TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kiki ekitanudde abakyala okukola emirimu egyabanga egy'abasajja?

Kiki ekitanudde abakyala okukola emirimu egyabanga egy'abasajja?

Added 27th August 2015

ABAKAZI bangi bakola emirimu gye wali toyinza kugibalowooleza emyaka 10 egiyise! Bangi obasanga mu takisi nga bw’aba si ye ddereeva nga y’asolooza ssente; waliwo abatema ennyama n’abakola emirimu emirala mingi edda gye walowoozanga nti gya basajja. Moses Lemisa leero alondodde lwaki abakyala tebaky

ABAKAZI bangi bakola emirimu gye wali toyinza kugibalowooleza emyaka 10 egiyise! Bangi obasanga mu takisi nga bw’aba si ye ddereeva nga y’asolooza ssente; waliwo abatema ennyama n’abakola emirimu emirala mingi edda gye walowoozanga nti gya basajja. Moses Lemisa leero alondodde lwaki abakyala tebakyatya mirimu gyonna.

KIKI ekikyuse ne kikanga abakyala okutandika okukola emirimu edda egyabalibwa ng’egy’abasajja?

Edda abakyala baali bamanyiddwa kukola mirimu egitaliimu kukakaalukana nnyo. Nga tebasitula migugu kugenda mu butale, naye kati be basooka ku magulukkumi okugenda mu butale bw’omubuulo; bangi nga tebavuga mmotoka naye ensangi zino ne bodaboda bazivuga.

Waliwo omuzimu ogukutte abakyala ne batandika okweyisa mu ngeri edda gye wandirowoozezza nti teyeewa kitiibwa? Kyo ekitiibwa kirabikira mu mulimu omuntu gw’akola oba ky’aggyayo?

Nabuuma tatema nnyama aweneenya mbwa

MUKY. MATOVU  AVUGA BODABODA
Mercy Matovu 28, omutuuze w’e Muyenga MU Bukasa zooni muvuzi wa bodaboda nnamba UEG 530L:
Ndi mukyala mufumbo n'abaana bana, okuvuga bodaboda si mulimu gwa basajja bokka naye n'abakazi abamanyi nti balina okukola basobola okugivuga.

Mmaze omwaka gumu n'omusobyo nga nvugira ku siteegi ya Muyenga- Bukasa , pikipiki baagimpa ku bbanja nga kati mbuzaayo emyezi ena ngimaleyo. Buli mwezi nsasula emitwalo 25.

Bwee mba ngivuga ssambala mpale mpanvu, nvugira mu sikaati era ekikubiro (epulooni) ky'olaba nkiteekamu ssente.
Olunaku nkola 50,000/- ate ekirungi baze naye avuga bodaboda kale tusobola okuyambagana ne tuweerera abaana baffe. Obuzibu bwe nsaze mu mulimu guno, aba takisi bavuga bubi basobola okukokozesa akabenje .

Ssente bwe zimbula emisana nzira awaka ku ssaawa emu ey’akawungeezi ne nfumba ekyeggulo ku ssaawa 5 ez'ekiro ne nziramu okukola okutuuka ssaawa 8 ez'ekiro. Ebbanga lye mmaze mu pikipiki nfunyeemu kuba nnasobodde okugatta ssente ne ngulayo mmotoka naye nnagitadde ku sipensulo.

Baze Matovu omulimu tagulinaako mutawaana era twakkiriziganya nga ntandika okugukola, kale nsaasira abakazi abalinda okuweebwa abasajja n'ababbi nti ffe katukole balitusangayo.

NABUUMA OMUKINJAAGI
Haida Nabuuma 28, omutuuze w’e Kawempe Ttula alina omudaala gw’ennyama ku Kaleerwe eyitibwa MM Quality Butchery:
Omulimu gw’okutema ennyama nange mu kusooka nnali mmanyi gwa basajja naye embeera ekuleetera okukola omulimu gwonna kasita oba ng’oggyamu ssente.

Ennyama ngitemedde emyaka etaano, baze Luganda Kyeyune naye ankakasa mu kutema ennyama, ne bw’atambula anneesiga nti kye nkola nkitegeera.

Nnagezaako ku mirimu emirala ne gigaana. Nalundako ku nkoko n’okuzitundira mu katimba ne bigaana okutuusa ensonyi bwe nnaziteeka ku mabbali ne nsalawo okutema ennyama!

Guno omulembe gwa Museveni gutuyigirizza okukola, abasinga twali tusigala waka naye kati naffe tukeera ku makya kugenda kukola kale abakazi abalowoozza nti okutema ennyama mulimu gwa basajja bakyali mabega nnyo.
Ndi musanyufu nti baze nange bwe tukola tugasse era tulina ke tulagawo. Amaka tugazimbye babiri, tuweeredde abaana ate ne bizinensi egenda mu maaso.

LUGANDA BBA WA NABUUMA
Ono naye atema nnyama ku MM Qality Butchery esangibwa ku Kaleerwe: Mukyala wange okutema ennyama sikirinaamu buzibu. Ekisooka nze nnina omulimu omulala, kati bbuca y’agiddukanya era musasula ng’omukozi nange ne nneesasula. Omukazi bw’aba akola mbeera musanyufu kuba ne bwe ndwala bizinensi aba asobola okugiddukanya .

Mpozzi waliwo abasajja abajjirira ebibiri, okugula ennyama n’okumukwana naye ekirungi omukazi yenna ng’amanyi ky’ayagala n’okumanya gy’avudde ne bba ebiseera ebisinga omutima aguteeka ku bizinensi era owange nfuna obudde ne mmubuulirira. Mmwesiga era ndowooza ne bwe bamukwana tayinza kukkiriza.

Nze ntema mbizzi
Judith Atunhire 25, ow’e Manyagwa mu zooni A ku luguudo lw’e Gayaza mu Wakiso atema mbizzi. Alina ekifo kye ekya YESU AFAAYO PORK JOINT ky’addukanya era tajula:

Okutema embizzi nkumazeemu ebbanga era sijjulira kufuna mulimu mulala. Nnalina omusajja nga tulina abaana babiri ne tufunamu obutakkaanya ne twawukana, nnageezzaako okunoonya ku mirimu ne gimbula okutuusa bwe nnafuna ayagala okumukolera ku bucca y’embizzi omulimu ne ngumusaba.

Yasooka kuntunuulira n’ang’amba nti wali olabyeyo omukazi atema embizzi? Nnamuddamu nti simulabangako naye ka mbeere asoose!

Katonda mulungi kubanga omulimu yagumpa ne ntandika okukola, mukama wange olunaku ansasula 2000/- okudda waggulu. Ssente zino nsobola okuterekako. Buli kye njagala nsobola okukyetuusaako ssaako n’okulabirira abaana bange. Nsaba abakazi okukomya okusekerera bannaabwe abakola emirimu gy’olowooza nti gya basajja, tekiba kivve. Nze nsinga omubbi oba malaaya eyeetunda oba asabiriza sso ng’alina emikono n’amagulu.

 

‘Omukazi ataakole waakulya mu ppipa’

VICTORIA MBEKEKA, AKUBA BBULOOKA
Mbekeka 40, mutuuze w'e Manyagwa mu disituliki y'e Wakiso: Lwakuba osanze mmaze okupanga tanuulu yange, singa onsanze nkuba bbulooka wandyewuunyizza kuba mba nga musajja.

Nnina abaana mukaaga, bonna batunuulidde nze kati bwe sikola kiba kitegeeza nti tebajja kusoma na kulya. Omulimu gw'okukuba bbulooka ngumazeemu omwaka gumu.

Eno tanuulu erimu bbulooka 10,000, buli bbulooka eri ku 130/- kale nsuubira akakadde kamu n'emitwalo 30. Obuzibu bwe nsanga mu mulimu gwange eno e Manyangwa, amazzi bwe gabula ekidomola kiba ku 500/- kale nze kiba kinnyingiramu nnyo.

Enku ennaku zino baziseera, mmotoka tugigula 250,000/- naye mbigumira kuba omulimu ngwagala, omulimu guno nguguzeemu poloti n'ebintu ebirala bingi kale nsaba abakazi abalala baleme kwekubagiza, ebintu byakyuka dda kati emirimu egyali gikolebwa abasajja naffe tugyenyigiddemu ate ne tugikola n'okubasinga .

ABAANA BA MBEKEKA
Omu ku baana ba Mbekeka ataayagadde kumwasanguza yagambye, “Maama yatugamba nti alina okutusomesa okutuuka e Makerere. Kale omulimu gw’okukuba bbulooka naffe tumuyambako nga tuwummudde. Abamu ku baana be tusoma nabo batusekerera kyokka ffe tebitukwatako kuba maama atugamba nnyo teri muntu abeera bulungi nga tasoose kubonaabona.”


NASSANGA KONDAKITA WA TAKISI
Joyce Nassanga 28, omutuuze w’e Kalule mu Luweero akola bwakondakita ku mmotoka z’e Kampala –Luweero ne ku luguudo lwa Northern Bypass:

Omulimu gw'okukola obwakondakita nnaguyingira mu 20o5 oluvannyuma lw'okutuula awaka nga sirina kye nkola . Baze Sam Ssenyonga avuga takisi ku luguudo lwa Northern Bypass naye bakondakita baali bamutawanya n’asalawo tukole era n'okutuusa kati nsika kiggi.

Simanyi lwaki abakazi bangi tebaagala kukola kuba nze tulina abaana basatu naye tubasomesa ffembi. Tuzimbye amaka e Kalule, twagula takisi yaffe n'ekirala mu kusooka omusajja yang’ambanga nti ssente zibuze nga mmanyi alimba naye kati nange nkyerabirako era lwe zirabise tuzitemaatema ffembi.

Yadde omulimu guno ngwagala naye ebiseera ebisinga mpulira obuzibu okuyita abasaabaze naye mba sirina kyakola, kasita mba nkola ssente. Obuzibu obulala lisiiti ezitusabibwa ku buli siteegi zisusse obungi, buli w'oyimirira okuggyamu omuntu oba okutikka olina okusasula.
Ebiseera ebimu mmotoka lw’eba efudde nga sikoze nnina kawooteeri ewa Mambule ku siteegi ke nkolamu n’ezo ne tuzifuna.

 

Kiki ekitanudde abakyala okukola emirimu egyabanga egy’abasajja?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...