TOP

Obubaka bwa Katikkiro ku mazaalibwa ga Ssaabasajja

Added 18th April 2010

NNINA essanyu lingi nnyo ddala okulaba nga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11, awezezza emyaka 55.
   
Twebaza Katonda olw’okutuusa Omutanda ku myaka egyo, ate n’olw’obulamu obulungi bwamuwadde n’asobola okulamula obulungi Obuganda, ffenna ne tutambulira wa

NNINA essanyu lingi nnyo ddala okulaba nga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11, awezezza emyaka 55.
   
Twebaza Katonda olw’okutuusa Omutanda ku myaka egyo, ate n’olw’obulamu obulungi bwamuwadde n’asobola okulamula obulungi Obuganda, ffenna ne tutambulira wamu, mu kwegatta n’okwagalana.

Ku lwa gavumenti ya Ssaabasajja, ku lw’Obuganda bwonna ne ku lwange, njozaayoza nnyo Magulunnyondo olw’okutuuka ku lunaku lw’amazaalibwa ge.
  
Amazaalibwa ga Kabaka gano we gatuukidde nga tuli mu kiseera kya kugezebwa, naddala olw’okwokebwa kw’Amasiro ga Bassekabaka e Kasubi. Mu ngeriy’emu gatusanze era tulina ebitusoomooza bingi, ng’okuggyibwa kwa leediyo yaffe, CBS, ku mpewo n’ebizibu ebirala bingi.
  
Awo nno tusaana okweyambisa akaseera kano ak’essanyu ly’amazaalibwa ga Bbaffe tunyweze obumu n’okuwuliziganya. Ebizibu bwe binaatusanga nga ussa kimu tujja kusobola  okubivvuunuka  era tweyongere n’amaanyi.
  
Bulijjo  ebizibu bwe bigwawo ne tumalirira okubiyitamu n’obumalirivu, nga tetuvudde ku mulamwa, tujja kutuuka ku buwanguzi obwannamaddala.

Bwentyo nziramu okusiima Obuganda olw’okulaga Ssaabasajja obuwagizi, obumu n’okwagala mu nnaku ezibadde enzibu ze twakayitamu.

Omwoyo gwa Buganda ogutafa ogwalagiddwa era ogukyalagibwa na buli kati gwe gutuleetedde essanyu ku lunaku lw’amazaalibwa ga Kabaka.
  
Tusaana nno okwetegeka okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi we tunnaatuukira ku mazaalibwa g’omwka ogujja nga waliwo kye tulagawo. Abo abatuduukiridde tubasiima nnyo nnyini olw’omutima omulungi ogwo. Twebaza Obwakabaka obulala obutuduukiridde, abantu ba Ssaabasajja bonna okuva wano ne mu mawanga ag’ebweru. N’abalala abateekateeka okujja okutusuula omukono, mu mulimu guno tubeebazizza era tubalindiridde.

Nziramu okwebaza Katonda olw’obukuumi bw’awadde Beene, era nnyongera okuyozaayoza Nnyinimu olw’olunaku luno.
    
Mbaagaliza okujaguza okw’essanyu n’eddembe.

Obubaka bwa Katikkiro ku mazaalibwa ga Ssaabasajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....