""Mbasaba mukube ttooki emabega we nnakwatira enkasi ya Masaka, enguudo bwe zaafaanananga, bannaffe bo ab'e Lwabenge, baali mu kazinga ng'enguudo oluva e Lukaya terutuuka miwuula, okuva e Miwuula okudda e Gomba ng'emmotoka tezikyatuuka Bugomola,"" Ssempijja bwe yategeezezza.
Yannyonnyodde nti emigga nga Nabajuzi, ogwattanga abantu buli nkuba lw'ettonnya, ogw’e Kyamuliibwa nga tebatuuka Kalungu n'emirala e Masaka giteredde n'enguudo.
Yabyogeredde mu nku-ng'aana ze yakubye mu maggombolola ey'e Bukulula n’e Lwabenge ng'asaba obululu mu kammyufu ka NRM.
Enkiiko z’okunoonya akalulu mu Kalungu East baazitandikidde Lwabenge, Kiragga ne Bwesa.
Kyokka Umar Lule Mawiya e Kiragga yatuuse kikeerezi nga Ssempijja amaliririza okweyogerako.
Mawiya bwe yatandise okwogera n’avumirira bwe bavuganya Ssempijja ekyanyiizizza abawagizi ba Ssempijja katono basikambuleyo Mawiya ku kadaala nga bawakanya akubiriza enkung’aana zino, Mw. Ttendo Ssemwanga Lutaaya obutamuggyako kazindaalo ng’amenya amateeka g’obutavvoolaganira ku budaala.
Â
Ssempijja ne Lule Mawiya battunka mu Kalungu East