Abalabirizi okwabadde owa West Buganda eyawummula Wilson Mutebi, Ow’e Mukono eyawummula Eria Luzinda, Ow’emityana, owa Central Buganda Jackson Matovu, Wilberforce Kityo Luwalira ow’e Namirembe, ow’e Mityana eyawummula Kefa Kamya, owa Cental Buganda eyawummula George Ssennabulya, Micheal Ssennyimba eyali ow’e Mukono, ne Misusera Bugimbi eyali ow’e Luweero n’abakyala b’Abalabirizi mu Buganda.
Baasoose kuwa bujulizi ku ngeri gye baalokokamu nekalaatira Mulondo okulokokere ddala n’omutima gwe.
Mulondo mu kwogera yategeezezza nti ""ebbanga lyonna ndafuubanidde okutuusa abantu bangi mu kwesiima kyokka nange nkooye okuba enkonge y’oku kkubo n’olwekyo kirungi bwe weekebera mu by’emabega n’olaba wewabulira ne weenenya.
Abalabirizi basabidde Mulondo