TOP

Asabye mwannyina omukwano!

Added 27th September 2015

KINO kisuffu! Kirabika abawala abalungi bonna baweddeyo ng’aba Limit Production bakola firimu yaabwe ey’obutundutundu gye batuumye It Cant be ekivvuunulwa nti “Tekisoboka”

 Bya HASIFAH NAAVA

KINO kisuffu! Kirabika abawala abalungi bonna baweddeyo ng’aba Limit Production bakola firimu yaabwe ey’obutundutundu gye batuumye It Cant be ekivvuunulwa nti “Tekisoboka”

Firimu eno ekwata ku muvubuka eyayagala omuwala ku kyalo n’amufunyisa olubuto, nadduka n’ajja mu kibuga.

Omuwala naye kitaawe amugoba awaka n’ajja mu kibuga nga naye aw’okutuukira talinaawo,

Yafuna abasajja ab’enjawulo naye nga tawangaala nabo olw’ensonga nti yali lubuto naye oluvannyuma yafuna omusajja eyamuwasa n’olubuto lwe era n’azaala omwana mulenzi.

Omulenzi naye yali yafunayo omukazi omulala n’amuzaalamu omwana omuwala. Mu butamanya abaana bano bombi bagenda mu ssomero lye limu gye beesiimira ne bakkiriziganya okufumbiriganwa.

Baasalawo okugenda okukyala mu bazadde eyo gye baakizuulira nti kitaabwe y’omu abazadde ne bagamba nti tekisoboka baana kwewasa nga baaluganda.

Ate abaana bagamba nti babadde batuuse wala tebayinza kwereka. Mu firimu eno mulimu abawala Doreen Nabbanja azannya nga Sonia ,Praise ono nga Nisha Kalema, Tracy ono nga ye Jamira Kalungi, Pretty ono nga ye Fifi Ssebandeke, Peace ye Phiona Ntege.

Ate abalenzi mulimu Richard Mulindwa, Farouq Mutebi, Earnest Nsubuga n’abalala.

Asabye mwannyina omukwano!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...