TOP

Abasajja abasuulirira amaka gammwe mulimba

Added 12th July 2010

Waliwo abamu ku mmwe abalekedde bakyala bammwe obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka olwo mukazi wattu n’asiiba ku muliraano ng’asabiriza omunnyo, amajaani n’amafuta kyokka ng’alina omusajja akeera ku makya n’agenda okukola.

Tetugaanyi olumu ssente zibula naye era olina okuyi

Waliwo abamu ku mmwe abalekedde bakyala bammwe obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka olwo mukazi wattu n’asiiba ku muliraano ng’asabiriza omunnyo, amajaani n’amafuta kyokka ng’alina omusajja akeera ku makya n’agenda okukola.

Tetugaanyi olumu ssente zibula naye era olina okuyiiya ng’omusajja kubanga gwe mutwe omukulu mu maka. Abamu temuleka ‘musolo gwa mmeeza’ ssente z’okugula ebyetaago awaka oba okulekawo ezitamala olwo ne mulagira bamaama bayiiye. Bannange mwagala babbe bubbi? Oba bafuneyo abasajja ababateekamu kaasi, kyokka bwe bafumba emmere oba enva ze mutayagala nga muyomba.

Kino kye mukola kikyamu kubanga bajja kuyiga okwegomba ate abasajja abamanyi eky’okukola babapasule. Kuno mugattako okubakuba emiggo n’okubalangira obutayiiya ne mwerabira nti nammwe abakeera okugenda okukola oluusi zibabula.

Batabani, bawala bange abo nabo beetaaga okufiibwako n’okulaga omukwano bwe muba mwagala okufuna essanyu mu bufumbo. Abamu awaka mubagulira binywebwa ebya buli lunaku olwo mmwe ku mirimu ne mukoona nkoko n’ennyama. Kyokka bangi mulina omuze gw’okugaana okuweerera abaana bammwe olwo bakazi battu ne babonaabona ne fiizi gy’obeera nti bazza musango okubazaalira. 

Abasajja mubeere bayiiya muyambe ku bakyala bammwe omukwano gubanyumire.

Abasajja abasuulirira amaka gammwe mulimba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...

Ssentebe Mugabi (wakat)i ng’asala keeki n’abamu ku bannamawulire abasakira Mu Greater Masaka.

Ssentebe w'e Rakai asiibudd...

Ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, Robert Benon Mugabi  asiimye bannamawulire abakolera mu Greater Masaka n'agamba...

▶️ Obubonero bw'alwadde eki...

Obubonero bw'alwadde ekiyongobero Wano mu Buganda abakazi balowoozebwa okubeera abagumu mu buli mbeera, era...

Weetegereze bino ng'onoolunda embuzi.

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oya...

▶️ OMULIMISA: Engeri gy'oyawulamu ebika by'embuzi ez'enjawulo.