TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ab’e Mityana balaajanye ku bayiikuula olusozi okukola oluguudo

Ab’e Mityana balaajanye ku bayiikuula olusozi okukola oluguudo

Added 9th January 2011

Oluguudo luno, lukolebwa kkampuni bbiri eya Dott Services ng’ekola  okuva e Mityana okutuuka e Muduuma n’eya Spencorn ekola okuva e Muduuma okutuuka e Kampala.

Gyebuvuddeko, kkampuni ya Dott yagula olusozi ku kyalo Kawanga ekiri mu Ggombolola y’e Malanga n’etandika okusimako ettaka, kyok

Oluguudo luno, lukolebwa kkampuni bbiri eya Dott Services ng’ekola  okuva e Mityana okutuuka e Muduuma n’eya Spencorn ekola okuva e Muduuma okutuuka e Kampala.

Gyebuvuddeko, kkampuni ya Dott yagula olusozi ku kyalo Kawanga ekiri mu Ggombolola y’e Malanga n’etandika okusimako ettaka, kyokka okuva olwo abatuuze basula ku tebuukye. Bagamba nti ekitundu ky’olusozi ekyasigalawo ekiseera kyonna ettaka liyinza okubumbulukuka ne bafa.

Bannyonnyodde nti mukoka ava ku lusozi luno awa-asimibwa ettaka n’ayingira mu mayumba n’okwonoona ebirime byabwe.
Ssentebe w’ekyalo kino, Siraje Kayongo yagambye nti amaka 25 gegakoseddwa ng’ekisinze okubayisa obubi y’emmere yaabwe eyonooneddwa mukoka.

 “Abantu baffe beeraliikirivu nti enjala yandibazinda ate era amazzi gakyeyongera okwanjaalira mu mayumba gaabwe.  Tusaba tuyambibwe ku kizibu kino,”  Kayongo bwe yagambye.

Nzera Namubiru omutuuze ku kyalo kino yagambye nti mukoka yayonoona omusiri gwe ogwa muwogo  ne lumonde ne gusaanawo. Agattako nti, ‘enkuba buli lw’etonnya enju tugiddukamu nga tutya okutugwiira.”

Ate Emmanuel Mulwana yagambye nti ye ayonooneddwa ebintu bye eby’omu nju olwa mukoka.
Ahamed Kasujja agamba nti mweraliikirivu nti enju ye yandigwa kubanga mukoka agiyitamu buli nkuba lw’etonnya.

Abalala okwabadde Bosco Luyima ne John Nswemu baasabye kkampuni zino okukola emifulejje eminene egitambuza amazzi, bagatangire okwonoona n’enzizi zaabwe kubanga kati tebakyalina we baggya mazzi.

Mu bifo ebirala ebyonooneddwa mulimu ekifo eky’obuwangwa ekimanyiddwa nga ‘Akazinga ka Nalinnya.’
“Wano wabaddewo ejjinja era abantu we bakolera emikolo egy’obuwangwa kyokka n’ekifo kyaffe kino kirugenze,” David Ssewan-yana bwe yagambye.
Ate Kiwawu agamba nti ekibira kibikkiddwa amazzi oluvannyuma lw’emidumu okuzibikirwa.

Ate e Ttamu, ekibira kya kalittunsi ekibadde mu kikko nakyo kijjudde amazzi.
Atwala obutonde bw’ensi mu Disitulikiti y’e Mityana, Yassin Bbira yagambye nti ensonga azikolako.

Omwogezi w'ekitongole ky’ebyenguudo, Dan Alinange yagambye nti ba-genda kusindika bayinginiya b’ekitongole okwekkenneenya ensonga ezo.

Ab’e Mityana balaajanye ku bayiikuula olusozi okukola oluguudo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...