TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri abagezigezi gye bakozesezza okukyala kwa Paapa Francis okulya ssente ez'amangu mu batuuze e Kira

Engeri abagezigezi gye bakozesezza okukyala kwa Paapa Francis okulya ssente ez'amangu mu batuuze e Kira

Added 1st October 2015

EGGOMBOLOLA ya Kira eyasuumusiddwa gye buvuddeko okutuuka ku ddaala lya munisipaali yeetegekera okukyala kwa Paapa Francis mu November w’omwaka guno.

Kira Town Council yeetegekera okukyala kwa Paapa Francis mu November w’omwaka guno. Buli wamu wayooyootebwa naye KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze engeri abagezigezi gye bakozesezza okukyala kwa Paapa okulya ssente ez’amangu mu batuuze

EGGOMBOLOLA ya Kira eyasuumusiddwa gye buvuddeko okutuuka ku ddaala lya munisipaali yeetegekera okukyala kwa Paapa Francis mu November w’omwaka guno.

Wonna bayooyoota, bazimba enguudo n’emifulejje, wabula abatuuze basula ku tebuukye. Beeraliikirivu olw’abakwatisa amateeka okuva ku kitebe ky’eggombolola okuboonoonera ebyabwe nga babagobaganya nga beerimbise mu kikolwa ky’okuyonja ebyalo okwetegekera Paapa.

Bangi bagamba nti gye buvuddeko, baafuna obubaka okuva mu bassentebe b’ebyalo naddala mu muluka gw’e Kyaliwajjala nti baakugobwa bwe batagondera biragiro biggya eby’okuyooyoota ebitundu!

Nga September 15, 2015, Haji Yunus Kakande, omuwandiisi wa Pulezidenti ow'ekyama, yawandiikira KCCA ne Kira Town Council ekiwandiiko ng'abajjukiza okulongoosa ekibuga nga beetegekera okukyala kwa Paapa Francis.

Abatuuze b'e Kyaliwajjala beekalakasizza lwa Kkanso kubazimbisa bizimbe byabwe

Mu bbaluwa eno, yalambika nti kyamugaso nnyo Kira Town Council okusomesa abantu ku kibuga nga bwe bakyagala, n’oluvannyuma abalina ebizimbe mu kitundu balagirwe okusiiga ebizimbe byabwe langi n'okuteekawo ekintu ekiri ku mulembe we balina okuteeka kasasiro mu maaso g’ekizimbe.

Ng’ebbaluwa tennawandiikibwa, nga August 27, 2015, ateekerateekera Kira Town Council, Uthman Ssebadduka yawandiikira abantu abalina ebizimbe ebiri mu mbeera embi, omuli ebirina langi eddugala okulaba nga babirongoosa mangu. Yabawa ennaku 28 nga tebazzeemu kulabulwa era singa balemwa, byakumenyebwa.

Yaddamu n’abawandiika ebbaluwa endala ng’abajjukiza, wabula ku luno mu bbaluwa yawagikamu n’abalina obuyumba bwa kiyosiki n’ebiyumba ebirala ebitali mu mateeka wamu n'abakolera mu bifo ebitali mu luguudo, n’okuteeka peeva buli omu mu maaso g’ennyumba oba ekizimba kye okutuuka ku luguudo. Bino byalina kukolebwa mu nnaku musanvu zokka!

Charles Ssessanga, omutuuze w’e Namugongo yeemulugunya olw’okumugobaganya w’akolera.
“Kira Town Council yasooka n’eyisa ekiragiro nti twongezeeyo bizinensi zaffe obunene bwa mmita 15 okuva mu luguudo wakati.

Bizinensi twazimenya ne tuzongeza emabega kyokka kati yatuwadde ekiwandiiko nga September 23, 2015 nga batugamba bizinensi zonna eziri mu luggya lwaffe tuizimenyerewo ddala ate tuluteekemu peeva. Ku nfuna yaffe, okutuwa ennaku musanvu ate ng’otaddemu akakwakkulizo k’okutumenya liba ffugabbi,” Ssessanga bwe yagambye.

Cissy Nakanwagi, kansala omukyala atwala omuluka gwa Kyaliwajjala agamba nti ekitundu kya UNRA bakkaanya n’abatuuze ne bakivaamu, abantu ne beeyongerayo obugazi bwe baabagamba era UNRA n’ebeebaza.

Ettaka lya UNRA liva ku kkubo eriva e Kireka ne likkirira n’ekkubo ly’e Namugongo okuituuka e Seeta n’okweyongerayo. Lino eridda e Kira okuva e Kyaliwajjala lyava mu bibanja by’abantu kutegeeragana.


Poliisi ng'ezikiriza omuliro abatuuze be Kyaliwajjala gwe baakumye mu kwekalakaasa

Twagamba Town Clerk Sebadduka ayogere n’abantu nga boogera ku ky’okusengula akatale k’e Kyaliwajjala abakkirizise, n’alemwa ng’atya kubanga yasindika abaami be ab’emiruka ne babaggyangako empooza okuva ku 10,000/- ne 30,000/- okumala emyaka ebiri miramba.

Ssente babadde bazisasula okusinziira ku buli omu ky’akola. Kino kyakoma mu April w’omwaka oguwedde, kati batya okunnyonnyola abantu be baggyangako empooza nti balina okumenya bizinensi zaabwe,” kansala Nakanwagi bwe yagambye.

Agamba nti akatale k’e Kyaliwajjala kabadde mu bajeti za kanso zonna.

“Okusooka twali tusazeewo akatale kafunirwe ettaka era ne tusaba Namasole eyafa Rebecca ettaka lya bukadde 135 nga lya yiika bbiri n’akkiriza era ne kiyisibwa mu kanso naye tekyakolebwa okutuusa lwe yafa.

‘Mulina okusiiga langi n’okukola peeva – Kanso
ABATUUZE batandise okuzimba obutale obwabwe era Kira Town Council buno bw’eyagala okufuula omugano esengule abantu badde emwo yo efunemu ssente eziwera.

Ekitundu mwe baagala okusengulira akatale mu Kimbejja, kifo kyakusulwamu era tuli mu bweraliikirivu nti bajja kutaataaganyizibwa. We bagamba okussa peevumenti ttaka lya UNRA we yasengula edda abantu, yo UNRA tesobola kubyekolerako?,” kansala Nakanwagi bwe yabuuzizza.

Samuel Kabinga, ayagala okwesimbawo ku bwakansala bwa LC5 mu Namugongo divizoni, yagambye nti abantu tebabawadde budde bumala kwetereeza ate nga tebasomeseddwa ku kigenda mu maaso mu ggwanga ng’ebbaluwa eyava mu ofiisi ya Pulezidenti bw’ennyonnyola.
Richard Kiyengo, kansala akiikirira omuluka gw’e Kirinnya ku ggombolola e Kira, yagambye nti eby’okugobaganya abantu bbo tebaabiteesangako mu kanso era ababikola babikola ku lwabwe.

Town Clerk wa Kira, Uthman Ssebadduka yagambye: Abantu babeere bakkakkamu kubanga ebiragiro byavudde waggulu nga birina okugonderwa. Kye tukola kiri mu mateeka naye omuwabuzi wa Pulezidenti abeera mu kitundu kyaffe, Muky. Resty Nakayenga Kiguli y’agenda awubisa abantu nti tebavaawo ate ng’ekiragiro era kyavudde mu ofiisi ya Pulezidenti okulongoosa n’okunyiriza ekibuga olw’okujja kwa Paapa.

Fr. Joseph Mukasa Muwonge, akwanaganya ensonga z’Abajulizi mu ssaza ekkulu erya Kampala yategeezezza nti bali mu ssanyu era beesunga Paapa Francis nti era w’anaatuukira omwezi ogujja nga Namugongo yenna amaze okuyooyootebwa.

Ebigenda okukolwako, kwe kuli okusengula akatale k’e Kyaliwajjala kubanga kali mu kkubo; okukaka abantu okusiiga langi ebizimbe byabwe ebiddugala, n’okuteeka peeva mu maaso g’amayumba gaabwe, okuggya obuyumba obwa kiyosiki ku makubo, n’okugaana abantu okukolera ku makubo ebintu ebikyafuwaza ekibuga ng’okwokerako kasooli, cipusi, capati n’embizzi!

Omutuuze Paul Bukenya agamba nti Kira Town Council tabayambye kubanga Gavumenti yabawa ssente ez’okukulaakulanya ekitundu obukadde 800 baweereko n’embalirira kyokka kati abakulembeze bakaka abantu okussa peeva mu nzigya zaabwe awagtali kuyambibwako.

Moses Kayondo, ssentebe w’akatale k’e Kyaliwajjala akagenda okusengulwa agamba nti kaliko ffuuti 100 ku 100, nga mulimu abasuubuzi 210.

“Kanso yampadde ebbaluwa okuggyawo akatale kano sso ng’ettaka lyange. Bangoba ng’ate nnina pulaani okukazimba okusimbawo. Waliwo n’akatale k’engoye mu luguudo wakati ko tebannakagobawo ekitegeeza nti mulimu ebyobufuzi,” Kayondo bwe yagambye.

Ateekerateekera ekibuga kya Kira, Geoffrey Kato yategeezezza nti okuva Gavumenti lwe yafuula Namugongo ekifo eky’obulambuzi baabawa amabaluwa beetereeze.

“Olw’omugenyi ow’ekitiibwa gwe tugenda okukyaza mu kitundu tulina okuteeka ekifo ku mulembe era y’enkulaakulana okujja mu kitundu,” bwe yagambye.

Wabula Resty Kiguli, omuwabuzi wa Pulezidenti kino yakiwakanyizza n’agamba nti emitendera kanso gy’eyiseemu si mituufu, yandisoose kusomesa bantu ku kye baagala sso si kuyisa bizindaalo nga balangirira.

RDC wa Kasangati, Hagira Namagogo yabagumizza nti tewali agenda kugobwa kubanga Gavumenti yawa abantu eddembe ly’okwekolera.

Yategeezezza nti abatuuze bamulaze lisiiti kwe basasulira emisolo ku kanso n’agamba nti kitegeeza nti bamanyiddwa era talaba nsonga lwaki basengulwa kubanga n’omwavu abeera n’awawe.

Engeri abagezigezi gye bakozesezza okukyala kwa Paapa Francis okulya ssente ez’amangu mu batuuze e Kira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...