TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ab’e Mityana baagala ebyobulamu bissibwe ku mwanjo mu Bajeti

Ab’e Mityana baagala ebyobulamu bissibwe ku mwanjo mu Bajeti

Added 19th June 2011

Omwaka oguwedde, embalirira ya Disitulikiti ya Mityana  yali ya buwumbi 13.  Ate eya Mubende Town Council yali ya kawumbi kamu.

 Abantu abenjawulo n’abakulembeze baabwe abaayogeddeko ne Bukedde, baasabye ensimbi eziwera ziteekebwe ku byobulamu, ebyenjigiriza n’ebyobulimi okuyimirizaaw

Omwaka oguwedde, embalirira ya Disitulikiti ya Mityana  yali ya buwumbi 13.  Ate eya Mubende Town Council yali ya kawumbi kamu.

 Abantu abenjawulo n’abakulembeze baabwe abaayogeddeko ne Bukedde, baasabye ensimbi eziwera ziteekebwe ku byobulamu, ebyenjigiriza n’ebyobulimi okuyimirizaawo Disitulikiti zino.

Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mubende, Francis Kibuuka Amooti, era nga y’akulira akakiiko k’ebyensimbi yagambye nti, ‘abantu baffe abasinga balimi, tulina okubawagira bafune mu mulimu guno nga tugwongeramu ensimbi wamu n’ebyobulamu.’

Ate Meeya wa Mubende Kizito Zziwa, yagambye nti baagala okulongoosa enguudo zonna n’okwongera amaanyi mu byobulamu.

Omutuuze w’e Mubende, Amos Nteziyaremye, yagambye nti baagala ababakulembera okuwagira amasomero g’omu kitundu okusobola okutumbula ebyenjigiriza.

Ate abatuuze mu magombolola okuli ey’e Bulera n’e Kalangaalo baasabye balowoozebweko ku makubo amabi n’ebyobulamu mu bajeti y’omwaka guno.

Mu Ggombolola y’e Kitenga abatuuze  balaajana lwa mazzi na masomero nti bibayisa bubi.

Abakulembeze b’ekibuga Mityana wiiki  ewedde baasomye embalirira yaabwe ya kawumbi kalamba ng’essira baalitadde ku kutumbula byanjigiriza.

Ab’e Mityana baagala ebyobulamu bissibwe ku mwanjo mu Bajeti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...