Bino byabadde ku eklesia y’Abasodookisi e Lwemiyaga wiiki ewedde mu kusabira omugenzi era we yaziikiddwa.
Yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri ng’aweza emyaka 65. Yalese bba Sam Magwala ow’emyaka 104 egy’obukulu n’abaana mukaaga. Pulezidenti Yoweri Museveni yakiikiriddwa omuwabuzi we avunaanyizibwa ku bikwekweto eby’enjawulo Maj. Roland Kakooza Mutale eyazze ne baasi ya Muvumenti ne bandi yaayo era n’awaayo amabugo ga bukadde busatu, ate omuwandiisi wa pulezidenti ow’ekyama Muky.Amelia Kyambadde n’akiikirirwa omuyambi we Hajjati Aisha Nalule Kabanda, eyakubagizza n’akakadde kamu.
Ate omumyuka wa Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Dr. Higiro Semajege n’akubagiza n’ente eyonsa n’ennyana yaayo.
Ababaka nga Dr. Baromunsi ne Muky. Muhanga baagambye nti omubaka okubeera owa NRM tekitegeeza kubeera sekibotte mu Palamenti amala gawagira buli gavumenti kyereeta nti ekyo kye kyasuula gavumenti za UPC.
Nti wabula alina okuba n’omugongo ng’agiwabula we kiba kyetaagisiza. Bannaabwe ab’oludda oluvuganya nga Odonga Otto, baagambye nti wadde Ssekikubo wa NRM kyokka abasula ku mwoyo.
Mw. Ssekikubo, omuyambi wa pulezidenti ku by’amateekka Muky.Kafurah Kabatsi ne ssentebe wa LC V e Ssembabule Mw.Herman Ssentongo baategeezezza nti omugenzki yafudde lwakuba abadde mweraliikirivu olw’okuvuganya okw’akaasameeme bonsatule kwe balimu mu byobufuzi.
Â
Ababaka bakuyegedde mu lumbe