TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Laba Gadaffi n'Abazungu we batuusizza Libya!

Laba Gadaffi n'Abazungu we batuusizza Libya!

Added 29th October 2014

NGA OCTOBER 20, 2014 lwe gyaweze emyaka esatu bukya, Col. Muammar Muhammad Abu Minyar al-Gadaffi eyali omukulembeze wa Libya attibwa, Libya n’entandika okutabanguka nga kati ekutte kkubo lya Somalia!


NGA OCTOBER 20, 2014 lwe gyaweze emyaka esatu bukya, Col. Muammar Muhammad Abu Minyar al-Gadaffi eyali omukulembeze wa Libya attibwa, Libya n’entandika okutabanguka nga kati ekutte kkubo lya Somalia!

Col. Gadaffi, yattibwa ku ntikko y’obulumbaganyi obwakolebwa amawanga ag’omukago gwa NATO nga gakulembeddwaamu Amerika, Bufaransa ne Bungereza ku Libya nga geerimbise mu kuginunula okuva mu ttemu n’effugabbi lya Gadaffi.

We baamuttira, Gadaffi yali yaakafugira Libya emyaka 42 okuva 1967 lwe yawamba obuyinza n’assaawo obukulembeze obwakyusakyusa Libya okuva ku limu ku ggwanga erisinga obwavu mu Afrika ne liyitimuka okukamala nga we baamumaamulirako n’okumutta mu 2011, Libya yali emu nsi ettaano ezisinga obugagga n’enkulaakulana mu Afrika.

Wabula olwaleero, Libya eri mu kiti kya Somalia, eky’ensi ezaadobonkana, olw’obutabaamu gavumenti eya wakati efuga ggwanga lyonna era temuli mateeka gafuga, buli muntu ky’asanga ky’akola!

Somalia emaze emyaka 23 nga terina gavamenti efuga ggwanga lyonna okuva mu 1991, gavumenti ya Mohamed Siad Barre lwe yaggyibwako.

Col. Gadaffi ( ku kkono) ng’atambula n’abakuumi be abakazi bwe yali akyali mulamu

Amerika eby’okuggyako Siad Barre yabirimu, naye eggwanga lyatabukatabuka n’okutuusa kati nga lino ly’ekkubo Libya ly’etandise okuva mu 2011 gavumenti ya Gadaffi lwe yagwa.

Libya mu kiseera kino terina gavumenti ntongole efuga ggwanga lyonna, wabula efugibwa ebiwayiwayi obuli ebya bannalunalala n’ebya bannabyabufuzi kyokka nga bonna beetemyemu okusinziira ku Bika.

Ebiwandiiko ebitongole ebikwata ku Libya biraga nti eggwanga lifugibwa Palamenti eyitibwa, ‘House of Representatives’ eyalondeddwa mu June wa 2014, kyokka obuyinza bwa Palamenti eno ku Libya bwa munyoto, tebalina buyinza na ku kibuga ekikulu Tripoli, bafugira mu kibuga ekiyitibwa Tobruk, ky’oyinza okugereegarenya ku Gulu bw’oba mu Uganda.

Tobruk ekibuga ekisangibwa ku mwalo ku liyanja Mediterranean ky’esudde Kiromita 1,256 okuva e Tripoli, ekitegeeza nti abakulembeze abatongole abaalondebwa okuva Libya bali mu byabwe!

BULI KIBUGA KIRINA AKIFUGA
Ekibuga Tripoli, mu kiseera kino kiri mu mikono gya bannalukalala abakolagana n’abamu ku babaka ba Palamenti enkadde eyitibwa ‘General National Congress’ eyali yalondebwa mu July wa 2012 , ekisanja kyayo ne kiggwaako mu January wa 2014 kyokka abamu ne bagaanirako. Bannalukala abo be baafubutula ababaka ba ‘House of Representatives’ okuva mu Tripoli.

Ababaka aba ‘General National Congress’ batuula mu Tripoli, ate ‘House of Representatives’ batuula Tobruk. Wabula ne mu kibuga Tobruk aba ‘House of Representatives’ gye batuula nayo beetebyemu ebiwayi ng’oluusi bakubaganira mu nkiiko okufaananako ng’ababaka ba Palamenti mu Somalia abaakubaganirako emiggo mu lukiiko e Nairobi .

Gen. Hifter, Abamerika gwe baagala afuge Libya.

Buli emu kw’ezo gavumenti, ey’e Tripoli mu bugwanjuba n’ey’e Tobruk mu buvanjuba buli emu erina Katikkiro owaayo, Palamenti yaayo n’eggye lyayo, nkugambye ekiri mu Libya kisa kinegula!

Olw’embeera eno, amawanga gonna amagwira omuli ne Amerika, Bungereza ne Bufaransa ezaatabangula Libya zaasengula dda ebitebe byazo okuva mu Tripoli nga kati zisinziira mu mawanga ag’omuliraano ne Libya naddala Misiri okulondoola ebigenda mu maaso mu Libya.

Amafuta bagasima Abazungu ne bagagabana ne bannalukalala
AGAMU ku mawanga ag’omuliraano ne Libya okuli; Misiri, Algeria ne Tunisia gaggalawo ddala ensalo zaago ne Libya kubanga tegalina gavumenti ntogole gye galina kukolagana nayo mu nsonga entongole.

Ng’oggyeeko gavumenti ebbiri; ey’e Tripoli ne Tobruk, ebibuga bya Libya ebirala ebinene nabyo biri mu mikono gya bannalukalala nga n’ekibuga Benghazi obwegugungo obwatwala Gadaffi gye bwatandikira kiri mu mikono gya bannaluakala abayitibwa Ansar al-Sharia abalina akakwate ku batujju ba Al Qaeda. Aba Ansar al-Sharia era be bafuga n’ekibuga ekirala ekiyitibwa e Derna ekiri ku mwalo

Ekibinja ky’abatujju ekirala ekya Al-Jama’a al-Islamiyyah al-Muqatilah kyo kiri mu bibuga ebisinga obungi naddala ebiri mu ddungu mu bukiika ddyo bwa Libya.

AMAFUTA
Eby’okusima n’okutunda amafuta mu butongole, Libya yabivaako dda nga kati kkampuni z’abazungu ziri mu kugasomola nga bwe zaagala ng’eno bwe zigabana omusimbi ne b’agenti ba bannalulalala era ezimu ku ssente ezo bannaluakala mwe bagula ebyokulwanyisa.

Obumenyi bw’amateeka buli buli wamu mu Libya n’okusingira ddala mu bukiika ddyo bw’eggwanga lino, awali eddungu, bannakulalala aba buli kika gye bakubye enkambi nga gye basinziira okukola enkwe n’obulumbaganyi obw’ekitujju.

Emize egy’okukwata abakazi, ettemu, okutulugunya abantu, obwakkondo, okukukusa emmundu, okukuba ssente enfu n’obumenyi bw’amateeka obwa buli kika be baana baliwo mu Libya.

Kwe kugamba nti ekiri mu Libya kiyungula ezziga era bannansi bangi beevuma Amerika n’amawanga g’Abazungu olw’okuggyako Gadaffi nga tebasoose kweteekateeka era abasinga bajjulirira Gadaffi.

Embeera eri mu Libya, yatabula dda Amerika nga kati waliwo by’epangapanga okuwagira munnamagye Gen. Khalifa Hifter okuwamba obuyinza okufaananako nga Gadaffi bwe yawamba mu 1967.

Gen. Hifter yali munywanyi wa Gadaffi wabula ne batabuka bubi nnyo mu myaka gya 1980, Hifter n’addukira mu Amerika, Amerika n’emuwa omulimu mu kitongole ekikessi ekya CIA era yagezaako okuwamba Gavumenti ya Gadaffi mu 1996 olukwe ne lugwa butaka.

Laba Gadaffi n’Abazungu we batuusizza Libya!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....