TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani yeekobaana n'abakulembeze e Banda okusengula abatuuze mu bukyamu ekivuddeko 3 okufa?

Ani yeekobaana n'abakulembeze e Banda okusengula abatuuze mu bukyamu ekivuddeko 3 okufa?

Added 5th November 2014

OLWA July 04, 2014 lujja kulwawo okuva mu bwongo bwa Mohammed Bwabye, omutuuze w’e Bweyogerere. Luno lwe lunaku aba KCCA lwe baazinda ekifo kye e Banda we yali akolera emirimu gye ne bakimenya nga bagamba nti bayisaamu kkubo ligenda kutwala takisi mu ppaaka empya eyassibwawo. KALONDOOZI WA BU

OLWA July 04, 2014 lujja kulwawo okuva mu bwongo bwa Mohammed Bwabye, omutuuze w’e Bweyogerere.

Luno lwe lunaku aba KCCA lwe baazinda ekifo kye e Banda we yali akolera emirimu gye ne bakimenya nga bagamba nti bayisaamu kkubo ligenda kutwala takisi mu ppaaka empya eyassibwawo.

KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze engeri abantu abamu gye bakozesaamu KCCA okubba ettaka lya bannaabwe.

ABANTU baakafa basatu e Banda oluvannyuma lw’abagagga abamu nga bakulembeddwaamu kansala w’ekitundu kino Fred Kagga okumenya amayumba ne bizinensi zaabwe mu bukyamu.

Abaakafa kuliko David Nakabaale abadde omutuuze mu Banda B2, Sam Kaboggoza naye owa Banda B2 eyeetuze nga bamaze okumumenyera ennyumba mw’asula n’ez’abapangisa wamu ne Patrick Ngobi abadde omutuuze w’e Kasokoso naye ng’akolera Banda we baamenye.

Ekibi nti ekitongole kya KCCA tekyategedde ku kumenya bibanda we babajjira entebe n’ennyumba eziriraanyeewo okukolawo ppaaka.

Abalala abali emabega w’okumenya amayumba g’abantu e Banda kuliko Sam Okumu Mangeni, omumyuka wa LC I owa Banda B2, Lukyamuzi Musoke alina ‘warehouse’ gye yazimba mu lutobazzi era amaze ebbanga eddene ng’aperereza abamu ku bannannyini kifo kino okukyezza.
Mu be baamenya mulimu ne Mohammed Bwabye eyafubako okulemesa abantu abawerako abaali beesomye okumenya ebizimbe bye.

Agamba nti te Mutaka mu kitundu, ebizimbe bye bimazeewo emyaka 70, abatuuze ne KCCa ebimanyi era biri ne ku ‘master plan’ yaabyo, tebiri na mu kkubo.

Kansala Frederick Kagga, ow’omuluka gw’e Banda y’omu ku baawoma omutwe mu kusengula abantu mu bukyamu.


BWABYE ANNYUMYA
Mmaze emyaka 15 nga nkolera Banda. Ekifo kino kitunudde mu luguudo lwa Mukabya kati olw’e Jinja, ekifo kino kyali kya bakadde bange era nkuze bali awo, era ebizimbe bino bimazeewo emyaka nga 70.

Kyokka nnafiirwa ekizimbe n’ebintu ebibalirirwamu akawumbi kalamba.

Emabega w’ebizimbe ebyo lwabanga lutobazzi era nga tosobola kugendayo. Ebizimbe bino bakadde bange baali babikozesa ng’amaduuka.

Wabula bwe namaliriza okusoma eby’okubajja olwo ne ntandika okukolerawo, bakadde bange ne bavaawo.

Ekizimbe kino nabeeranga nkiddaabiriza era nga nsasula obusuulu mu KCCA e Nakawa eziri wakati w’emitwalo 20 okutuuka ku kakadde kamu okusinziira ku bwe baba bagerese.

Wabula edda bakadde bange baagezaako okugenda mu KCCA okusaba ebyapa by’ekifo kino era ne bakuba ettaka lino ne pulinti ne zifuluma nga za nnyumba ssatu.

Nange nayagala okuddamu okuzuukusa okusaba kwa bakadde bange nga nziramu okusaba liizi ku ttaka lino, wabula ne wabaawo ampa amagezi nti okusaba kwabwe kwali kututteko akabanga nga sijja kusobola kusasula ssente za nnyumba zonna ssatu, kwe kutandika okugoba ennyumba emu ku emu.

Natandikira Nakawa okusaba ettaka, eno ne bansindika mu KCC nga bwe yali mu kiseera ekyo. Abo baasindika omuntu eyajja okubalirira ekifo kyange, bangerekera obukadde bubiri n’ezigwamu. Awo yali 2006 nga Sebaggala ye meeya.

Bwe nnaddayo, nnagenda ew’omukungu akulira akakiiko k’ebyettaka mu Kampala, Yusuf Nsibambi, ne banoonya fayiro nga terabika.

Bang’amba nziremu nsabe ekyapa. Olwo oyo yali 2012, ne bandaga engeri gye nnina okutambuzaamu ebintu byange.

Mohammed Bwabye baamumenyera bizinensi n’ennyumba.

Abo baagaana okubaliyirira - Kansala Kagga
BWABYE agamba: Fayiro yange yabeera ewa Nsibambi, nalaba wayiseewo ebbanga ne mpandiikira looya wa KCCA Ouma nga nneemulugunya olw’ebintu byange okulwawo.

Wano we yang’ambira nti KCCA tevunaanyizibwa ku ttaka, kyokka ne bang’amba nti ekizibu ekirala ekiriwo ofiisi y’ebyettaka nzigale olw’enkaayana ezaaliwo.

Waliwo omwami Lukwago, ono yalina ettaka wansi mu lutobazzi, naye ndowooza yali ayagala kulitunda kyokka nga gw’aliguza amusaba ekkubo erimutwala ku ttaka nga tayagala kwetooloola kuba ekkubo eryetooloola weeriri.

Lukwago yantuukirira ng’asaba okumuwa ekkubo ayiseewo ettaka okugenda okuyiwa mu poloti ye, nnagaana kuba waliwo eyanzibirako nti singa nkikola ajja kulikalizaawo ddala.

Lukwago oluvannyuma baakwatagana n’omusajja omulala Martin Bbaale, Bbaale n’awandiika ebbaluwa ng’endagira okuggya ekibanda mu kkubo. Twadduka mu KCCA ne tubagamba nti waliwo abaagala okuyisa ekkubo mu bibanja byaffe.

Bwe waayitawo akabanga nga Lukwago takyalabika, nga bbaale akwataganye ne Musoke Lukyamuzi.

Mu 2009, twatuula n’eyali Ssentebe w’e Nakaka Protazio Kintu, n’agamba Musoke ne Bbaale bateese bulungi n’abantu babasasule olwo baveeko bayiseewo ekkubo kubanga we bagamba nti waliwo ekkubo waaliwo mayumba g’abantu.

Mu kiseera kino, Musoke yali ayiwa ettaka wansi mu lutobazzi, Ebyo byonna nga biremye, namugamba nti bw’aba ayagala mmuviire, angulire ekifo ekirala gye mba nzira, ampe ne ssente ezinsengula. Namusaba angulire wakati wa Banda ne Kireka ku kkubo, awo we twasemba okwogeraganya.

Okusooka baali bagambye nti wano baagala kuteekawo kibangirizi kya makolero, wabula NEMA yabalemesa n’ebalabula nti olwo lutobazzi. Ekibangirizi baakitwala Namanve.

Amayumba agaamenyebwa.

Kansala Frederick Kagga bwe yabiyingiriramu ne bakyusa nti baagala kuleeta ppaaka. Bang’amba nti bwe banaasasula abantu abali mu lutobazzi, nze baali baakuteesa nange mu ngeri eyenjawulo.

Mu nkiiko ze twalimu nga ne kansala Kagga yabangamu, nnabasaba banfunire ekifo ekirala nveewo.

Twatuuka n’okugenda ewa minisita Nantaba, ne tumunnyonnyola ensonga zaffe, wabula Kagga ne banne ne bamutegeeza nti, ‘ensonga zino za Gavumenti’.

Nga wayise omwaka nga gumu, abasajja bajja ne batandika okupima, naddamu ne njogera ne kansala Kagga n’ang’amba nti ensonga azikolako, nti bagenda kunfunira ekifo ekirala.

BATUMENYA
Jjuuzi ng’enda okulaba ng’abali emmanju bonna bamaze okubamenya, nga nze nsigaddewo. Baagamba nti ppaaka bagireeta kuba e Nakawa baali bagigobyeyo. Ate emmanju eyo nali nguzeeyo poloti yange, naye nga mulimu ennyumba entono.

Ku lunaku lwe baamenya, baakubira muganda wange ssimu ekiro ssaawa 9:00. Nze ssaamanya nti bagenda kumenya, wabula nasindika muganda wange alabe kiki ekiriyo kuba baali bakutte muto wange nga simanyi.

Nze najja ku makya olw’okutya nti bayinza okunkolako obulabe. Tewali kye bang’amba, ssaafuna kiragiro kyonna kuva mu kkooti, ssaasasulwa!

Mangeni, amyuka Ssentebe w’e Banda 2B, yanziramu nti nnemesa enteekateeka za Gavumenti! Looya wa KCCA, Ouma bwe yankubira ssimu ku olwo lwe baatumenya, yagamba nti mpandiike ebintu byonna bye nafiirwa ne ssente ze mbalirira mu kifo kyange mbimuwe.

Okuva olwo siddangamu kumuwuliza!
Mpandiise amabaluwa ag’enjawulo eri KCCA n’ewa Pulezidenti, era looya wange bwe yawandiikira

Ouma ebbaluwa n’amuddamu ng’atuyita ne looya okulaba engeri gye bayinza okunsasulamu, naye olunaku lwe yatuwa yagaana okujja. Gwe yatusindikira yatugamba nti twali mu kkubo!”

KANSALA KAGGA
Bwe nayogeddeko ne kansala Frederick Kagga owa Banda ku lukiiko lwa munisipaali y’e Nakawa yang’ambye: Ensonga za Bwabye nzimanyi, yazimba mu kkubo erikkirira mu lutobazzi. Okuva mu 2005 nga nze sinnaba na kufuuka kansala baali baamuwandiikira dda amabaluwa agamulagira nga bwe bagenda okujja okwerula empendao.

Ekiseera kituuse ng’abaliwo bakola era bwe baalabulwa nti bagenda kubasenda ekyaddako kwali kubaggyawo. Ekkubo lino mwali mwazimbibwamu amaka 33, abalala bonna baabaliyirira era ne beemenyera ebintu byabwe kyokka ye Bwabye waliwo abaamuwa amagezi amakyamu n’agaana ssente.”

Wabula Bwabye agamba nti ennyumba ye tewali yagibalirira, n’olwekyo tewaaliwo ssente zaali zimuweebwa.

“Mu mateeka abantu bano tebalina kuliyirirwa era KCCA si ye yabaliyirira, naye olw’okuba ffenna twagala enkulaakulana ya ppaaka mu Banda ate nga nange ndi mukulembeze nalaba ng’abantu bange okugobwa batyo nga tebafunyeeyo ku ssente nga tekikola, era nanoonya abagagga ne babaliyirira.

Abantu 31 bbo beemenyera ebizimbe byabwe. Emabega Bwabye yalinayo poloti gye yali aguze eno yabalirirwamu obukadde 13.990.000/- naye ne zino yazigaana kyokka nga abalala baafuna ssente ne bagenda,” Kagga bw’agamba.

Wabula Bwabye agamba nti poloti eno erimu ennyumba nnamba, eriko amaduuka n’emabega ng’eriyo emizigo mukaaga n’obusitoowa busatu.

Wonna nnali nguzeewo obukadde 64, n’obusuulu bwa KCCA bwa 3,200,000/- ne nzisasula. Naye Kagga ne banne baayagala okukozesa olukujjukujju bawe ssente bali be nnagulako nti banzirize ssente zange. “Ennyumba gye nnagula obukadde 64 lwaki baali bampaamu obukadde 13 ng’ate nnassaako ne ssente z’okugiddaabiriza?,” Bwabye bw’abuuza.

Kagga agamba: Nagezaako okuteesa naye okulaba ng’asasulwa ekyo ky’alina okufuna, wabula bwe bajja okubalirira ebizimbe bye yabagoba ng’abagambanti awo tewali kkubo.

Wabula Bwabye agamba nti yasemba okukkaanya ne Kagga nga bagenda kumufunira kifo bamusengule.

WALIWO ESSUUBI OKUSASULA BWABYE?
Kagga agamba nti essuubi weeriri, kuba alina ne ssente ezo obukade 13 ezo teziriiko na kusooka kuteesa.

“Tusobola okutuula ne tuteesa ne bamusasula. Kati byakuteesa mu mbeera ya buntu, kuba jjukira abaali baagala ekkubo baalifuna, ate ekizibu ekirala ennyumba ye yamenyebwa ne mwonoonekeramu n’ebintu olwo byo bigenda kubalirirwa bitya?,” Kagga bwe yabuuzizza.

NEMA
Akulira ekitongole kya NEMA Dr. Tom Okia Okurut ayogera bwati ku bikwata ku ppaaka y’e Banda: Nafuna ebbaluwa okuva mu KCCA nga bantegeeza nti ebya ppaaka y’e Banda bo tebabimanyi!

Era waliwo kansala ayitibwa Kagga twamukwata ng’ayiwa ettaka mu kifo kino kuba yali akikola mu bukyamu, omuntu yenna akozesa olutobazi alina okusooka okufuna olukusa okuva mu KCCA ne bamuwa ne pulaani oluvannyuma ffe ne tumuwa by’alina okugoberera ng’azimba obutakosa butonde bwa nsi. Bino byonna Kagga ne banne tebaabikola!

OKUMU MANGENI
Bwabye namala ekiseera nga muwabula kubanga yali mu kkubo ate nno ye ali na mu Jinja Road, wabula yali atudde mu mumwa gwa Banda Link w’atandikira.

Nze omu ku baasemba Bwabye ng’agula ekifo kino, bwe twakimanya nti ali mu kkubo namuwabula aveewo.

Kituufu Bwabye yateesa n’abantu abaali baagala ekkubo bamusasule naye nga buli kye batuukako ng’ate enkeera yeekyusa!

MEEYA W’E NAKAWA
Benjamin Kalumba agamba: Ekyewuunyisa nze okumenya ebizimbe bya Bwabye sirina kintu kye nnamanya, era ebyo bizze bikolebwa bityo kubanga abaamenya baava mu KCCA tewali gwe baagamba.

Kye nasemba okumanya ku bintu bya Bwabye nga waliwo abaagala okubasasula kubanga baali mu kkubo, nnali muwadde amagezi akkirize ssente ze baali bamuwa naye n’agaana, era ssaddamu kubiwuliriza mbitegedde babamenye.

Naye kati gwe mutawaana oguliwo kubanga aba KCCA aba waggulu, bbo tebatutegeezaako era bwe baakola n’abantu abaali ku luguudo lw’eggaali.

KCCA
Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba eyo ppaaka ya bwannannyini bo tebagivunaanyizibwako. Ffe okuyingira mu by’ettaka eryo twasooka kutegeezebwa bannannyini lyo nti bonna babimaze nga baagala kubayamba okutereezaawo.

Wiiki ejja tujja kulaga engeri abantu b’e Banda gye babbibwa ‘abanene’ abamu nga bayita mu kibiina kya Banda Bibanja Association.

 

 

Ani yeekobaana n’abakulembeze e Banda okusengula abatuuze mu bukyamu ekivuddeko 3 okufa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...