TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ab’e Kagoma n’e Maganjo babasondedde ez’oluguudo

Ab’e Kagoma n’e Maganjo babasondedde ez’oluguudo

Added 21st June 2010

Baakubye olukiiko mu kifo kino awali  omugga  awayita oluguudo luno ne bayita omubaka waabwe, Robert Sebunya  ne bamutegeeza nti  oluguudo luno lwandibadde lukolebwako  kyokka tebafaayo ekikalubya eby’entambula mu kitundu kino.

Ssentebe w’ekyalo Kisimu,  Geoffrey  Lwanira  aga

Baakubye olukiiko mu kifo kino awali  omugga  awayita oluguudo luno ne bayita omubaka waabwe, Robert Sebunya  ne bamutegeeza nti  oluguudo luno lwandibadde lukolebwako  kyokka tebafaayo ekikalubya eby’entambula mu kitundu kino.

Ssentebe w’ekyalo Kisimu,  Geoffrey  Lwanira  agamba nti oluguudo buli enkuba lw’etonnya  amazzi gasala mu luguudo ekivaako  abaana baabwe okumala ennaku nga tebasoma okutuusa amazzi bwe gakala.

Agamba nti oluguudo luno disitulikiti y’erina  obuvunaanyizibwa okulukola   kyokka tekikoze ekiwalirizza abatuuze  okusonda  ssente  ze bagenda okukozesa okulukola basobole okuluyitamu.

Yagambye nti ebintu ebyabaweereddwa yinginiya wa disitulikiti nabyo tebimala era tebamanyi ssente ze bagenda kusaasanyizaawo.

Ssentebe wa Kagoma B,  Haji Jabel Musoke agamba nti, “njogedde  n’abakulembeze ba disitulikiti bangi bayambeko okukola oluguudo luno kyokka  batubuzaabuza nti tujja kulukola kyokka tebalabikako.”

 Kansala  Ddamulira Mukasa akiikirira omuluka gwa Wamala ku ggombolola y’e Nabweru omuli oluguudo luno yagambye nti Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Ian Kyeyune n’olukiiko lwe teruyambye ggombolola. Bagaanidde ssente nnyingi ezaandibadde zibayamba okukulaakulanya ekitundu.

Omutuuze Robert Sendagire  yawaddeyo tippa za mayinja ssatu gayiibwe mu binnya ebiri mu luguudo luno. Ssentebe w’akakiiko akalondeddwa okukola omulimu gwa kaseera ogw’okuzimba oluguudo luno, Horimidous Nyanzi agamba nti bagezeezako okusonda ssente kyokka abantu abamu bakyagaanyi okuzisasula ate abalala balaba ebigoma ne balowooza disitulikiti etandise okukola omulimu guno ekitali kituufu.

Omutuuze Sula Ntezi agamba nti okuzimba oluguudo abamu bakutaddemu ebyobufuzi nga baagala kwefuula nti be balukoze kyokka nga lukoleddwa batuuze.

Wabula Kansala akiikirira ggombolola y’e Nabweru ku disitulikiti, Ssentamu Sewandagi yawolerezza disitulikiti nti oluguudo luno yadde lubi naye terubadde mu bajeti  yeezo ezirina okukolebwa.

Yabagumizza nti bagira basonda ssente bazibe ebinnya  naye  ekiseera kyonna lugenda kuddibwamu lukolebwe.

Omubaka Sebunya  eyakulembedde abatuuze abeeyamye okuwaaayo ssente ezigira nga zizimba oluguudo yabawadde emitwalo 30 bongereze ku zeetagibwa.

Ab’e Kagoma n’e Maganjo babasondedde ez’oluguudo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...