TOP

Olugambo terulina kalungi mu maka

Added 6th June 2011

Ebyo ng’obitadde ku bbali,waliwo omuze ogugenze gusensera mu maka ogutuuse okugasaanyawo. Si mulala wabula gwa bawala bange kusiiba mu ng’ambo ne mulemwa okubaako kye mwekolera.

Bangi temukyabeera waka, temwagala kukola mirimu ne mudda mu kutambula ekyalo kyonna  ng’abaawunya mu ki

Ebyo ng’obitadde ku bbali,waliwo omuze ogugenze gusensera mu maka ogutuuse okugasaanyawo. Si mulala wabula gwa bawala bange kusiiba mu ng’ambo ne mulemwa okubaako kye mwekolera.

Bangi temukyabeera waka, temwagala kukola mirimu ne mudda mu kutambula ekyalo kyonna  ng’abaawunya mu kigere ky’embwa.

Kye mukola, olumala okunaaba amaaso ng’olwo okwata nsawo yo kugenda kutambuza lugambo. Abamu nno mulinnnya na takisi n’otuuka w’otuuse n’otuula n’otandika okuseetula olugambo olutaliiko mutwe na magulu ne mutafaayo na kukola mirimu waka, okulabirira abaana bammwe n’okufumbira abaami bammwe emmere buli kintu ne mukirekera abakozi.

Mmwe mumanyi abakazi abali embuto ku kyalo, abaasuze enjala, abaalwanye n’abaagalwa baabwe, ani aganza ani n’ensonga endala nkumu. Ekyewuunyisa nti mu mboozi zammwe zino oluusi muzingiramu ne babbammwe ne mutuuka n’okubalangira obwavu. Bannange, mukimanye nti eby’omu kisenge tebittottolwa.

Leero saluuni mwazifuula ebifo gye musisinkana okukola omulimu guno gwe mutafunirako musaala. Mukung’aanira muno ne munyumya buli mboozi gye mwagala nga kwe mutadde n’okukonjera abantu. Ate oluusi eno muyigirayo n’emize emirala ng’obwenzi nga bannammwe babawa amagezi okufuna abasajja abagagga, ettamiiro, okufuweeta sigala n’emmindi.

Ogera balo anaatera okudda eka, ng’olwo naawe lw’osiibula asobole okukusanga awaka.Baana bange omulimu guno mugulekere abo ab’obusa abakyanoonya olwo mmwe mwemalire mu kulabirira abaana bammwe n’abaami.     Bw’oba tolina omulimu, teesa ne munno ofune omulimu ogukumalira ku budde. Akuume!

Olugambo terulina kalungi mu maka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...