Bino baabimutege-erezza ku kyalo Kireku e Busimbi mu Disitulikiti y’e Mityana ng’asisinkanye abakyala abakug’aanye okutema empenda z’okwekulaakulanya gyebuvuddeko.
Baamutegeezezza nti obusobozi bwonna abulina era n’akalulu baakukamwongera wabula abulako kuyingira NRM olwo asobole okufuna obulungi ensimbi z’aleeta mu kitundu okukikulaakulanya kubanga kati alina w’atatuuka kyokka nga bandisobodde okumuwa ensimbi z’abawa.
Kyokka Kaddu Mukasa yabategeezezza nga bw’asuubira okwesimbawo ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu 2016 kubanga mu kiseera kino pulezidenti mwe yagambira nti alibeera awummudde, asobole okubatuusaako bye baagala.
Â
Basabye Kaddu Mukasa ayingire NRM