
Omusumba Muwanguzi
MU Kalondoozi eyafulumira mu nga October 19, 2016, twakulaga engeri poliisi gye yakwata omusumba, Johnson Kato Muwanguzi ow’ekkanisa ya Graceland Church esangibwa mu zooni ya Nabunnya e Lubaga.
Muwanguzi yasangibwa n’emmundu ez’ebika eby’enjawulo n’amasasi agasukka mu 100 ebigambibwa nti yali abirina mu bumenyi bw’amateeka.
Leero tukuleetedde engeri omusango guno gye gutambulamu ne batuuka n’okuggya Muwanguzi ku fayiro mu ngeri etetegeerekeka so nga emmundu zaali mu mannya ge!
Alipoota eyakolebwa D/SP Herbert Wanyoto, akola ng’omumyuka wa Dayirekita w’ekitongole ekinoonyereza ku misango egy’amaanyi ennyonnyola bino;
August 12, 2016, aba Special Investigation Division (SID) e Kireka, baafuna amawulire nti, Patel Narinder, akulira Ssissa Club Ltd, nga mutuuze ow’e Nakigalala- Kajjansi ekisangibwa ku luguudo lw’e Ntebe mu Wakiso, nti mu bukyamu yafuna emmundu bbaasitoola nnamba S/No. UG.IND AKP 194018373 n’amasasi ana (4).
Kigambibwa nti bbaasitoola eyogerwako waggulu, yazuulibwa Magidu Odour Kiisa n’agiwa Col. Abimanya, akulira bambega mu ggye erikuuma pulezidenti erya Special Force Command (SFC) ono ye yagikwasa poliisi.
Bino okubaawo, Magidu yasooka kulya mu banne olukwe okwali Abdul Malik Omukurat ne Vincent Dukunda bwe baali bagenze ku misoni y’okubba ssente ku ssundiro ly’amafuta ne supamaketi eby’omuyindi Patel (atali oyo ayogerwako waggulu) esangibwa e Kitgum.
Nga tebannagenda kubba, Magidu yakyusa ekirowoozo n’asalawo kubba mmundu.
Kirowoozebwa nti olw’okuba yali yaakayimbulwa mu kkomera ku misango gy’obubbi yatya okuddamu okukwatibwa okuzzibwayo mu kkomera.
Babiri baali baasisinkanako mu kkomera e Kigo ku misango egy’enjawulo, Malik yali avunaanibwa kulya mu nsi lukwe ate Magidu ng’ali ku gwa bubbi.
POLIISI ETANDIKA OGWAYO
Poliisi ng’emaze okufuna bbaasitoola okuva ewa Col. Abimanya, baggulawo omusango gw’okubeera n’emmundu mu bukyamu ku fayiro nnamba SD GEF 126/2016, ne 132/2016.
Poliisi yagenda mu maaso n’okunoonyereza okukkakkana ng’ekutte abantu ab’enjawulo okuli Patel Narinder, Omusumba Johnson Kato Muwanguzi, Abdu Malik Omukurat, Vincent Dukunda, Alex Sentare, Moses Harman Otanga ne Richard Okalebo.
Ng’emaze okukwata abantu abo, yagenda n’eyaza amaka ga Narinder n’ebifo eby’enjawulo gy’akolera emirimu ne basangayo emmundu 11 ne bbaasitoola emu.
Wabula oluvannyuma kyazuulwa nga ku zino ttaano teyazirinaako biwandiiko era ng’azirina mu bukyamu.
Emmundu ze baalina
- one shotgun S/ No.11085,
- BRNOP-Arms 3006 rifle S/no 01957,
- BAIKAL 20 gauge shot gun S/No ZH-18EM-M,
- MIROKU 12 gauge shot gun S/No 51421 NP,
- MIROKU 12 gauge shot gun S/ No 39314NP,
- Remington model 1100N786335V (Shot gun),
- BENELLI –pump Action S/No V051911,
- MIROKU 12 gauge shot gun S/ No 44856 NN,
- BROWNING 12 gauge shot gun S/No 469442 MM,
- GEFAR 12 gauge shot gun S/No 111442,
- TAURUS MIAMI PISTOL (Brazil) S/No NB 65463,
- Endala (shot gun) S/no 132973.
Omusumba Muwanguzi teyasooka kukwatibwa, wabula abalala be baasooka okukwata be baayogera nti naye alina emmundu ate n’ezo ze baali basanze azirinako akakwate.
Poliisi oluvannyuma yakwata Muwanguzi era n’ekizuula nti yalina emmundu ssatu okuli SR S/No.UG. IND.112121 01552 ne Pump Action S/ no UG.IND2538 01551 kuno gattako amasasi gaazo 32, n’emmundu ya Short gun eno yaliko amasasi 195.
Era yasangibwa n’amasasi ga baasitoola 3 kyokka bbaasitoola nga teriiko.
BAVUNAANA MUWANGUZI
Alipoota eraga nti, January 24, 2017, Muwanguzi yalabika mu kkooti n’avunaanibwa omusango gw’okubeera n’emmundu n’amasasi mu bukyamu.
Omusango yagukkiiriza era ne bamusalira ekibonero eky’okukola omulimu gw’okulongoosa ku ofiisi za Ssaabawaabi wa gavumenti okumala ekiseera!
Mu mbeera eno, Jane Okuo, omwogezi wa ofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti yagambye nti ssinga omuntu asangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu okugeza nga guluneedi, bbomu, emmundu, ebisosonkole by’amasasi, amasasi, obutwa bw’amazzi, omukka gw’obusagwa n’ekintu ekirala ekiyinza okukozesebwa mu lutalo nga kyabulabe eri obulamu bw’omuntu aba amenye ssemateeka.
Era asibibwa butasukka myaka etaano oba okuwa engassi etasukka mitwalo 5 oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
KKOOTI
Ku kkooti e Makindye nayogeddeko n’omulamuzi, Fortunate Nyipir ali mu musango guno n’antegeeza nti guli ku fayiro nnamba MAK/00/CR/1625/16.
Newankubadde nga alipoota ya poliisi ekulaga abantu musanvu abavunaanibwa emisango gy’okusangibwa n’emmundu, n’amasasi n’ebirala, naye, ekiwandiiko okuva ew’omuwaabi wa gavumenti (RSA) okuwandiikiddwa emisango egivunaanibwa abawawaabirwa nga kibasindika okugenda mu kkooti kiriko abantu bataano bokka.
Oba olyawo eyo teyandibadde nsonga nga poliisi ababiri yabaggyako olw’okubulwa obujulizi obubaluma, naye ekyewuunyisa nti ne Muwanguzi gw’eragira ddala mu alipoota nti yasangibwa n’emmundu, ku bavunaanibwa taliiko!
Ye kijja kitya okuba nga Muwanguzi y’omu, alipoota eraga nti yakkiriza omusango mu kkooti ne bamuwa n’ekibonerezo ky’okulongoosa ewa DPP, kyokka ate fayiro eri mu kkooti nga taliiko!
Ate nga ne bwe yandibaddeko kijja kitya okuba nti yaweebwa ekibonerezo ate ng’omusango tegutandikanga kuwulirwa!
Ku fayiro eri mu kkooti n’omusango nga tegusalibwanga wadde okutandika okuguwulira bano be bavunaanibwa Patel Narinder 63, (Muyindi), Abdu Malik Omukurat, 36, abeera mu Kakungulu zooni e Kawempe, Vincent Dukunda 27, musuubuzi abeera Salaama mu Makindye, Alex Ssentale 27, akola gwa bukuumi, abeera Mon-Bunyu, Divizoni e Kitgum ne Herman Moses Otang 24, akola gwa buweesi naye abeera Kitgum.
EMISANGO EGIBAVUNAANIBWA
Alipoota eyongera okulaga nti, Patel Narinder avunaanibwa emisango okuli okubeera n’okutunda emmundu ttaano mu bukyamu n’omulala gumu gwa kutunda mmundu mu bukyamu gye yaguza Emma Alvin Bakame ekika kya Glock nga bbaasitoola S/No. AKP 194 *UG. IND. AKP .194 01873 enkola ya Austria.
Mu August 13, 2016, D/AIP John Paul Okao, akola ku musango nga yeeyambisa obuyinza obumuweebwa Ssemateeka yayaza ennyumba ya Narinder n’asanga emmundu 11 nga ku zino ttaano tazirinaako biwandiiko wadde nga omukaaga yazirina mu mateeka.
Wano yaggulwako emisango etaano nga buli mmundu n’omusango gwayo.
Ezitaalina biwandiiko kuliko shotgun S/ No.39314 NP, shotgun -Baikal Rassia S/ No.IZH-18EM-M, shotgun S/No.51421 NP, shotgun S/No.46942 MM, shotgun S/No.44856 NN.
Magidu Odur Kiisa, Abdul Malik Omukurat, Vincent Dukunda, Moses Herman Otang ne Alex Ssentale wakatiwa June ne July, 2016 nga bali mu bifo eby’enjawulo okuli Kitgum, Soroti, ne Kampala beenyigira mu bubbi nga bakozesa emmundu ne batta n’omuntu era nga guno gwe musango gwe baali bavunaanibwa.
“Wabula omusango gukyagaanyi okutandika okuwulirwa kubanga fayiro ya poliisi okuli obujulizi obulaga abantu bano nti bazza emisango, aba poliisi tebagireetanga!
Kati kituwadde obuzibu okutandika okuguwulira nga tewali bujulizi.
Era omusango guno gunaatera okugobwa, kubanga tetulina kya kugukolera nga n’abantu abaali abataano kusigaddeko babiri bokka!”
Ani yayogedde bino? Kino kitegeeza nti essaawa yonna omusango gwandigobwa kubanga tewali bujulizi buluma basibe ne fayiro yaabwe tekyaleetebwa.
Kati kiwadde n’abasibe embavu okukangaza nti baleete obujulizi obubaluma oba si ekyo bateebwe, n’ebizibiti eby’emmundu n’amasasi bikyali mu mikono gya poliisi kubanga kkooti tennabisaba.
KKOOTI BW’EZZE ETAMBULA
Omu ku bakozi ku kkooti ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti:
Nga 25/10/16, omuserikale wa poliisi eyakola okunoonyereza ku musango guno yaleeta fayiro y’emisango gino mu kkooti, ku olwo abasibe bataano ne basindikibwa ku alimanda.
Omulundi ogwaddako, abawawaabirwa baddamu okulabika mu kkooti ne fayiro omuserikale wa poliisi n’agireeta era abasibe bonna ne bateebwa ku kakalu ka kkooti.
Ku mulundi ogwokusatu lwe baalina okudda okweyanjula mu kkooti ku bantu bataano, kwaddako basatu bokka!
Omuwendo gweyongera okukendeera ne basigala babiri nga be bakyajja mu kkooti, era ne mu kiseera kino be bajja bokka!
Wabula Malik ng’ali ne looya we, yakkiriza omusango mu maaso g’omuwaabi wa gavumenti n’akkirizibwa okusasula emitwalo 20.
Bwe yakikola yajja ne lisiiti mu kkooti era n’ateebwa, kati omusango ne gusigalako abantu babiri okuli Narinder ne Dukunda.
Kyokka Magidu, Ssentale ne Otanga baabula.
Emirundi egimu abawawaabirwa Narinder ne Dukunda bajja mu kkooti kyokka olubuuza kaanso wa Narinder okuwaayo empoza ye ng’asaba okusomerwa omusango oguvunaanibwa omuntu we kyokka nga fayiiro teriiwo.
Ku fayiro eno kw’alina okusinziira okuwaayo empoza ye.
Omuwaabi wa gavumenti alina kusinziira ku fayiiro ya poliisi okusomera avunaanibwa emisango egimuvunaanibwa. Era, Kino kye kivaako okwongezaayo omusango enfunda eziwera.
SSAABAWAABI WA GAVUMENTI
Mike J. Chibita, Ssaabawaabi wa gavumenti yagambye nti: emisango egyogerwako minene era tetugenda kugireka kufa gityo, noolwekyo kyetaagisa okuddamu okuyita fayiro tugitunulemu, tulabe nga tukola ekyo ekisaanidde okukolebwa.
Emmundu kye kimu ku bizibu by’eggwanga olw’okukozesebwa entakera okutta abantu. Abakwatiddwa nazo mu bukyamu balina okukangavvulwa awatali kuttirwa ku liiso.