TOP

Amaze ne saluti emyaka 24 ab'e Butabika ne Mulago bamulemeddwa

Added 9th November 2014

Omusajja ow’emyaka 47, eyalemerayo saluti kati emyaka 24 oluvannyuma olwokwenda ku muk’omusajja dokita w’e Butabika eyamusuubiza okumujjanjabira obwereere amukebedde n’amulemwa. Amusindise e Mulago nayo n’alemwayo kati azzeeyo mu kyalo.

 Bya DAVID  KIBUUKA

Omusajja ow’emyaka 47, eyalemerayo saluti kati emyaka 24 oluvannyuma olwokwenda ku muk’omusajja dokita w’e Butabika eyamusuubiza okumujjanjabira obwereere amukebedde n’amulemwa. Amusindise e Mulago nayo n’alemwayo kati azzeeyo mu kyalo.

Siraje Gowa mutabani w’omugenzi Sulaiman Gowa  omutuuze ku kyalo ky’e Kasugu mu Mayuge tawuni kanso mu disitulikiti y’e Mayuge yaakamala emyaka 24 nga saluti eremeddeyo.

Gowa ono atazaalangako agamba nti okuva bwe yeegatta ne muk’omusajja omulundi gwe ogwasembayo yatandika okuwulira ng’ebitundu bye ebyekyama n’omubiri gwonna nga gwesisiwala era awo we yatandikira okulwala okutuusa olwaleero.

Yafulumira mu Bukedde ku Ssande omwezi oguwedde era abantu bangi abaavayo nti basobola okumujjanjaba ku bwereere n’awona ne Dr. Kasozi ow’e Butabika mwe yali.

Yagambye nti: “Abazirakisa banfunidde entambula okunzigya e Mayuge okuntwala mu ddwaaliro ery’e Butabika.

Olwantuusizza mu ddwaaliro ery’e Butabika, Dr. Kasozi yanteese mu kyuma ekikuba ebifaananyi n’ahhamba nti nnina aniya n’ekizimba mu lubuto n’antegeeza nga kyetaaga okunnongoosa wabula nga nnina okugenda mu ddwaaliro e Mulago” bwe yategeezezza.

E Butabika yamazeeyo ennaku ssatu oluvannyuma baamufunidde ambyulensi n’emutwala Mulago n’amalayo olunaku lumu n’ekitundu olwo n’asaba abasawo okumuwa ebbaluwa emukkiriza okuddayo awaka kuba embeera gy’alimu ng’alaba tamalaako ng’ate ne ssente ze baamugambye ez’okumulongoosa tazirina bwatyo n’addayo awaka.

Gowa agamba nti e Butabika n’e Mulago abadde asula ku bitanda bibiri nga babigatta olwo ye n’asula wakati ku bitanda bino ng’ekigendererwa kyakulaba ng’asobola okufuka bulungi mu bbaafu.

Yategeezezza nti: Olwatuuse mu ddwaaliro e Mulago abasawo ne bampa obujjanjabi omuli n’okunkuba empiso n’okumpa amakerenda wabula nga nabo tebamanyi kye bajjanjaba kwe kubasaba okunsiibula nabo kye baakoze.

Ayongerako nti n’embeera omuli okulya emmere yabadde nzibu emmere ya bbeeyi ng’ate yagenze n’abantu babiri okuli muganda we Rashid Makika 30 ne muwala we omwana wa mwannyina Lukia Nassanga 17 nga buli balya 30,000/-.

Abantu abaantutte e Butabika bansuubizza okunfunira akagaali ak’okutambuliramu.

Kati ndaba nga teri musawo yenna asobola kunzijanjaba wabula nsaba kunfunira akagaali ke nsobola okutambulirako kuba mu nnyumba nkooyeemu.

Kyokka wadde ng’abasawo baalemereddwa okunzijanjaba waliwo ku njawulo.

Gowa agamba nti kati waliwo omusawo atwala eddwaaliro lye Kigandaalo Health Center IV, Charles Mwima ajja n’amuwa kubujjanjabi bw’aba afunye omusujja.

“Ekisinga okunnuma kwe kulwala obulwadde buno nga sizaalangako kuba hhenda kufa nga sirese musika ku nsi.”

Gowa yali musuubuzi wa ngoye era agamba nti yalinga mudigize. Agamba nti, “Singa mpona nja kusigala nga mpa abakyala abafumbo ekitiibwa kuba kye natuukako sikirojja era nsaba basajja bannange abettanira okwagala abakyala abafumbo babeesonyiwe kuba baabulabe nnyo.”

Nnyina by’ayogera

Nnyina Jamawa Nabirye 60,  agamba: Nalina essuubi nti mutabani wange k’agenzeeko mu ddwaaliro ajja kutereera naye bwe twafunye amawulire nti abasawo balemereddwa ne binsobera.  Kati sikyayagala muntu yenna aggya mwana wange waka  kuba buli lwe bamusitula okumutwala mba ndaba ng’agenda okufa olw’obulumi bw’abaamu. 

Buno bulwadde bwa kiddugavu ate engeri emyaka gye gitambudde nga tunoonya eddagala ne libula kati byonna mbikwasizza Katonda.    

Singa tufuna omuzirakisa n’atudduukirira n’akagaali okutambuliramu oba okufuna ebyuma atuule. 

Muganda we by’agamba

Rashid Makika ng’ono ye muganda we eyamutwala mu ddwaaliro agamba nti ye yali amanyi nti ke bagenze mu ddwaaliro wajja kubeerawo enjawulo wabula byagaana.

Makika agamba nti kati muganda we waakusabira kuba tamanyi oba waliyo omusawo asobola okumujjanjaba.

Asobola okumuyamba asobola okuyita ku ssimu nnamba 0771669737, 0785651993 oba 0756589748.

Gowa akomewo e Mulago tumujjanjabe

Bya Anthony Ssempereza

DR. David Basangwa  ow’e Butabika yagambye nti kituufu omusajja ono Gowa yazze e Butabika n’amusisinkana era ne bamukebera ng’ali ne dokita omulala. Agambye nti: Kye twazudde kiri nti omusaayi bwe gwajja mu busajja ne gugaana okuddayo ne gwetuggira mu kifo kimu ekyo kwe kusigala nga buyimiridde. 

Okubujjanjaba aba alina kulongoosebwa emisuwa ne gisalibwa omusaayi ne gwozebwamu. Ono si y’asoose era tuzze tubalongoosa. Obulwadde buno obusajja okusigala  nga buyimiridde okumala ebbanga eddene kijja  olw’omusaayi okulemwa okuddayo mu emabega  mu mubiri ne gusigala mu kitundu ky’obusajja. Kijja singa weekanga nga muli mu kikolwa oba okukozesa empeke nga eza Viagra n’ebirala. Tulina enteekateeka y’okumulongoosa awone obulumi obwo. Akomewo e Mulago andabe  ensonga ye nze kennyini nja kugirondoola.

Ebirala

Emyaka 24 saluti eremeddeyo

Amaze ne saluti emyaka 24 ab’e Butabika ne Mulago bamulemeddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.