TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omuntu owookusatu afudde olw'ettaka ly'e Kira erikaayanirwa!

Omuntu owookusatu afudde olw'ettaka ly'e Kira erikaayanirwa!

Added 10th June 2015

KALOLI Tabuta alina ettaka lya yiika 25 e Kyaliwajjala mu Kira Town Council. Kyokka ettaka lino lyakassa abantu basatu okuli n’omuvubuka Amos Ssebunnya eyaweebwa ekyapa ekyavaako akabasa. Kalondoozi wa Bukedde akulaze engeri ettaka lino gye lituusizza abantu abasoba mu mukaaga okusibwa, abalala bas

KALOLI Tabuta alina ettaka lya yiika 25 e Kyaliwajjala mu Kira Town Council. Kyokka ettaka lino lyakassa abantu basatu okuli n’omuvubuka Amos Ssebunnya eyaweebwa ekyapa ekyavaako akabasa.
Kalondoozi wa Bukedde akulaze engeri ettaka lino gye lituusizza abantu abasoba mu mukaaga okusibwa, abalala basatu ne bayiirwa asidi!

ABANTU abaakafa olw’ettaka lya yiika 25 eriri ku bbulooka 222, plot 96 e Kyaliwajjala mu Kira Town Council lino baweze basatu, okuli ne Amos Ssebunnya, mutabani wa Tabuta ayitibwa Stephen Lubega gwe yali asingidde ekyapa ky’ettaka lino erifuuse ndibassa naye okufa!

Ssebunya yafa mu ngeri etategeerekeka nga kigambibwa nti olumbe olwamutta yaluggya ku muntu omu gwe yali agenze okusisinkana ku nsonga z’ettaka lino n’akomawo ng’akaaba omugongo n’okuziyira era yamalawo akaseera katono n’afa.

Omusango Kaloli Tabuta gwe yawaabira Mutwalib Kaboggoza okumubbira ettaka lye oguli ku nnamba 0050/2012 gwali gugenda mu maaso nga Kaboggoza (omutuuze w’e Namugongo ku muzikiti), Muky. Resty Kiguli (omukungu mu ofiisi ya Pulezidenti), omuwandiisi w’ebyapa Edwin Muhereza n’abalala baawa obujulizi mu kkooti.

Kkooti yali esazeewo Ssebunnya agende agibuulire engeri ekyapa gye kyatambulamu wabula n’afa ng’ebula mbale agende mu kkooti. Ssebunnya yali ayitiddwa mu kkooti nga January 30, 2012 wabula n’afa nga November 25, 2011!

JOICE NANKABIRWA
Ono mwannyina wa Amos Ssebunnya eyafa mu ngeri eyeewuunyisa. Ono ennaku zino ali mu kutya kubanga waliwo abamusaba ebiwandiiko (amannya ngasirikidde) mwannyina bye yaleka ebyekuusa ku musango guno. Agamba:

Ssebunnya ye yalina ekyapa, naye twamala kulaba Tabuta ng’azze ne mutabani we Stephen Lubega (baamusibira Luzira) eyali akisingidde Ssebunnya era teyegaana wabula yabagamba nti bamuwe ssente ze olwo alyoke abawe ekyapa kyabwe.

Mu kiseera ekyo, waliwo abantu abaali batandise okujja nga baagala ekyapa kino naye nga tebategeerekeka bulungi. Kino kyatiisa nnyo maama kubanga abantu bano baali bayinza okutulumba ekiro ne bamubbako ekyapa.

Olw’okuba nga twali tumanyi Muky. Kiguli nti yali akola mu ofiisi ya Pulezidenti ate nga yali atera okuyingira mu nsonga z’ebyettaka okuyamba abantu, twafuna ekirowoozo tumuwe ekyapa akituterekere.

Nze, Ssebunnya n’omusajja omulala gwe twayitanga Ssaalongo Mayembe (yabula) eyali akola mu ppaaka ya loole e Kireka, twesitula ne tugenda mu maka ga Muky. Kiguli ne tumubuulira ensonga eno era n’akkiriza okukitereka wabula kyasooka kuggyibwamu kkopi.

EKYAPA KYALI KYA YIIKA 25
Ekyapa kino nze nnakyetegereza bulungi nga tukiwa Muky. Kiguli era kyali kiriiriddwaako enkuyege, nga kikadde nnyo era nga kyali kikyusiddwa omulundi gumu nga kiggyiddwa mu mannya ga

Benidicto Sajjabi ne kiteekebwa mu mannya ga Kaloli Tabuta.
Munda mwalimu akapapula akaali aka langi ya pinka. Era bwe twali tukitwala ewa Muky. Kiguli, twakatwaliramu.

Lwali lumu Tabuta yajja ne mutabani we Lubega, nga baagala okutwala ekyapa kyabwe maama n’abagamba nti kyali wa Muky. Kiguli era maama yali abatwala ewa Muky Kiguli naye ne batyayo.
Waliwo abantu abaatandika okulinnya Ssebunnya akagere ne bamukwata enfunda eziwera.

Baasooka kumukwatira Kireka n’atukubira essimu ng’agamba nti baali baagala kumutta ne tusitukiramu ne bamuta. Olulala baamukwatira mu Kampala ne bamutwala ku poliisi ya CPS nga baagala abawe ekyapa!

Bwe twalaba biri bityo, twagenda ewa Muky. Kiguli atuwe ekyapa tukiweeyo balekere awo okutulugunya Ssebunnya wabula Muky. Kiguli n’atugamba nti yali akiwadde Mamerito Mugerwa!”

Kyokka mu kkooti ku musango Kaloli Tabuta gwe yawaabira Mutwalib Kaboggoza (criminal case) nnamba 0050/2012, omulamuzi Sylvia Nabaggala alyoke yejjeereze Kaboggoza, Muky. Kiguli yawa obujulizi nti baagenda okumuwa ekyapa kyali kya yiika munaana ku block 222 plot 2100.

MUKY. Kiguli yawa obujulizi nti ekyapa yakiwa Mamerito n’akola n’obuwandiike ng’akitwala nga January 26, 2007 era ne yeegaana nti ye yali talabanga ku kyapa ekya block 222 plot 96.

Kyokka abooluganda lwa Ssebunnya balumiriza nti baamuwa ekyapa kya yiika 25 nga kikadde!
Nankabirwa agamba: Twagenda okuddamu okuwulira nti ekyapa Mamerito kye yali atwalidde Tabuta kyali kya yiika munaana era nga kipya. Kino kyatwewuunyisa nnyo ne tugenda ewa Muky. Kiguli ne tubimunnyonnyola.

Yeekangabiriza nti, ‘Eh, nze ekyo ekikadde nga sikirina, nze nnalina kipya ekya yiika omunaana!’. Okwongera okumukakasa nti ekyapa kye twamuwa kyali kya yiika 25, twamuwaako kkopi emu ku ezo ze twayokyamu mu kyapa ekyo n’agitwala n’agamba nti ajja kunoonyereza kyokka n’okutuusa kati tabangako ky’akolawo!

We nnategeerera nti waliwo ekitaali kirambulukufu, Muky. Kiguli yatandika okugamba maama ebigambo by’alina okwogera mu kkooti kyokka maama yalina ebintu bye yali ajjukira n’agezaako okubijjukiza Muky. Kiguli wabula ye n’amugaana okubyogera.

Yatandika n’okutumenyera engeri ekyapa gye kyali kitambuddemu nga bakitemyetemyemu, ng’abantu b’atugamba tetubamanyi.

OKUFA KWA SSEBUNNYA
Ssebunnya yasooka n’akaaba omugongo ogwali gumuluma, ekyamuwaliriza okuva ewuwe n’ajja ewa nnyina e Kyaliwajjala. Ekyava mu kulumwa omugongo, ekitundu okuva mu kiwato okudda wansi kyafa nga takyakiwulira era nga basitula musitule.

Awo yatandika okuzimba ebintu mu bulago ebitategeerekeka.

Nze nnali nzijjanjaba Ssebunnya era lumu nnamuleka mu nnyumba ng’ali ne mukyala we ne nzijja ku kkubo we nnali nkolera.

Waliwo omusajja eyajja ne yeeyanjula nti yali musawo era yali asindikiddwa akebere obulwadde obwali buluma Ssebunnya. Yaggyayo empiso n’agimukuba mu bulago nze nagenda okudda nnasanga agimusikamu!

Namubuuza ekyali kimukubisa omulwadde empiso nga teyeeyanjudde n’angamba nti yali atumiddwa era n’adduka. Waayitawo akaseera katono n’afa!

MUKY. KIGULI
Muky. Kiguli yang’amba wiiki ewedde nti Ssebunnya ne maama we baamutuukirira nga batidde okutereka ekyapa awaka era ye yagamba Tabuta nti ye yalina ekyapa wabula Mamerito n’akitwala. Kyokka ku luno bwe nnamutuukiridde yang’ambye: Lwaki ompandiikako? Osaana kukolimirwa ofe bufi!”

Bwe nnazzeemu okukubira Muky. Kiguli okumubuuza lwaki obujulizi bwe yawa mu kkooti bwali bulaga ekyapa kye baamuwa kyali kya yiika 8 kyokka bo abaakimuwa nga balumiriza nti kyali kya yiika 25 era nga kikadde, yanzizeemu bwati:

Bwe baba nga baali bookezzaamu kkopi gye bampa, bagireete ng’obujulizi! Nze ekyapa kye nnawa Mamerito sijjukira oba kyali kipya oba kyali kikadde!

Oluvannyuma Muky. Kiguli yampadde omuwala gwe ssaategedde mannya eyang’ambye;
Ggwe ow’amawulire okola ng’ani mu nsonga eno? Omukazi mulwadde, munaamuleetera okufa nga tannatuuka! Lwaki weefudde mbega!

Nnannyini ttaka apooca e Mulago
MBEGA wa poliisi Balyejukya yajuliza n’omusango omulala ogwawawaabirwa Ssentebe wa Kira Town Council, Mamerito Mugerwa ogwa Uganda vs Mamerito 535/ 2011 ng’avunaanibwa okukyusa ekyapa ky’ettaka lino kye yaggya ewa Muky. Kiguli (ekya yiika omunaana) n’akyusaako yiika nnya!

Yakissa mu mannya ga J Muhaya, oluvannyuma lw’omuwandiisi w’ebyapa okutegeeza nti Mamerito ye yagenda mu ofiisi z’ettaka ng’akyusa ekyapa kino newankubadde nga teyakissa mu mannya ge!

Muky. Kiguli


Kyokka omulamuzi Francis D Matenga teyakwatibwa nsonyi n’amwejjeereza ng’agamba nti teyalina musango gwa kwewozaako!

Ekyapa kyali kiwandiikiddwa mu mannya ga J Muhaya ku Instr. nnamba KLA 349112. Kyaliko endagiriro ya J Muhaya eya P.o Box 25440, Kampala eyali eya kkampuni ya Seroma etunda sseminti.

Kyokka John Muhaya (akola ku Seroma) bwe yabuuzibwa mu kkooti engeri gye yafuna ettaka lino yategeeza nti tagulanga ttaka mu kitundu ekyo era bwe yaleetebwa mu kkooti yabyegaana!

Kyokka looya wa Mamerito ayitibwa Brian Ophieno yategeeza kkooti nti ye owaabwe eyali nnannyini ttaka lino yali J. Muhaya ekyali kitegeeza nti yali ayinza okubeera Julius oba erinnya lyonna eritandika ne J!

Ekyewuunyisa, omulamuzi Matenga mu kifo ky’okuteeka Mamerito ne looya we ku nninga baleete J. Muhaya, gwe boogerako yasalawo nti Mamerito teyalina musango gwa kwewozaako, bwe lityo ettaka lya Tabuta erimu ne ligenda bwe lityo!

Omulamuzi Sylvia Nabaggala eyali omulamuzi ku kkooti ya Buganda Road, ng’amaze okuwulira vulugu yenna ali mu musango, n’okupangapanga kwonna, yasalawo nti Kaboggoza gwe baali bawawaabidde teyalina musango!

Oluvannyuma Nabaggala yakyusibwa n’azzibwa mu kkooti e Nakawa, kati ali Luweero!
W’osomera bino nga nnannyini ttaka, Kaloli Tabuta ali ku ndiri mu ddwaaliro e Mulago.

Agamba nti abaserikale ku poliisi y’e Kira baamukwata ne bamusibira mu kaduukulu kaabwe, ate ne bayingiza evvubuka eryamukuba agakonde ekiro kyonna! Akulira bambega ku poliisi eno, Frederick Wetaya yabyegaanyi!

Omuntu owookusatu afudde olw’ettaka ly’e Kira erikaayanirwa!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...