TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Omulambo ne gumala omwezi mulamba kungulu nga maama ne muwala we bakaayanira ssente!

Omulambo ne gumala omwezi mulamba kungulu nga maama ne muwala we bakaayanira ssente!

Added 22nd September 2017

Mary Bwogi, kakuyege wa NRM yafiirwa mutabani we omukulu omwezi oguwedde. Wabula tannamuziika kuba ali mu kkooti ne muwala we Nakimera bwe bakaayanira omulambo.

Muky. Bwogi kati akuumibwa bapoliisi.

Muky. Bwogi kati akuumibwa bapoliisi.

Mary Bwogi, kakuyege wa NRM yafiirwa mutabani we  omukulu omwezi oguwedde. Wabula tannamuziika  kuba ali mu kkooti ne muwala we Nakimera bwe  bakaayanira omulambo.

Kalondoozi wa Bukedde alaze  katemba ali mu kkooti.     

OMULAMBO gwa Tucker  Kalibbala Bisiba Bwogi (51)  gumaze ku nsi kumpi mwezi  mulamba nga nnyina ne  mwannyina w’omugenzi  bagulwanira! 

Buli omu ayagala y’aba  agutambuza agukomyewo  mu Uganda okuguziika!  Bwogi mutabani wa  Mary Bwogi n’omugenzi  Hannington James Bwogi  eyaliko dayirekita wa UTV  kati eyitibwa UBC.

Yattibwa  ku mulembe gwa Idi Amin  mu October wa 1972 era  n’omulambo gwe tegulabikanga.  Ye mutabani we Kalibbala  Bwogi yafiiridde e  Bungereza nga August 25  , 2017. 

Dr. Kalibbala eyali ssezaala wa Mary Bwogi, Omugenzi Hannington James Bwogi.

 

 

Nnamwandu Bwogi  agamba nti bba yamulekera  abaana bana, ng’omukulu  Harriet Wanyana yalina  emyaka 9. 

Kalibbala Bwogi yalina  7, Everlyn Nakimera yali  w’esatu ate asembaayo  obuto Paul Balintuma Bwogi  nga wa myezi ena .

  “Wabula ssezaala wange  Dr. Ernest Kalibbala Balintuma  yali akyaliwo era  yankwatirako kuba nali  nkyali muwala muto. Ono  yafa mu December wa  1980,” bw’ajjukira. 

Muwala we Nakimera  kati ye muk’omubakaa  Amos Lugoloobi (Ntenjeru  North) era ssentebe  w’akakiiko akakola ku bajeti  mu Palamenti  E Bungereza, nnamwandu  wa Kalibbala, ayitibwa  Jennifer Bwogi essuubi  alirina mu bafamire, basonde  ssente ezikomyawo  omwagalwa we ku butaka  bamuziike, naye n’eno e  Uganda si birungi! 

Wabaluseewo  okusika omuguwa, maama  w’omugenzi Muky. Bwogi ne muwala we Nakimera (49)  buli omu agamba nti y’alina  obuvunaanyizibwa okukola  ku kuziika Kalibbala. 

Mary Bwogi  Eby’okukomyawo omwana  wange birabika bikalubye  naye ate sisobola kukkiriza  mulambo gwe kugwokya  bampeereze vvu. 

Waliwo amakubo ge  nsobola okufunamu ssente  ezikomyawo omulambo naye  muwala wange ne kkooti  z’omu Uganda bannemesezza. 

Omukisa nasoose kuguwa  muwala wange Nakimera,  eyagamba nti alina obusobozi  obukomyawo mwannyina,  kyokka buli kiseera ayongezaayo.

  Nze kwe kwekubira  enduulu mu Kkooti e Mpigi,  ew’omulamuzi Wilson Musene  Masalu nga mmusaba  okumpa olukusa ku ssente  obukadde 68, ab’ekitongole  ky’ebyenguudo (UNRA) ze  balina okutuliyirira mu ttaka  lyaffe kwe bagenda okuyisa  oluguudo e Kayenje okumpi  ne Gombe, bampeeko omugabo  gwange nzize omulambo  naye birabika bikalubye. 

Ekinnuma abaana  bonna bakkirizza mpeebwe  omugabo gwange, kyokka  Nakimera afuuse ekyambika!  Biba bigenda okuyitamu,  Nakimera n’ampa-waabira  nti nnemedde ebyobugagga  bya kitaabwe! 

Yannumirizza n’eyali  kaminsona mu by’ettaka,  Sarah Kulata nti twakozesa  olukujjukujju ne tujingirira  omukono gwe (Nakimera) ne  tukyusa ebyapa ne bidda mu  mannya gange Mary Bwogi!” 

Ekitongole kya UNRA  kyasalawo ssente okuzikwasa  kkooti kubanga Nakimera  awakanya nnyina nti talina  kugabana ku byabugagga  bya byalekebwawo kitaawe  ne jjajjaawe Balintuma. 

Harriet Wanyana, ssengaawe Nakimera gw’agobaganya nti si wa kika kyabwe.

 

MU KKOOTI 

Ku Lwokubiri lwa wiiki  ewedde nga September 12,  Muky. Bwogi ne famire ye  baabadde mu kkoti.

Muky.  Bwogi yategeezezza Omulamuzi  Musene nga bw’alina  obuzibu bw’okukomyawo  omulambo gw’omwana we. 

Kyokka omulamuzi  yagambye nti alina kusooka  kukakasa oba bonna aba  famire abaabaddewo  balina okufuna ku ssente  z’oluguudo. 

Nakimera yawanise mangu  omukono n’ategeeza Kkooti  nga bwe watali kikyabanja  kubanga eby’okukola ku  ntambuza z’omulambo  yabadde amaze okubikolako.

  “Ttikiti n’ebiwandiiko  byonna ebituusa kuno  omulambo nabimalirizza era  ssebo omulamuzi, tewali kikyabanja.  Maama talina kukwata  ku ssente zino kubanga  ziriko obukwakkulizo, bw’aba  ayagala agende yeewole,”  Nakimera bwe yagambye. 

Kyokka Muky. Bwogi  yaleese akatambi ke yabadde  akutte eggulolimu, omulamujzi  n’akawuliriza nga  muganda wa Nakimera  ayitibwa Olive ayogera ku  mbeera n’engeri gye babonaabonamu  n’omulambo e  Bungereza awatali ntambula . 

Mu katambi, Olive yalaze  nti Nakimera yabadde amaze  okukola ku ntambula ya  bamulekwa ba Kalibbala,  wabula obuzibu buli mu  kutambuza mulambo kuba  emikolo gyakutwala ssente  nnyingi.

  Akatambi kaalaze nti  omulambo bwe guggyibwa  mu firiigi, gulina okusabirwa,  kyokka Faaza agenda  okusoma emmisa asasuza  buli ssaawa.

Baasazeewo  Faaza asome mmisa okumala  eddakiika 45. Akatambi kalaga  nti Nakimera talina kye  yaakozeewo, beeetaaga obukadde  12 okukola ku nsonga zonna. Ku zino obukadde  mwenda zaakutambuza  mulambo ku nnyonyi. 

Omu ku baami eyalaze  nti mukwano gw’omugenzi  eyabadde mu katambi  yategeezezza ng’ebintu  by’okufiirwa e Bulaya bwe  bitali byangu kubanga buli  kimu kyakusasulira. 

Yategeezeza nti mukwano  gwabwe yafudde kyokka  balina obuzibu kubanga  balina okukola, tebasobola  kuva ku mulimu ne badda  mu by’okungubaga. 

Muky. Bwogi yagambye  nti bwe binaagaana, ensonga  ajja kuzitwala wa Pulezidenti  Museveni ne Sipiika wa Palamenti  awawaabire mukoddomi  we, omubaka Amos  Lugoloobi nti y’ayingiridde  ensonga z’amaka ge  n’okuwaga mukazi we Nakimera  ssaako n’okumuvuma  n’amuweebuula.

OMULAMUZI musene 

Bwe yamaze okuwuliriza,  omulamuzi yasabye Nakimera  alage ddi lw’ayinza okutuukiriza  ekisuubizo ky’okuzza  omulambo gwa mwannyina.

Nakimera yasabye aweebwe  ennaku 10 okuzza omulambo  eziggwaako enkya Lwokutaano.  Yagambye nti nnyina  alina abanene mu Gavumenti  abajja okumukubagiza kale  ng’alina okubategekera. 

Ekyewuunyisa maama ne  muwala we buli omu akumye  olumbe lulwe! Nakimera  olumbe lwa mwannyina  alukumye Makindye mu  maka ge, ate maama olumbe  alukumye Nakulabye mu  maka g’omufu Kalibbala mu  Ssenkatuuka zooni! 

Evelyn Nakimera bwe bakaayana ne nnyina.

NAKIMERA 

Nze ndi mwetegefu  okukola ku byentambuza  y’omulambo.

Era olumbe lwa  mwannyinaze nja kulukola  ndumalirize bulungi. Maama  alina emisango gy’okujingirira  omukono gwange n’atwala  ebyobugagga byaffe.  Ssente za UNRA zirina kugenda  butereevu ku akawunti  y’omuntu ekyapa ky’ettaka  mwe kiri, kale tebazikwatako  tumale okuwoza. 

Maama agende yewole  ssente bwaba ayagala okukola  olumbe alifuna ssente  n’azizzaawo . 

Maama tanjagala kubeera  mu lumbe lwa mwannyinaze  era yankubiddeyo.

Bantaddeko  ne poliisi enkwate  ssinga nininnyayo.”  Kyokka omulamuzi Musene  yagambye nti maama ne  muwala we Nakimera bakwatibwako  ku muntu eyafudde. 

Yawadde Nakimera  obudde akole ku nsonga  z’okukomyawo omulambo  baleme kusaba kkooti kuwa  Muky. Bwogi mugabo ku  ssente z’oluguudo!  Wabula Muky. Bwogi kino  kyamuggye mu mbeera  n’alangira omulamuzi okwekubiira.  Omulamuzi oluvannyuma  yakkirizza Muky. Bwogi  aweebweyo obukadde buna  ku munaana ze yabadde  asabye atambuze olumbe  n’okutegekera abantu be  engeri Nakimera gye yabadde  yeeyamye okutambuza omulambo  gwa mwannyina. 

Wabula kino Nakimera  yakiwakanyizza n’akalambira  nti ssente z’oluguudo  tezikwatibwako.

Looya wa  Nakimera, Nicholas Walyema  Mwasane oluvannyuma yamatizza  omulamuzi bawe Muky.  Bwogi obukadde buna okuva  mu nsawo ya Nakimera era  ekyakoleddwa. 

Oluvannyuma bakkaanyizza  Nakimera akole  ku by’okuziika, anoonye 9,000,000/- ez’okutambuza  omulambo, okuba n’ebbeetu  okwetaayiza mu kuziika  mwannyina n’okumenyawo  ekya poliisi okumukwata. 

Kyokka Muky. Bwogi oluvannyuma  yagambye nti yassizza  omukono ku biwandiiko  by’ataategedde! 

BYATANDIKA BITYA?

  Muky. Bwogi yafumbiriganwa  ne bba Hannington James  Bwogi mu 1963 ne bazaala  abaana bana. Baabeeranga  Mbuya okutuusa Bwogi lwe  yabuzibwawo. 

 

Amaka ga Tucker Kalibbala e Nakulabye nga bwe gafaanana.

 

Muky. Bwogi agamba: 

Abaana bange nabakuza bulungi  era nabasomesa. Okuggyako  Nakimera antawaanyizza,  yadduka mu ssomero e Katikamu  n’alekayo fiizi n’agenda  n’omujaasi eyamuwasa  n’amuzaalamu, naye bibadde  bitambula bulungi.  Bwe baakula, abaana nabalaga  ebyobugagga byabwe. 

Nakimera ne Balintuma  nasalawo okubawa obukulu  okuddukanya ebyobugagga  bya jjajjaabwe Kalibbala.  Tucker ye yasikira kitaawe,  saamanya nti kye nakola mu  bulungi kigenda okunfuukira  ekizibu.

Ebyobugagga ebyange  Ssezaala yabinkwasa ne baze  tannafa era n’atukwasa ebyapa  by’ettaka musanvu okuli  ery’e Ntebe yiika196, Kayenje  –Mpigi lya Mayiro emu,  Luweero Mayiro emu, Mityana  Mayiro emu, Mutundwe yiika  emu n’e Nakulabye yiika emu.  Era abaana nzize mbagabira.  Naye Nakimera andeebuukanyizza  mu kko

oti, tulina  emisango kumpi buli kkooti .  Nsaasaanyizza ssente mu bintu  ebitaliimu ezandibadde zikola  ebirala.  Abalamuzi bangi bakoze  ku misango gyaffe bagikooye.

  Nakimera alina ssente  kubanga abadde atunda ettaka  nga bw’ayagala kyokka  tayagala banne batunde. 

Tayagala baana ba baganda  be abaafa bagabane kyokka  nga kibakakatako mu mateela  okufuna.  Nakimera yansibisaako  n’e Luzira lwa byabugagga  bino. Antambuzza mu Kkooti  ez’enjawulo omuli emisango  13 ng’agamba nabba ettaka  lyabwe.

Ebyapa byange byonna  agenda abiteekako envumbo,  sikyalina bwekyusizo. Kati ensonga azitaddemu  ne bba Lugoloobi, obwedda  y’awa ebiragiro Kkooti ereme  kumpa ssente. Yanvumye nga  bwe saasoma era nve ku bintu  by’abaana bye neesibako. 

Lugoloobi ye yasooka  okweteekawo ng’alaga  bw’agenda okukola ku  nsonga z’okuleeta omulambo  gw’omwana wange.  Bwe yagenda e Bungereza, yategeeza nnamwandu  wa Kalibbala nti ssente  z’okutambuza omulambo,  obukadde omwenda  waakuzibawola!  Omusango ogusembyeyo  nga mpawaabira  Nakimera fayiro GF  777/2017.

Guli Kibuli,  naddukira mu ofiisi  y’ebyettaka oluvannyuma  eyannyunga ku ofiisi  ekola ku kunoonyereza  ku misangeyanyunga ku  offisi ekola ku kunoonyereza  ku misango. Era  bampadde omuserikale  ankuume sikulwa omwana  ankola ekintu!”  Cissy Mudhasi,  omumyuka w’omuwaabi  wa kkooti e Mpigi  yasabye aba famire eno  bawabule maama ne  muwala we.

Yabanjulidde  ssente ezikaayanirwa  n’agamba nti agenda  kuzikuuma okutuusa  nga batuuse ku kukkaanya. 

 

OMUBAKA LUGOLOOBI 

Bwe namubuuzizza  lwaki atulugunya  omukadde yagambye:  Maama abadde tayagala  mutabani we Tucker nga  mulamu, kati afudde  ayagala mulambo?  Tayagala muntu yenna  ayingira mu nsonga  z’okulwanirira Nakimera. 

Ettaka maama  ly’alwanira lya baana,  ebyobugagga bino  tebimukwattako wabula  bya baana be . 

Nze neddira Nvuma,  siri wa Nseenene naye  nvaayo kulwanirira  ddembe lya baana. Kati  mutabani we yafudde  naye yasimbye dda  amakanda nti ennyumba  eno agenda kugyezza  kubanga Tucker yagenda  okugifuna yagisikira nga  yali ya bba Bwogi! 

Ekirungi maama aliko  ekiwandiiko bakuntumye,  ssaawa yonna  agenda kukwattibwa  atwalibwe mu kkooti ya  Buganda Road, awoze  emisango gy’ettaka.  Maama yalina amaka  ge yafuna era ettaka ly’e  Nakulabye n’aligabanya  abaana basatu okuli  Nakimera , Balintuma  ne Tucker .

Kati Tucker  abadde akolagana ne  Nakimera era gw’abadde  yakwasa obuvunaanyizibwa  ku byobugagga  bwe mu Uganda. Kati  maama ayagala kugyezza  nga Nakimera abadde  agiyonja bulungi! 

Oyo maama  yandibadde talwanira  bya Nseenene kubanga  yafumbirwa awalala.  Tucker bw’abadde ajja  mu ggwanga abadde  asula wange era Nakimera  abadde amwagala.”

  Kyokka Muky. Bwogi  agamba nti mutabani we  afudde alaajana akomezebwewo  mu Uganda,  kubanga abasawo baali  baamuwa emyezi ebiri  okufa, naye Nakimera  y’amubuzaabuzizza  okutuusa lw’afudde! 

Bw’oba olina ky’omanyi  ku nsonga zino, oba ekirala  kyonna ky’oyagala  tunoonyerezeeko  weereza obubaka ku  0752628931.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...