti ssente baazifuna,” Lukwago bw’agamba.

Agamba: Ba CDO baatuyitanga ne tugenda mu misomo era buli muvubuka eyakola ekibiina yagenda mu musono guno okusobola okubangulwa mu nkozesa ya ssente, wabula twatuuka ku lunaku olusembayo nga tewali kye tulabye ku ssente ze baali batusomesa okukozesa.

Okumanya buli kimu baali bakipanze nga ffe tuzze kunyumisa mukolo, twali tutudde mu ttundubaali ne batandika okuyitayo abavubuka, be bambazza yunifoomu ne babalagayo nti bamu ku baafuna ssente!

Mu muluka gw’e Buloba, kisoboka kitya abavubuka 150 abaasaba ku ssente zino okuba nga tewali yafuna?

Alan Amanya ow’e Wakiso mu Town Council alina akaduuka ke ke yali ayagala okwongeramu. “Ssente z'abavubuka mpulira mpulire.

Abavubuka mu kitundu bakukkuluma nti ssente zino zaafunibwako abo abaganzi eri abakulembeze ku disitulikiti era sirina kibiina kye ndimu kuba n'abavubuka bennyini baabanga banoonya banywanyi baabwe nga be bawandiika.

Abavubuka abaafuna ku ssente zino bangi baazigabana na mikwano gyabwe sso si kuziganyulwamu.
Zaalimu n'okusosola okusinziira ku ndowooza y’ebyobufuzi, nga bwe baziwa owa DP aziwa banne b’amanyi nti ba kibiina kye n'ab'e NRM y’enkola eyagobererwa,” bwe yagambye.

BASSENTEBE B'ABAVUBUKA BEERWANYEEKO
Hassan Ssebulime, Kansala w'abavubuka ku Disitulikiti e Wakiso yang’ambye: Twafuna akawumbi ka ssente wabula obukadde 200 bwagenda mu misoso egy’enjawulo okwali okusomesa abavubuka mu bitundu, okwokesa mu mpapula okwali pulaani za bizinensi , entambula okutuuka mu bitundu n’ebirala.

“Ssente zino twazigaba okusinziira ku ggombolola esingamu abavubuka abangi ate nga n'obwetaavu bwazo babulaze bulungi.

Abavubuka abasinga obungi tebaazifunako kubanga zaali ntono ate nga bangi. Bangi ku bano abakukkuluma baali tebalina bisaanyizo bya ssente zino.

Abavubuka abasinga ekyabayombeseza mu maaso ga Pulezidenti, baali balowooza nti agenda kukola nga bwe yakola e Busoga, ajje n’ekisawo kya ssente abagabire,” bwe yagambye.

Hassan Senyonga agamba: Mu ggombolola y’e Nsangi gye nkulembera abavubuka beekolamu ebibiina okuva mu miruka egy’enjawulo ne baweza ebibiina 148 wabula bwe twasunsulamu twasigaza ebibiina 26 byokka.

Ku disitulikiti e Wakiso nabo baasunsulamu ne basigazaako ebibiina 5 byokka, 21 ne bisuulibwa.
Ebibiina ebyalondebwako byafuna 41,924500/= awamu, ku bano kwaliko Twekembe Kitemu Central Development Association obukadde 6, Focus Youth obukadde 9, Muzinda Youth Development Association obukadde 8, Buwaali Youth Group 8,124,500/= ne Kyengera Beauty Standard Salon 10,800,000/-.

Ssente zino zaaleetebwa kuyamba bavubuka aba wansi abaagala okusitula obulamu bwabwe nga bayita mu kwegatta naye ekizibu ekiri ku ssente zino emitendera mwe bayita okuzifuna girimu Oluzungu lungi.

Bangi abaazifuna baafuna abantu ne babayamba okujjuza foomu n'okubakolera embalirira ennungi, singa si bwe kyali tewaaliwo n'omu yaalifunye ku ssente zino.”

Sempasa Muwada, akiikirira abavubuka ku Wakiso Town Council agamba: Mu kitundu kye ntwala nnafuna ebibiina 101 nga buli kibiina kirimu abavubuka abali wakati wa 10-15 abaali bakkirizibwa mu mateeka.

Abavubuka bano baakakasibwanga bukiiko bwa LC 1 ku byalo, ne biweebwa ffoomu. Bangi bajjuza ne bagwa.

Ate siraba kikaayanya bantu, ssente zino zibawoleddwa buwolebwa, baakuzizzaayo oluvannyuma lw’omwaka ogusooka nga temuli magoba, omwaka oguddako ozongeramu ebitundu 5% kino kitegeeza nti buli bukadde busatu oyongeramu emitwalo 35.

Bano be baafuna ssente mu Wakiso Town Council
1.Kisimbiri Welders, obukadde 10.
2. Kona Katalungi e Kavumba obukadde 5.
3. Mpunga Poultry obukadde 5.
4. Mpunga Carpentry obukadde 8.6.
5. Kasengejje Air Dressing obukadde 5.
6. Najeera Leather Works obukadde 7.

Wiiki ejja tujja kukulaga olukalala lwonna olw’abagambibwa okufuna ku ssente zino.

Ani yeekomya ssente z’abavubuka, Gavumenti ze yaweereza e Wakiso?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...