TOP

‘Kasekende abadde tayinza kutta mukazi we’

Added 8th February 2010

Baagambye nti bambega ba Poliisi baayanguyirizza okukubira mu nsonga z’okunoonyereza ku ttemu lino ne batuuka n’okugamba nti Kasekende yasse mukazi we n’oluvannyuma ne yetta.

Baagasseeko nti obuwuufu bw’abatemu webuli obulaga ng’abantu baabwe bayingirirwa buyingirirwa amatumbibudd

Baagambye nti bambega ba Poliisi baayanguyirizza okukubira mu nsonga z’okunoonyereza ku ttemu lino ne batuuka n’okugamba nti Kasekende yasse mukazi we n’oluvannyuma ne yetta.

Baagasseeko nti obuwuufu bw’abatemu webuli obulaga ng’abantu baabwe bayingirirwa buyingirirwa amatumbibudde, abatemu ne babasanjaga ebiso.

 “Ebigambo ebikonjere bingi bikyayiting’ana so nga Poliisi yatukakasa nti okubuuliriza kukyagenda mu maaso.  Kya nnaku okulaba ng’abaagalwa baffe ababiri abaali baagalana bwe batyo, ensi esalawo okubasalira omusango mu ngeri eyeekiyita mu luggya,” bwe baategeezezza mu kiwandiiko.

Kyasomeddwa ow’ekika Martin Kasekende n’agamba nti, “Francis alwalidde ebbanga eddene nga ne jjuuzi abadde ku kitanda, naye engeri gy’agwa ku mwagalwa we Phoebe amujjanjaba n’amusalaasala n’amusitula n’amuggya mu kitanda n’amukulula yaadi abiri  n’asigaza n’amaanyi ageefumita ekiso mu bulago ne kigguka enkoto, ate n’akyekuulamu, fumiitiriza naawe olabe engeri gye kisoboka.”

Kigattako nti mu kubuuliriza kwa poliisi tebannawulirako ku mukozi eyali akuuma ebisumuluzo eyabula n’eggaali ekiro ekyo nga na buli kati tannalabika.

Abakuumaddembe baatuuka mu maka gano ku makya g’Olwokusatu essaawa bbiri ne beddizza ennyumba okutuuka essaawa 9 ez’elweggulo nga mu kiseera ekyo Francis yali mu ddwaaliro e Kitovu ng’akyategeera bulungi, kyokka tewali mbega yenna yamuggyako sitatimenti.

Baabituukiddeko mu kuziika Kasekende ku Lwomukaaga ku biggya byabwe mu Mukudde Zooni mu Nyendo e Masaka. Okuva lwe yafiira mu ddwaaliro e Kitovu wiiki ewedde abadde taziikibwanga nga balinzeeko ku b’enganda ze abakolera ebweru w’eggwanga.
Okuziika kwetabiddwamu abaaliko Bassentebe ba Disitulikiti, Alihaj Abdu Nadduli (Luweero), Leevi Zzimbe (Mpigi), John Ken Lukyamuzi, CAO w’e Wakiso, Joseph Mukwaya n’abalala.

Omukazi yaziikibwa ku Lwakuna mu maka ga bakadde be Mathew Rubabinda e Ssanga mu Disitulikiti y’e Kiruhura. Abadde talina mwana mu Kasekende.

Fr. Henry Kasule: Mmisa tusomye ya kitundu, ebiragiro bivudde wa mukama waffe Bishop John Baptist Kaggwa ng’asinziira ku mawulire g’enfa ya Kasekende ne mukazi we Phoebe agalimu okutankana. Osanga tetwandizze naye Kasekende yafunye amasa-kramentu agaamuweereddwa, Fr. Joseph Matovu Kyapuleeni w’eddwaaliro ly’e Kitovu.

Yagasseeko nti, okubuusa-buusa kubaawo, naye Kasekedde okumala okwene-nya n’afa awo abeera afiiridde mu Mukama. Naye tusaba abali mu gw’okunoonyereza batuyambe okutuukira ddala ku nfa y’abantu bano.

Beatrice Katabalwa: (mwannyina w’omugenzi); Olwankubidde ssimu nti Kasekende bamufumise ebiso, nnatuuka e Kitovu ku ssaawa 6:00 ez’emisana nga Francis akyayogera bulungi ng’era ayita mukazi we Phoebe. Yali azi-mbye omutwe ng’aliko ekiwu-ndu ekinene n’atutegeeza nze ne Juliet nti abasajja basatu baabayingi-ridde n’amannya n’agatubuulira, naye ng’asaasira nnyo mukazi we okufa ng’amanyi nti ye ajja kuwona

Mu kaseera ako nnamule-kawo ne ngenda mu ggwanika e Mulago - Masaka ntege-ke eby’okulongoosa omulambo gwa mukazi waffe  ng’eyo gye bankubirira essimu nti ne Kasekende afudde.

Muky. Naume Tumusiime:  Nze nalabira Francis omukazi era baba-dde baagalana nga tekisoboka Francis kutta Phoebe.
Omuko Hussein Mugula: Wadde mu kuziika muwala waffe, bingi ebyayogeddwa kyokka tetulina buzibu bwonna n’oludda lw’obuko bwaffe, abantu baffe bombi tekisoboka kuba nti be besse.

Omusika John Kasekende: Okufa kwa mukulu wange nnakute-geeredde mu mawulire ge nnasomye ku Yintanenti, nnina ennyiike olw’ebyakonjeddwa muganda wange. Abadde mulwadde omukoowu tayinza kutta mukazi we amujjanjabye era abadde amwagala nnyo.

Bambega abaakoze ku kunoonyereza kuno betaaga kuddayo mu bbanguliro, engeri nnyingi omuntu gy’ayinza okuyingirirwa naye ne bafundikira amangu ago nti, “omugenzi ye yasse  mukazi we naye ne yetta?”.

Wabula akulira bambega e Masaka, Mw. Patrick Bamanyindo yategeezezza nti Poliisi ekyagenda mu maaso n’okubuulirizza okulaba ng’ezuula ekituufu ku butemu buno n’agattako nti mu kiseera kino tewanna-beerawo muntu yenna akwatibwa ku nsonga eno.

 

 

‘Kasekende abadde tayinza kutta mukazi we’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....