Omugenzi Kyeyune ye kitaawe w’omwami ow’e Ssaza lya Ssingo , Mukwenda Godfrey Mbalire.
Ku ggombolola e Busimbi, olukiiko olwamangu lwayitidwa bukubirire, okusiima omugenzi Kyeyune, olw’emirimu gy’akoledde Ggombolola eno.
Omugenzi yaziikiddwa ku kyalo Busundo mu Ggombolola y’e Busimbi, ku mukolo ogwetabiddwaako bannabyabuzi, abalabirizi n’abasumba.
Ate ku Klezia lutikko e Kiyinda mu Ssaza lya Kiyinda-Mityana, omudyankoni abadde agenda okufuna obusosodooti yafudde ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Rev. Deacon Achilles Lwanyaga abadde asomera mu seminaaliyo y’e Gaba mu Kampala, abadde agenda kutikkirwa mu July w’omwaka guno. Omugenzi yafudde bulwadde bwa nsigo.
Mmisa y’okuziika yakulembeddwa omusumba w’essaza lya Kiyinda Mityana, Joseph Anthony Zziwa.
Â
Â
Omwami wa Ggombolola n’omudyankoni bafudde