TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Makanga eyafiira mu loogi e Kyengera, ssente obukadde 70 ze yali nazo ani yazitwala!

Makanga eyafiira mu loogi e Kyengera, ssente obukadde 70 ze yali nazo ani yazitwala!

Added 14th July 2016

WAYISE wiiki bbiri bukya musuubuzi wa mmotoka mu Ndeeba afiira mu loogi ya Kyengera Resort naye bingi ku nfa ye na buli kati bikyatankanibwa. Yasin Makanga 34, yafa mu kiro ekyakeesa ku Ssande nga 3/07/2016.

 Omugenzi Makanga

Omugenzi Makanga

WAYISE wiiki bbiri bukya musuubuzi wa mmotoka mu Ndeeba afiira mu loogi ya Kyengera Resort naye bingi ku nfa ye na buli kati bikyatankanibwa. Yasin Makanga 34, yafa mu kiro ekyakeesa ku Ssande nga 3/07/2016.

Poliisi egamba nti baategeezebwa ku kufa kwa Makanga ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ku Ssande eyo, naye nnamwandu Florence Nambi yeebuuza nti bba bw’aba yafa kiro, loogi eyo abakozi tebakeera kuyonja busenge?

Bwe kiba nti babuyonja, lwaki bwe baakonkona okuyonja, ne balaba nga teri kanyego tebaliiko kye baakolawo?

Wadde Poliisi okuli ey’e Nkokonjeru eriraanye ekifo kino, Kyengera n’ey’e Nsangi zaamanya ku kufa kwa Makanga, n’essaawa ya leero teri muntu n'omu yali akwatiddwa.

Nnamwandu Nambi ow'abaana ababiri okuli ne bbebi ow'omwezi ogumu agamba: Ku Lwomukaaga nga 2/07/2016, baze yasimbula mmotoka ye ekika kya Progress UAS 141L mu maka gaffe e Namagoma ku ssaawa 9 ez’olweggulo.

Yantegeeza nti agenda ku mulimu wabula yali waakusooka wa nnyina Betty Kigongo e Kitemu naye saamanya kimutwala wa maama.

 

Bwe zaawera 2:00 ez’ekiro, namukubira ku ssiimu n’angamba nti akomawo eka. Nze olwamala okulya ekyeggulo ne nneebaka, nasisimuka ku ssaawa nga 9:00 ogw’ekiro nga tannadda!

Kwe kuddamu okukuba ku ssimu ye n’agikwata era n’angamba nti ajja kudda nkya.

Kyokka ekyandeetera okweraliikirira kwe kukuba ku ssimu ye ku ssaawa 5:00 ez'oku makya ng’evuga naye nga tewali agikwata, ate nagiddingana enfunda eziwera.

Ku ssaawa 9:00 akawungeezi ku Ssande, nafuna essimu nga mbuuzibwa oba mmanyi Paul Yiga? Eyakuba teyanneeyanjulira, nange era namuddamu nti simumanyi.

Olwo n’ambuuza nti omwami avuga emmotoka UAS 141L omumanyi era omuyita otya? Namuddamu nti simumanyi olw’okutya, wabula eyakuba n’angamba nti ‘nnyamba ongambire mukyala we bw’oba omumanyi nti omuntu avuga mmotoka eyo afudde omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ate emmotoka eri ku poliisi y’e Nsangi.

’Nayagala okukasa oba ddala emmotoka e Nsangi gy’eri, kwe kufuna bodaboda ne ntuukayo wabula ssaagisangayo era ne nzira eka. Wabula mba sinnatuka waka ne ndaba abaserikale babiri, omwami n'omukyala nga bali ne balirwana bange omutima ne guntyemuka.

Omukyala ky’ava ankwatako n’angamba nti ‘mukyala munange guma, naye balo afudde!’

Ekyebuuzibwa y’engeri gye baategeera eka nga sibalagiridde, ate nga n’erinnya lya baze baali bamuyitamu Yiga mu kifo kya Makanga!

Betty Kigongo Ono ye maama w’omugenzi era agamba bwati: Nayawukana ne mutabani wange nga ku ssaawa 10:00 ku Lwomukaaga. Nali mmuwadde obukadde 70 agende agule Fuso era n’asimbula ng’angambye nti agenze kugisasula.”

Wabula Patrick Lule, omu ku baserikale abaasooka ku Kyengera Resort awaafiira Makanga agamba nti Muky. Kigongo aleete obukakafu nti ddala ssente ezo yaziwa mutabani we olwo nabo banoonyereze.

Kyokka Muky. Kigongo yagambye nti obukakafu abulina, kuba ssente ezo yaziggya mu bbanka.

Muganda w'omugenzi, Barrack Birungi agamba nti okufa kwa muganda we yakumanya ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi.

“Nakwatagana n'abooluganda ne tugenda ku poliisi ye Kyengera gye twasanga omuserikale gwe eyantegeeza nga bwe baategeezebwa bannannyini kifo nti waliwo omuntu eyali afiiridde mu kifo kyabwe era naffe ne tugenda okuggyayo omulambo okugutwala e Mulago.

Wabula yatugamba nti yadde bo baategeezebwa ku sssaawa 9:00 wabula omuntu alabika yali yafudde dda. Twatuuka e Mulago ku ssaawa 2:30 ez’ekiro kyokka omukozi gwe twasanga ku ggwanika bwe twamuwa akapapula okwali amannya poliisi ke yali etuwadde, yaleeta mulambo gwa muntu eyali afudde akabenje ate nga si waffe.

Baali bamukubirakubira amasimu, era yatugaana okuyingira mu ggwanika okwenoonyeza omuntu waffe.

Twalaba omulambo gubuze kwe kuddayo ku poliisi e Kyengera ne tusaba omuntu waffe. Twabuulirako akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku kitebe e Katwe eyakubira abaserikale b’e Kyengera olwo kwe kwennyula ne batuwandiikira akapapula akalala akaliko amannya amatuufu ag'omuntu waffe.

Era ku mulundi guno baatukkiriza okuyingira mu ggwanika ne batulaga omulambo gw'omuntu waffe kyokka ekyatumala amaanyi omugenzi teyali mu ngoye ate ng’alina enkwagulo mu bulago!

Yali avaamu omusaayi mungi nnyo ekyatulowoozesa nti omuntu waffe kyandiba nga yatugibwa.

Enkeera bwe twagenda mu kifo omuntu waffe we yafiira baatusibira wabweru wa geeti! Lipooti y’abasawo n'okutuusa essaawa ya leero tetugifunanga, ssente ezaaweebwa omugenzi tewali azoogerako.

Omugagga Mubiru, nnannyini kifo Makanga we yafiiridde yagambye nti ensonga ziri ku poliisi gye tuba tuggya ebisingawo n’avuga mmotoka ye ne yeggyawo.

Poliisi ennyonnyodde Henry Kisubi, aduumira poliisi y’e Nsangi yagambye nti bakyanoonyereza n'oluvannyuma balyoke babuulire abooluganda lw'omugenzi ekituufu ekyavaako omuntu waabwe okufa.

Wabula ye Macrine Ayimbi, akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kyengera yateegezezza nti bagenda mu maaso n'okunoonyereza kwabwe nga bwe balinda lipoota y’abasawo kyokka tebamanyi kiseera w’eneefulumira.

Naye lipoota eyajjira ku mulambo gwa Makanga nga guva e Mulago, eriko omukono gwa Dr. Male yalaga nti enfa ye tennamanyibwa! Ani alimba era lwaki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....