Mu lukung’aana lwe baakubye ku Ggombolola y’e Kassanda wiiki ewedde, abatuuze baalaze obwennyamivu nti ekitundu kino kinene nnyo era kisaana kyetongole ku Mubende okulongoosa ku mpeereza y’emirimu.
Baaweze obutalonda omwaka ogujja nga Kassanda tennafuulibwa disitulikiti yeetongodde kye bagambye nti kigenda kukosa gavumenti ya NRM kubanga abalonzi abasingayo bawagizi ba NRM.
Wabula minisita Mwesigye yabasuubizza okutegeeza Pulezidenti akkirize okugitongoza.
“Nze mmaze okukakasa nti mwetaaga disitulikiti. Ensonga zonna ezireeteddwa nzirabye nga ntuufu. Abantu bangi mu kitundu, obuweereza mwetaaga bweyongere ng’okutondawo disitulikti empya kye kijja okugonjoola ekizibu kino,†minisita bwe yagambye.
Wabula abatuuze baatandikiddewo okujaganya nti kati bafunye essuubi nti ensonga yaabwe egenda kukolebwako beetongole.
‘Twagala kwetongola’