TOP

Abakyala abanyirira balaze ekibakuumidde ku mutindo

Added 15th February 2015

OMUYIMBI Haruna Mubiru yabiraba bwe yayimba nti ‘ekitooke kifa nsalira.’ Omukazi eyeefaako ne bw’akula asigala akyali mbooko n’okusinga abawala abakyalimu embavu. MARGARET ZIRIBAGGWA, HAFSWA NANKANJA NE KIZITO MUSOKE bakuleetedde abakyala abakuze kyokka ng’endabika yaabwe tefumye ne boogera ekibaku

 OMUYIMBI Haruna Mubiru yabiraba bwe yayimba nti ‘ekitooke kifa nsalira.’ Omukazi eyeefaako ne bw’akula asigala akyali mbooko n’okusinga abawala abakyalimu embavu. MARGARET ZIRIBAGGWA, HAFSWA NANKANJA NE KIZITO MUSOKE bakuleetedde abakyala abakuze kyokka ng’endabika yaabwe tefumye ne boogera ekibakuumidde ku mulembe.

HALIMA NAMAKULA: Nze kati ‘nalookinga’, we nasibira weewo. Sikyuka mu ndabika wadde mu kikula. Bw’ondabye leero n’enkya bw’ojja okunsanga oluusi nga njaka n’okusingawo. Nneebaza Katonda kubanga bwe nkugamba nti naweza dda

emyaka 50 owakana. Ebinnyambye okukuuma omutindo. Ekisooka, olina okweyagala nga bw’oli nga buli ekiri ku mubiri gwo kikusanyusa. Kuno zzaako okuba omusanyufu buli kadde. Emibiri gyaffe giringa kyamaguzi, bw’otokyongerako mutindo abantu bayinza obutakiraba. Weebuuzenga, ‘ku bintu

Katonda bye yampa nnyongeddeko ki? Ky’ova olaba nti nze okufuluma enju nsooka kwewunda ne nnyirira. Nneewala okulya ebintu ebisava era mu wiiki mbiryako ku Ssande nga ng’enze ewa maama. Okulya ndyako katono kukuuma bulamu so si kujjuza ssowaani ate ng’enva endiirwa sizisubwa.

Nnyambala engoye ezituukana n’endabika yange n’enviiri ne nzinyiriza. Nkola ku dduyiro n’okutambula mu wiiki emirundi etaano okumala essaawa nnamba.

MAGGIE KIGOZI: Obutakyusakyusa mu byakwekolako kinnyambye nnyo. Edda nalina olususu olubi kyokka bwe namala okuzuula ekizigo ekinkolako saddamu kukyusa. Enviiri zange ebiseera ebisinga nzeekolako nzekka nga buli kiseera mbeera ndabika bulungi era sifuluma mu nnyumba nga seekozeeko.

Okuva edda nali wamizannyo n’okuwuga, nabyo binnyambye okwekuumira ku mutindo. Kati ntambula wakati w’eddakiika 15 ne 30 buli lunaku. Engoye ngula ezo zokka ezituukana n’omubiri gwange ne langi ezikwatagana n’olususu lwange.

MIRIA MATEMBE: Ku makya nga sinnalya kintu kyonna, nsooka kunywa ggiraasi z’amazzi 3 ate bwe mmala okulya, mpissaawo essaawa nnamba ne ndyoka nnywa amazzi.

Sirya kintu kimpoomera wabula ekirimu ekiriisa ate ebintu ebikoleddwa mu hhano nabivaako kubanga tebikwatagana na musaayi gwange. Ntambula buli ku makya eddakiika ezitakka wansi wa 30.

SARAH KIZITO NYAKAANA: Nsooka kweyagala kubanga teri muntu ayinza kukwagala nga bwe weeyagala. Mpummula

ekimala era nneebaka essaawa 8 olunaku ate nnywa liita z’amazzi ezitaka wansi wa 3 olunaku. Mpuga waakiri emirundi esatu mu wiiki kubanga sikyasobola kukola dduyiro ow’amaanyi.

 Ndya nnyo ekibala ekiyitibwa Chia kubanga ensigo zaakyo nnungi nnyo eri omubiri. Nyambala engoye eziggyayo ffiga yange.

ROSE SENNINDE: Alabika bulungi, ayogera bulungi era buli lw’omusanga olowooza nti mwana muto. Teyeekuba

pawuda kyokka olumu yagamba nti emirimu gy’awaka agyekolera okusobola okukuuma omubiri gwe nga mulamu

bulungi. Abakyala abamanyi emirimu egiri awaka n’engeri gye weetawulamu ofaananira ddala omuntu akola dduyiro n’okumusinga

 

OMULAMUZI JULIA SSEBUTINDE: Endabika ye kizibu obutakusanyusa kubanga yessaako langi etuukira ku lususu lwe nga mwaka ku mwaka takaddiwa okuggyako okudda obuto.

JOYCE MPANGA: Kati nnina emyaka 82. Ekisinze okunyamba, obulamu bwange bwonna mbadde nkola ekifudde omubiri gwange omulamu obulungi. Ndya biyamba mubiri gwange byokka n’okwambala ebintu ebimpeesa ekitiibwa. Nneerongoosa mu ngeri esaanidde omukyala ow’emyaka gyange. Bangi bwe twenkana tebakyasobola kukola mirimu n’abamu nga bw’obasanga olowooza bakadde.

JOYCE NABBOSA SSEBUGGWAWO: Y’akulira eggombolola y’e Lubaga ng’amanyiddwa olw’okunyirira naye asinga kwambala ggomesia. Endabika ye ekakasa ndi ddala mukyala eyeekuumidde ku mutindo. Agamba; Nnywa nnyo amazzi era sikozesa bitamiiza. Nfuba okulaba nga mba muyonjo kubanga endwadde ezisinga ziva ku bukyafu. Ebirowoozo nabisiba ku mpangi era sirwana ntalo kubanga zikaddiya n’okumalako emirembe

Abakyala abanyirira balaze ekibakuumidde ku mutindo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....