TOP

Temusuza balenzi na bawala mu kisenge kimu

Added 10th January 2011

Ennaku zino, kirabika ensi egudde eddalu. Mukimanyi nti abaana batandise okweganza nga temumanyi n’abamu ne batuuka n’okwezaalamu? Kati mmwe abazadde mulina okukanula ennyo amaaso n’okulondoola abaana bye bakola.

 


Embeera y’obwavu gye tutambuliramu ebiro bino ewalirizza abam

Ennaku zino, kirabika ensi egudde eddalu. Mukimanyi nti abaana batandise okweganza nga temumanyi n’abamu ne batuuka n’okwezaalamu? Kati mmwe abazadde mulina okukanula ennyo amaaso n’okulondoola abaana bye bakola.

 


Embeera y’obwavu gye tutambuliramu ebiro bino ewalirizza abamu ku bazadde okwenyiga mu buzigo n’abaana ate abakuliridde mu myaka. Mukama Katonda bw’akuyamba n’ofuna ssente n’ozimbayo akayumba oba n’opangisa ennyumba ennene weesunako.


Abaana be tuzaala bafuna enkyukakyuka mu mibiri gyabwe nga bakula naddala nga batuuse mu myaka gya kaabuvubuka. Bangi balaba firimu, basoma amawulire n’obutabo obw’enjawulo n’oluusi okukoppa ebintu ebiyinza okubatuusa ku mbeera y’okunyumya akaboozi k’ekikulu nga tebanneetuuka.


Kati kye njagala okubasaba kwe kwawula abaana abalenzi n’abawala baleme kusula wamu. Bwe bagenda bakula, bafuna okusoomoozebwa ne batandika okwegomba bannaabwe. Ate omuwala oba omulenzi ayinza okweyambula, okutuula nga bw’asanze n’okukola ebintu ebisoomooza munne ng’alowooza nti engeri gye bali abooluganda tewali kye bawulira ekintu ekikyamu.


Olaba omu bw’atega munne akanyeebwa n’akalya. Ye watya ng’omukwano gwabwe gukuze ne batandika okunyumya akaboozi n’oluusi okufuna embuto. Tetuyinza kunenya mwana wa kika kino kuba embeera nabo oluusi ebatabukako. Ogenda ne weesanga nga basula mu kisenge kimu oba nga basula mu muzigo gumu nammwe abakulu era nga kye mukola kyonna kibagwa mu matu.


Obwongo bwabwe busaanuusibwa mangu ne bubalagira okukola ebyo emyaka gyabwe bye gibatuma ekivaamu ate kwejjusa.
 N’olwekyo, abazadde mbasaba mufube okwawula abaana abakuzeemu okwewala eby’empuna ebiyinza okuddirira. Akuume!

 

 

Temusuza balenzi na bawala mu kisenge kimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...